Comment
In Uganda a Muslim SHEIKH has started praying
for Muslims Pentecostal style. He casts out devils by pouring ‘holy water’(ZAM
ZAM) on the devil possessed. A number of Muslim faithfuls go to him for counseling
about jobs and marital problems and some report positive results . This is one of
satan’s tricks aimed at preventing Muslims from leaving Islam . Satan is already using this
trick through the so called catholic charismatic
renewal in Uganda
to prevent the mass exodus of catholics to born again churches.
Must Read:
Born again Catholics!!!!!!: Exposing JB Mukajanja’s Fire ministry
Exposing the dragons that speak like Jesus’ sheep: ‘Born again’ catholic Fr. Magembe Expedito and J B Mukajanga continue to be used by Satan to keep Catholics deceived.
http://watchmanafrica.blogspot.com/2012/08/exposing-dragons-that-speaks-like-jesus.html
Renowned Catholic charismatic exorcist JOHN Baptist Mukaajanga has been banned by the catholic church in Uganda from holding services at Jjemba Plaza: He is being accused of anointing people with oil and selling a bottle of anointing oil at Uganda shillings 30,000@
http://watchmanafrica.blogspot.com/2014/10/renowned-catholic-charismatic-exorcist.html
SHEIKH KAWERE: Asaba nga Balokole, asuula ebigwo n’okugaba amazzi g’omukisa
"WOOWE nnyabo! Mundeke nziruke! Nange bansindika busindisi, temunjokya mazzi gammwe.......!" Bw’otuuka mu maka ga Sheikh Muhamad Kawere e Wakiso oba ku ofiisi ye mu Ndeeba egyo gy’emiranga gy’owulira!
Abamu obawulira bafuluuta, basinda, bakaaba, beekuba ebigwo n’abalala okuleekaana ng’abakwatiddwa ebitambo!
Okimanyi nti Abasiraamu nabo kati basaba ng’Abalokole? Era bagoba emizimu n’okugaba amazzi ag’omukisa?
Sheikh Kawere y’atandise enkola eno, naye Basiraamu banne bamuvumirira olw’okuleeta obukaafiiri mu nsaba y’Ekisiraamu!
Edduwa ye agikola omulundi gumu buli mwezi, naye ku olwo lw’agikola, amamotoka agajjudde Abasiraamu n'ab’eddiini endala gasimba lwa kasota okuviira ddala ku nkulungo y'e Namungoona ne goolekera ekyalo Mpunga ekisangibwa mu Wakiso.
Abakkiriza bwe bagwa n’okuwoowoola.
Ewuwe bakung’aanirayo abantu ng’emitwalo ebiri, era bangi bajja ggulolimu ne basula n’okusiibayo!Baba ng'abazze okulamaga anti buli omu ajja n'entwala ye omuli leesu, ebyokulya, emisaalo n'obugoye obutonotono naddala ku bakyala. Ababa tebeesibiridde byakulya bbo babigula ku buduuka obuliraanyeewo.
Abasuubuzi beetoolodde amaka gano, batunda ebyokulya n’ebyokunywa, amazzi g’omukisa agayitibwa ‘Zam Zam’ agagambibwa okuva e Saudi Arabia (sso ng’olumu bagasena mu nzizi z’e Wakiso), entende, ssumbuusa n’ebirala.
OKUSABA KUTANDIKA
Ku ssaawa 3:00 zennyini ez’oku makya, waliwo bamaseeka abayingirawo ne baggya ekifu ku bantu. Bano batandika na kubuulirira okwenjawulo. Basomesa engeri gy'olina okusabamu, ani gw'oteekeddwa okusaba na butya bw'omusaba.
Ekyo bwe kiggwa olwo ne bakuwa essuula ez'enjawulo z'olina okusoma mu dduwa na ddi lw'ozisoma. Kuno kw'ossa n'amateeka g'oteekeddwa okugondera.
Agamu ku mateeka agaweebwa mulimu;
1. Otunula mu kibula ng'osaba
2. Tolina kukulembeza Nabbi yenna bw’oba osaba, Katonda musabe butereevu.
3. Bw’oba oliko empewo sooka kuzeegaana, osabe Katonda eyatonda bajjajjaabo abo. Ewa Sheikh Kawere osangayo abazze n’ensiriba, embugo n’ensimbi nti bookya bajjajja!
Bino biba bigenda mu maaso nga ye Sheikh Kawere ali mu kasenge akeekusifu ‘ng’akola’ ku bantu.
Abalina ebizibu ebibayinze, abaagala okwebuuza ku mirimu, eby’amaka bonna baggweera eyo n’abasabira.
Nze lwe nnagenzeeyo obwedda mpulira b’asabira bwe bawejjawejja, basinda, bakaaba!
Mu kasenge ako temuli ntebe, mutuula ku mikeeka. Okumpi awo waliwo ebibookisi by’amazzi ‘Zam zam’, agagambibwa okuba amatukuvu ennyo.
Kale bw’oba ozze n’emyoyo emibi, Sheikh Kawere bw’amala okukusabira dduwa ago ge bakuyiwako, n’owulira ebyokoola bwe bireekaana n’okuwoloma!
Naye n’ensaba ya Sheikh Kawere yeewuunyisa! Bw’oba waakayingirayo asooka n’ayita malayika mbu zireete omuliro gwokye sitaani ali ku mulwadde. Eddakiika eyo yennyini omulwadde atandika okwerogozza ng'alonkoma abantu abamuloga na kiki kye bamwagaza!
Essaawa ziba zikunuukiriza 7:00 ez’omu ttuntu, ng’ekidaala ne tenti ezisoba mu ttaano nga bikubyeko, olwo nnende n’aboneka!
Nga tannatandika kusaba asooka n’akubuulirira ku biki ebigaanisa edduwa zaffe okwanukulwa nga mu byo mulimu abantu okusaba nga babuusabuusa, obutayagala kutoola ssaddaaka n’ebirala.
Kawere amaanyi agaggya wa?
SHEIKH Kawere agamba nti akozesa ezimu ku ssuula za Kulaani z’agamba nti zigoba amajiini.
Ensaba ya Sheikh Kawere eyawuka n'eya Bamaseeka abalala mu ngeri nnyingi.
Ye tasosola mu ddiini, n'abatali Basiraamu abasabira, ‘olwo Allah n'asalawo oba anaamwanukula!’
Sheikh Kawere annyonnyola: Obusiraamu bikolwa, si bigambo.
Mu ssuula ezimu mu Kulaani, Allah bwe yali atukoowoola, yagambanga nti 'abange mmwe abantu', teyasosola oba Basiraamu oba si Basiraamu.
EBIFA KU SHEIKH KAWERE
Agamba: Pulayimale nagisomera Katwe Noor ne Mahadi Bilal eyali esangibwa ewa Kisekka mu 1978.
Oluvannyuma nagenda e Sudan ku Islamic Centre ne United Arab Emirates ne nsoma Obusiraamu.
Nakomawo mu 1988 nga ndi Sheikh (omumanyi). Nasooka kwekozesa nfune ssente ezange ku bwange nneme kubeera mu nkaayana za Basiraamu. M
u 1998, nnali nkola ne mukwano gwange Abdallah Ssekisamba, n’angamba nti abantu b’abanja bagaanye okumusasula.
Twasaba era mu wiiki bbiri zokka baali bamaze okumusasula nga beebanjizza na bokka. Okuva mu 2000 okutuuka mu 2006 nnagenda mu maaso n’okusomesa abantu engeri y’okusabamu era natandikira ku kizimbe kya King Fahad Plaza.
Bwe beeyongera kwe kubatwala mu maka gange e Wakiso kuba wagazi.”
Bamaseeka bye boogera
OMUMYUKA wa Supreme Mufuti, Sheikh Mahmood Kibaate agamba nti, “Mu mateeka g'Obusiraamu, eyo ensaba tebangawo wadde ku mulembe gwa Nabbi Muhammadi (SAW).
Seeka oyo alina ebintu bingi by'akola mu kusaba kwe ebitali birambulukufu omuli; okuteekawo obudde obweyawulidde, okuteekawo ekifo aw'okusabira abantu kyokka bonna ne balindirira ye yekka.
Kulaani tesuula bantu bigwo, singa yali ebasuula twadibadde ffenna mu mizikiti twagwa dda ne tunuubukanuubuka!”
Amir Sheikh Sulaiman Kakeeto annyonnyola: Obusiraamu tebugaana Musiraamu kusaba, Nabbi Muhammadi(SAW) yatulaga edduwa z'oteekeddwa okusaba ku buli nsonga, ebiseera byazo, na butya bw'oteekeddwa okusaba.
Wabula mu Busiraamu sirabangayo kyawandiikibwa kyonna nti waalingayo ensaba esuula abantu ebigwo! Eyo enjigiriza sirina we ngimanyi wadde we nnali ngiwulidde okuggyako ku Sheikh Kawere yekka!
Omwogezi w'ekitebe kya Kampalamukadde Haji Nsereko Mutumba agamba, “Sirina kye mmanyi ku nsaba eyo kuba sinnagendayo. Nja kumala kugendayo nneetegereze ebiriyo oluvannyuma nfune ekituufu.”