JB Mukajanga prays with a cross in his hand and Image of Mary on the back. He is hiding his rosary |
MUST READ:
Catholic Charismatic Movement To Infiltrate The Christian Churches! (Rivers of Muddy Waters Are Flowing Everywhere): A case of the satanic antics of the Ugandan Catholic charismatic renewal movement
When Catholic necromancers seek the outpouring of the holy spirit: International Catholic Charismatic gathering to be Held in Kampala, Uganda from 30th June to 6th July, 2014
Summary
The catholic church in Uganda strengthened the catholic charismatic movement in the 1990s
to check the mass exodus of Catholics to
Pentecostal churches. This movement
started singing in Pentecostal tunes as well as copying the tactics of preaching
, praying and casting out of demons from Pentecostal churches . The major pillars of the
catholic charismatic movement in Uganda are Fr.E. Magembe and JOHN Baptist Mukaajanga of mount Sion, Bukalango. The two have been closely working
together but now since Mukaajanga started his Fire Ministry, he started having ‘anointed’
services at Jjemba Plaza in Kampala
just like many Pentecostal preachers. Mukaajanga’s services have been criticized by the Head of the catholic church
in Uganda
as anti-catholic and has been ordered to go back to Bukalango and work under
orders from Fr.Magembe. . He has also been criticized for :
1.Anointing people with oil yet he is not a catholic priest
. Only catholic priests are supposed to anointed people with oil and at specific
functions .
2.Starting Fire ministries
contrary to the teachings of the catholic church.
3. Selling each bottle of anointing oil at 30,000/=
4. Sleighing people in the spirit (making
people fall down) during exorcisms sessions(casting out of demons).
5. Collecting tithes and offering and refusing to surrender
them to the catholic church.
6. Taking people on pilgrimages
to Israel under the auspices of his Fire Ministry .
Catholic charismatics pray from Mt.Zion, Bukalango, Uganda |
My analysis
Whatever goes around turns around!!! The catholic church in
Uganda
thinks they can eat their cake and have it. How can you allow Pentecostal and
charismatic Christianity and expect to
stay with in the dogmas, teaching and precincts of the catholic church . impossible!!
They started something which has gone out of control. They thought they were shooting
at Pentecostal churches but ended up shooting
themselves in the foot.
A Catholic fraud, JB Mukajanga prays for catholics who get slain in the spirit, some times he lifts an idol of Mary as people get slain in the spirit |
A Catholic fraud, JB Mukajanga prays for catholics who get slain in the spirit, some times he lifts an idol of Mary as people get slain in the spirit |
Must Read:
Born again Catholics!!!!!!: Exposing JB Mukajanja’s Fire ministry
Exposing the dragons that speak like Jesus’ sheep: ‘Born again’ catholic Fr. Magembe Expedito and J B Mukajanga continue to be used by Satan to keep Catholics deceived.
http://watchmanafrica.blogspot.com/2012/08/exposing-dragons-that-speaks-like-jesus.html
Rev.Father Expedito Magembe, the priest behind Mt.Zion Prayer center in Uganda.After the pentecostal like prayers , a full catholic mass is said |
Catholic Secular Artist Dr Hilderman of the Double bed Mazongoto song has been summoned by Catholic lawyers for wearing the attire of Bishops while on stage: Pentecostal Artist such as Uche Agu a.k.a Double Double should probably borrow a leaf from the catholic intolerance stance and sue Fr. Magembe and J.B. Mukajanga Fire ministry for using his song
Deceptive antics of the Catholic Charismatic renewal: Father Expedicto Magembe of Mountain Sion and Christ the King prayer Group
Ecumenical deception: Rev. Fr.Expedito Magembe the Devil’s anointed one
CULT WITH IN A CULT: THE CATHOLIC CHURCH CULT IN UGANDA PANICS AS SUB-CULTS INCREASE WITH IN IT
Eklezia eyongedde nnatti ku ‘Bulaaza’ Mukaajanga
Bya MARGARET ZIRIBAGGWA, JOSEPH MAKUMBI ne ANTHONY SSEMPEREZA
ENSONGA
za Mukajanga “Bulaaza” w’e Bukalango asabira abantu zongedde okulanda
ne bamulagira ayimirize enkung’aana z’ategeka ku akeedi z’omu Kampala,
addeyo e Bukalango akolere wansi wa Faaza Experito Magembe.
Eklezia
era eragidde John Baptist Mukaajanga, Abakristu naddala ab’Eggye lya
Maria gwe bayita “Bulaaza” okukomya enkung’aana z’ategeka ku Jjemba
Plaza ne Gaggawala Shauriyako mu Kampala wakati kubanga azikola
tagoberedde nkola na nsengeka ya Klezia.
Mukajanga
40, yasomako obwa Faaza wabula n’atabumalaako era kwe kugendanga e
Bukalango mu 1990 n’atandika okuyambako Faaza Magembe (kati Munsenyori),
era oluvannyuma n’atandika okukulemberangamu essaala; ekyaddirira kwe
kutandika okusabira abalwadde era n’atandika puloogulamu z’asasulira ku
Ttivvi n’enkung’aana ku bizimbe bya Kampala.
Wadde
Mukaajanga yategeezezza nti by’akola byonna abikolera wansi wa Faaza
Magembe; eky’okutegeka enkuŋŋaana mu bifo ebiri ebweru wa Bukalango nga
takolaganye na Klezia zitwala bitundu ebyo, kikontana n’enkola
egobererwa era baamulagidde akiyimirize mbagirawo.
Msgr.
Charles Kimbowa omuwi w’amagezi omukulu owa Ssaabasumba yagambye nti
abaweereza ba Kristu bonna balina okutambulira mu kkubo eggolokofu
eritaliimu kukolera bintu bbali wa mateeka.
Yagambye
nti Mukaajanga okutandika okuguza abantu amafuta ku 30,000/- buli ccupa
yakitandikira mu Kampala mw’akuba enkuŋŋaana kubanga tewabeerawo
amulondoola kwe kugattako nti okumuzza e Bukalango kye kyokka ekijja
okumuzza mu kkubo ettuufu kubanga ne Msgr. Magembe gw’ajuliza tatunda
mafuta; ekiraga nti Mukaajanga alina okuyambibwa okudda ku mulamwa.
Msgr.
Kimbowa yatangaazizza nti wadde abantu bangi Mukaajanga bamuyita
Bulaaza naye tabusomangako era n’abakimuyita bakiggya ku nkola
y’Ab’eggye lya Bikira Maria eya buli muntu okubeera mugandawo mu
by’omwoyo nga bw’aba musajja omuyita “Bulaaza” ate omukazi “Siisita”.
Mukajanga
yagambye nti Yezu Kristu yamulabikira n’amuwa amaanyi agasabira abantu
abalina ebizibu era n’amulagira okugenda e Bukalango okukolera wansi wa
Faaza Magembe kubanga y’amutegeera mu by’omwoyo; nti era ensonga zino
zonna gwe yazirekedde amulung’aamye.
Fr.
Magembe mu kiseera kino ali mu lusirika wabula mu kusooka yabadde
ategeezezza Bukedde nti akyalinze ekiwandiiko ekitongole okuva e Lubaga
ku nsonga za Mukajanga.
http://www.bukedde.co.ug/news/80832-ssaabasumba-alabudde-abakristu-ku-mukaajanga-enkola-ye-ekontana-ne-eklezia.html
Bro. John Baptist Mukaajanga atera okubeera ku Bukedde TV mu pulogulaamu z’asasulira, bamulagidde okudda ku mulamwa gw’ensinza y’Ekikatoliki entuufu, asazeemu byonna by’akola ebikontana n’enzikkiriza.
Mu bye baagala ayimirize bunnambiro mwe muli n’enkuhhaana z’enjiri z’ategeka ku akeedi z’omu Kampala bbiri (Jjemba Plaza ne Gaggawala Shauriyako) ezitagoberera nsinza ya Kikatoliki ate nga tezeetabwamu Faaza yenna!
Ebirala Mukaajanga by’akola mu ngeri ekontana n’enkola za Eklezia kuliko:
- Okutunda amafuta ag’omukisa g’aguza abagoberezi ku 30,000 buli ccupa.
- Okusiiga abantu omuzigo nga ssi Faaza.
- Okusuula abantu ebigwo ng’abasabira nti abagobamu emizimu.
- Okusolooza ebirabo mu bantu n’atabiweereza mu Klezia ya kitundu.
- Okukola ekibiina kya Fire Ministries ky’addukanya ng’ekitali wansi wa Eklezia.
- Okutwala abantu mu kulamaga mu Yisirayiri n’abaggyako obutitimbe bw’ensimbi ng’akikolera mu linnya lya kibiina kye yatandika.
Yagasseeko nti: Omulimba asanga mukkiriza. Kimanyiddwa mu Eklezia nti omuzigo oba amafuta ag’omukisa bigabwa Faaza mu biti bisatu: Mu kubatiza (Karisma), mu kumaliriza omusomo (Sakaramentu) gwa Kofirimansio ne mu kugusiiga omulwadde ali ku ndiri (Kusiigibwa kw’Abalwadde).
Yayongedde okunnyonnyola nti: Omuzigo gwonna Eklezia gw’ekozesa ku mikolo gyayo gyonna gutukuzibwa ku Lwokuna olutukuvu era Omwepisikoopi (Bishop) yagutukuza ng’ali n’Abasaseredoorti (Bafaaza) bonna. Bwe gumala okutukuzibwa ne guweebwa Abasaseredooti nebagutwala mu bigo byabwe gye basinziira okugukozesa. Wano we yabuulizza nti Mukaajanga gw’akozesa aguggya ludda wa?
Msgr. Katende yagambye nti Eklezia yeekengedde ebintu Mukaajanga by’azze akola era wabaddewo kaweefube ow’okwogera naye akyuse wabula n’atakyusa. Yalabudde Abakristu okwewala abantu abagwa mu ttuluba lya Mukaajanga omuli n’omusajja w’e Lwengo eyeeyita Kazibwe Balunabba.
Ssaabasumba w’Essaza ekkulu erya Kampala Dr. Cyprian Kizito Lwanga yategeezezza mu kuyimba Mmisa e Lubaga gye buvuddeko nti Omukristu yenna agenda mu maaso g’omuntu atali Faaza nti asaba mukisa abeera awubisiddwa era n’abalagira okwewala abantu abakola emirimu egitali gyabwe kuba abasinga babeera n’ekigendererwa kya kusolooza ssente mu bantu.
Mukaajanga y’omu ku baasikiriza abagoberezi okuyingira ekibiina eky’ekiwaani ekya Telex Free ekyalimu omuvubuka Ronald Muramuzi, okukkakkana nga babafeze obutitimbe bw’ensimbi.
Wabula ku kino Mukaajanga yagambye nti abagoberezi yabayingiza tamanyi nti mulimu obufere kubanga ye kennyini (Mukaajanga) ye yasooka okukiyingira era emyezi egyasooka baawanga amagoba gaabwe ku buli nnusu gye bassanga mu Telex Free wabula oluvannyuma ne banyaga abantu.
AMAZE EMYAKA 10 NG’AGUGULANA NE BAFAAZA
Deo Mbabazi omuwandiise w’omuluka gwa St. Balikuddembe, Mengo Kisenyi, yatutegeezezza nti, wakati wa 2003 ne 2004, Mukajanga yali akubira enkungaanaze ku kiggwa kya Yowana Maria Mzee e Jugula ku Lubaga Road nti kyokka Bwanamukulu eyaliwo ebiseera ebyo, Rev. Father Deo Ssonko n’amulagira agende e Lubaga afune ebbaluwa okuva ewa Kalidinaali Emmanuel Wamala eyali Ssaabasumba mu biseera ebyo kyokka ebbaluwa teyagitwala era ne bamugobawo.
Mbabazi yagambye nti aba “Kalizimatiki” kitundu ku Eklezia kyokka enkola ya Mukaajanga agamba nti mw’agwa esusseewo kubanga takolera wansi wa Klezia za bitundu mw’ategekera nkuhhaana.
Emyaka ena emabega, Mukaajanga yaleeta ekirowoozo eky’okusembereza Bannakampala enjiri mu biseera by’amalya g’ebyemisana, n’alagirwa okukolera wansi wa Klezia ya St. Balikuddembe mu Kisenyi, wabula n’asalawo okupangisa ebizimbe mu Kampala mw’akolera awatali amulondoola nga n’ensimbi z’asolooza mu bantu tazanjula mu Klezia ya kitundu ng’enkola ya Klezia ey’obwerufu bw’eragira.
Wabula Mukaajanga yategeezezza nti ebizimbe mw’akolera alina okubisasulira ez’obupangisa, asasula pulogulaamu za Ttivvi kubanga ky’akulembeza kwe kutuusa obubaka bwa Yezu Kristu mu bantu bonna.
Yagasseeko nti enkola y’emirimu gye gyonna erondoolwa Faaza Experito Magembe atwala ekigo ky’e Bukalango mu Wakiso.
Rev. Fr. Magembe yategeezezza omusasi wa Bukedde eyamusanze e Bukalango nti tannafuna bbaluwa ntongole erambika kwemulugunya kwa Bakama be ku Mukaajanga nti era waakwogera ku nsonga eno ng’ebbaluwa emutuuseeko.
Mu May w’omwaka oguwedde, Eklezia yawummuza Faaza Anthony Musaala olw’okumusindika mu kigo ky’e Ggoli mu Mpigi nga bamuggya ku St. Matia Mulumba e Kampalamukadde wabula n’atagondera biragiro bya bakama be. Yagattako n’okukozesa amakubo agakontana n’enkola ya Eklezia mu kulaga obutali bumativu bwe.
Mukajanga alaze gy’afuna amaanyi
John Baptist Mukajanga akubye olukungaana lw’enjiri ku akeedi mu Kampala n’ategeeza nti olutalo lw’alimu Yezu y’agenda okululwana kubanga ye yamutuma okuyamba abantu ba Katonda.
Alaze omusaalaba n‘agamba nti omwo mwe muli amaanyi g’akozesa ebyamagero era omusaalaba guno ne Faaza Experito Magembe ow’e Bukalango gw’akozesa mu kusabira abalwadde n’okukola ebyamagero.
Ku Lwokuna yakubye olukung’aana ku Jemba Plaza kyokka yasoose kukuba lulala ku Lwokubiri. Abamu ku bagoberezi abeetabye mu kutendereza kuno baasabye Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga okukwasa Mukaajanga ekisa kubanga afubye okusembeza enjiri y’Ekikatoliki mu bifo ebibadde bimaamiddwa ab’enzikkiriza endala naddala Abalokole.
Baagasseeko nti n’okusomesa okutambulira ku maanyi ag’ebyamagero Mukajanga kw’akkiririzaamu kuyambye okukuumira Abakatoliki mu ddiini yaabwe ne batawuguka kugenda mu ddiini ndala ezikulembeza ebyamagero.
Mu lukugaana olwabaddewo ku Lwokubiri, Mukajanga yagambye nti: Omusaalaba Yezu kwe yafiira tulina okugwetikka era buli lwe weesanga mu kaseera ak’okusoomoozebwa, olina okukimanya nti oli ku kigezo kya Mukama eky’okwetikka omusaalaba era tolina kutya olina kusigala ng’oli muvumu. N’agattako: olutalo oluliwo Yezu y’ajja okululwana.
AMAANYI AGAGGYA KU FAAZA MAGEMBE E BUKALANGO
Okusooka Mukajanga yayogedde ne Bukedde n’agamba nti lwe yasooka okusisinkana Rev. Fr. Magembe (kati Munsenyori) ow’e Bukalango, yeewuunya nnyo ebyamagero Magembe bye yali akola mu bantu. Yasalawo okusigalawo amubuuze gy’aggya amaanyi agakola ebyamagero, n’awonya n’abalwadde abayi.
Nti bwe yabuuza Faaza Magembe gy’aggya amaanyi, yamuddamu kimu nti: Yezu bw’omwewa, naye akwewa n’atandika okukolera mu ggwe.
Agattako nti: Faaza Magembe yankwasa Bayibuli, Evanjiri n’Omusaalaba n’andagira okumalira obudde bwange bwonna mu Bayibuli n’Evanjiri nga bwe nneegayirira Yezu ampe amaanyi agayamba abantu abali mu mbeera embi nga mpita mu kubasabira.
Agattako nti: Okuva olwo ebyamagero nnatandika okubikola nga ndi Bukalango era Fr. Magembe n’andagira okukuuma ennono n’enkola ya Eklezia wadde ssiri mutuukirivu mu byonna.
Wabula waliwo abantu abatali basanyufu olw’ebyo bye nkola ne bakuliriza obunafu bwange mu kifo ky’okunnyamba okubutereeza; kubanga ekigendererwa ekikulu kwe kuyamba Abakristu n’abantu abalala okumanya nti Yezu mulamu, akola era bw’omuwa obulamu bwo abukyusa.
Agamba nti akkiririza mu kusaasaanya enjiri ebune wonna ng’eyita mu mikutu gyonna egisoboka era abagoberezi be kye bava baasemba eky’okussa okusinza ku akeedi z’omu Kampala ezibaliraanye n’okusabira abantu ng’ayita ku Bukedde ttivvi era ekigendererwa kye ssi kya kweranga, wabula kusaasaanya njiri ya Kristu etuuke ne ku bali eka, n’abantu abali mu nsi z’ebweru.Msgr. Wynand Katende omwogezi w’Essaza ekkulu erya Kampala yagambye nti Eklezia tegenderera kusalira Mukajanga musango kyokka kigikakatako okumulambika aleme kuwaba.
Mu bimu ku bye baagala atereeze kwe kukomya okuguza abantu amafuta, okukomya okukozesa obubi omuzigo, okulambika enkuhhaana z’enjiri z’ategeka mu Kampala, okwewala okweranga ku mikutu gy’amawulire, n’okukomya okutwala obuweereza ng’obw’omuntu ssekinnoomu mu kifo ky’okukulembeza Klezia n’atuuka n’okussaawo Mukajanga Fire Ministries.
Msgr. Katende yagambye nti bino byakukolwako Omusumba omubeezi Christopher Kakooza eyalondeddwa Ssaabasumba okulambika Mukaajanga ne banne.
Yagambye nti nga Eklezia bakimanyi nti Katonda agaba ebitone era buli muntu alina ekitone ekyenjawulo ku kya munne, wabula ng’abakulembeze kibakakatako okulambika abantu okugeza Katonda gwe yawa ekitone eky’okuzina, aleme kukikozesa ng’azina kimansulo!
Msgr. Wynand Katende omwogezi w’Essaza ekkulu erya Kampala yagambye nti Eklezia tegenderera kusalira Mukajanga musango kyokka kigikakatako okumulambika aleme kuwaba.
Mu bimu ku bye baagala atereeze kwe kukomya okuguza abantu amafuta, okukomya okukozesa obubi omuzigo, okulambika enkuhhaana z’enjiri z’ategeka mu Kampala, okwewala okweranga ku mikutu gy’amawulire, n’okukomya okutwala obuweereza ng’obw’omuntu ssekinnoomu mu kifo ky’okukulembeza Klezia n’atuuka n’okussaawo Mukajanga Fire Ministries.
Msgr. Katende yagambye nti bino byakukolwako Omusumba omubeezi Christopher Kakooza eyalondeddwa Ssaabasumba okulambika Mukaajanga ne banne.
Yagambye nti nga Eklezia bakimanyi nti Katonda agaba ebitone era buli muntu alina ekitone ekyenjawulo ku kya munne, wabula ng’abakulembeze kibakakatako okulambika abantu okugeza Katonda gwe yawa ekitone eky’okuzina, aleme kukikozesa ng’azina kimansulo!
MUKAJANGA Y’ANI:
Yazaalibwa mu 1974 e Kasaala mu Bulemeezi era kati wa myaka 40 Mutabani wa Paul Ssempungu Teopista
Nakiwala kyokka yakulira mu Busiro ewa jjajjaawe Kayondo mu Busiro Y’omu ku bazzukulu ba Mukajanga eyali omumbowa wa Ssekabaka Mwanga eyalagirwa n’atta abajulizi.
Yasomera Kasaala Boys Primary School, siniya n’agisomera mu Kampala Students Center mu Kivvulu kyokka S.6 n’agimalira mu Luweero S.S
Yagezaako okusoma obwa Faaza ne bigaana kwe kugenda mu ttendekero ly’Abasomesa e Nkozi NTC n’atikkirwa Dipulooma mu busomesa bw’Ebyeddiini n’Ebyafaayo mu 2001l Yali amaze okukwatagana ne Faaza Magembe mu 1990 nga buli luwummula abeera Bukalango ng’akola ng’omuyambi wa Faaza Magembe.
Azze asabira abantu nti era agamba nti omu ku bagoberezi gwe yasabira yamutonera emmotoka Range Rover mw’atambulira kati.
Yategekerako okutendereza ku Lubaga road we yava okutandika enkungaana ku akeedi wabula ng’ennaku z’e Bukalango (buli Lwakubiri n’Olwomukaaga olusemba mu mwezi) abeerayo.
Ssaabasumba alagidde Mukajanga by’alina okugoberera
Ssaabasumba alagidde Mukajanga by’alina okugoberera
Bya DICKSON KULUMBA SSAABASUMBA w’essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asinzidde ku Lutikko e Lubaga n’alangirira nga bw’akyusizza enkola y’ebifo omusabirwa nga kakati birina amateeka ge birina okugoberera.
Dr. Lwanga yamenye ebifo ebyatongozebwa Eklezia nga kuliko; Bukalango, Gogonya, Mudduma, Kiwamirembe, e Ntebe ne kye yaakamala okutongoza ekiri e Nsangi.
Dr. Lwanga yayongeddeko nti, “ Okuva leero ebifo bino tebikyayitibwa ‘Prayer Centre’ wabula ‘Retreat Centres’ kubanga buli kifo kyonna kisabirwamu okuli ne mu maka gammwe era twagala byonna okugoberera amateeka n’okwewala ebirala okumerukawo ate ebitali kw’ebyo byamenye, Klezia tebimanyi.”
Mu ngeri y’emu Dr. Lwanga yayogedde ku Br. Mukajanga gwe yagambye nti pulogulaamu z’abadde akola ku Bukedde Ttivvi tagenda kuziggyawo wabula zirina okukolebwa nga zirimu Omusosodooti era byonna ebiragibwa waakusooka okubiyitamu oba Omusosodooti gw'alagidde okulaba nga tebikontana na mateeka ga Eklezia.
Bino yabyogedde akulembedde mmisa y’ebijaguzo by’olunaku lw’Essaza ekkulu ku Ssande nga yavumiridde abantu okutunda omuzigo eri Abakristu nti gwa mukisa era n’alabula ne ku ky’omuntu atali Musosodooti okuwa banne omukisa ebintu bye yagambye nti bikolebwa, Faaza yekka oba Musumba.
Essaza ekkulu lino lyatandikibwa mu October 31,1966 nga kati gy’emyaka 48 ng’Abakristu bakubiriziddwa okukolera awamu n’okwetanira emirembe mu maka ng’omulamwa essaza kwerigenda okutambulira omwaka ogujja gwakuvuga nti “ Tutabagane tubeere benkanya era abeerufu mu maka gaffe tufune eddembe erya nnamaddala.”
Mu kusaba kuno Ssaabasumba yayambiddwaako Kalidinaali Wamala, Bp. Kakooza ne bannaddiini abalala. Yatongozza olukiiko oluggya olw’okukulembera Abakristu okumala emyaka esatu nga lwakukulemberwa Ssabakristu, Antony Mateega n’amyukibwa Harriet Nakiyimba Ssebuwuufu- omukyala asoose okulya ekifo kino.
Abaawereddwa olukusa okusembeza bannaabwe okuva mu bitundu eby’enjawulo baatongozeddwa ng’ebijaguzo bino byetabiddwaako Minisita ow’ebyenjigiriza ebyawaggulu mu ggwanga, Dr JC Muyingo, Minisita okuva e Mmengo Charles Bwenvu n’abalala.
Ssaabasumba yalangiridde nga Klezia bw'ezzeemu okufulumya akatabo akayitibwa Munno n’enteekateeka z’okutandika leediyo ne ttivvi ebiyitibwa Munno ziwedde. Ssaabasumba alagidde Mukajanga by’alina okugoberera