Wednesday, 29 July 2009

Ugandan Witch Rapes 600 Women

What is the story about?

In Africa many people especially women who can not conceive go witchdoctors to get babies. These women end up being raped by these witches. The witches deceive the women that the herbs they are going to administer to them will not work unless, they first have sex with the witch. Even some born again Christians still go the Jesus and the witches as well. In the story below a’fake’ witch who was arrested by police recently said that he had so far had sex with 600 of his ‘patients’. He cheated his patients by pretending to be a spirits who could free them from the bondage of the ancestral spirits and devils. There is stronghold of witchcraft in Africa. Religions such Catholicism, Islam and Anglicanism have succumbed to devil worship. Many of their followers practice both witchcraft and religion.


Omusamize asobezza ku bakazi 600

http://www.bukeddekussande.co.ug/detail.php?mainNewsCategoryId=3&newsCategoryId=167&newsId=689021

Bya Donald Kiirya

OMUSAWO w’ekinansi Moses Kimbowa agambibwa okutemako omwana Stephen Kironde omutwe eyakwatiddwa awaawaazizza abakuumaddembe amatu bw’agambye nti abadde yaakasobya ku bakazi 600 ababadde bagendayo okumusaba oluzaalo.

“Buli mulimo gubeera n’ebyama byagwo, naye kino kye kimu ku byama bye mbadde nkuuma obutiribiri. Abakazi babadde bajja ne bansaba enzaalo okuva mu 1998 era kye mbadde nkola kwe kubasaba amazzi g’ekyama era nga gano okugafuna mbadde nnina okumala okubakozesa,” Kimbowa bwe yategeezezza abaserikale ba RRU nga n’abaamawulire weebali.

Kino kyaddiridde abaserikale bano okuzuula ekisawo mu ssabo lya Kimbowa omwabadde obuwale bw’abakazi obusoba mu 600 era bwe baamubuuzizza ebikwata ku bakazi bano nti kabe kasinge mwandibaamu abattibwa n’alyoka akinnyonnyola.

Kimbowa mu ngeri yeemu yategeezezza nti mu butuufu tabangako musawo nti wabula omulimi yagutandika mu 1998 ng’ensi emulemeredde, era ewaabwe Butambala-Mukwatiro mu disitulikiti ye Luweero.

Kimbowa yategezeza bwaati “Banange ssagala mbalimbe naye ekituufu kiri nti siri musawo wa kinnansi era ne ssaatifikeeti gye nnina nagifuna mu lukujjukujju, mbadde nfera abantu abankyalira mu masabo gange awaka ssaako n’okubanyaga ensimbi.”

Yayongeddeko nti abadde afera abantu abagenda ewuwe okubambulula n’okubasawula nti ajjanjabisa misambwa ne lubaale naye ng’ekituufu abadde akozesa ddoboozi lye ng’alifuula okubeera erya jjajja lubaale mu masabo ge. Kimbowa yategeezeza nti yasooka kubeera mukubi wa bifaananyi ebya ssente e Mbikko era bweyalaba nga ensi emunyiga nga tebifuna bulungi n’asalawo okwefuula omusawo w’ekinnansi n’asenguka ku kyalo ky’e Mbikko n’adda e Namwezi zone mu Nakibizzi.

Era yayongeddeko nti abadde akozesa ngoye okwambulula abantu nga kuzino asalirako enkoko n’okukolerako ebiragala ebirala. Ku lunaku lw’okubiri Poliisi yakola ekikwekweto n’ekwaata abantu musanvu okuli n’abasawo b’ekinansi basatu nga kigambibwa nti baali mu lukwe lw’okusala omwana Stephen Kironde nga 16/7/2009 e Namwezi-Nakibizi mu Njeru mu disitulikiti y’e Mukono.


Published on: Saturday, 25th July, 2009