Summary
President Museveni has cautioned
born again churches to desist from attacking and insulting other religions because
this has caused conflict and disunity in the past. . He said that people should
not be converted by force . He cautioned born again churches against burning shrines
for ancestral worship.
Comment
There is nothing wrong with a
biblical criticism of religious beliefs and practices in say the catholic church, however, the President is some how right when it comes
to burning shines where ancestral worship is practiced. Some carnal Pentecostal
faithfuls torch ancestral worship
shrines without the consent of the witchdoctors especially during the night. This
is wrong. However, there is nothing wrong with torching and ancestral worship shrine after getting the consent of a witchdoctor
who has become born again.
Abalokole mukomye okuvumirira eddiini endala - Museveni
PULEZIDENTI Yoweri Museveni abuuliridde
Bannayuganda obuteeyawulayawula olw’eddiini n’asaba abaagala okukyusa
abantu babazze mu ddiini endala okwewala okutiisatiisa n’olulimi
oluvvoola.
Museveni, ng’ayogerera mu kusaba kw’eggwanga
okwetabiddwaamu n’abakungu okuva mu mawanga amalala ku Hotel
Africana eggulo ku Lwokusatu, yagambye nti mu biseera ebiyise eddiini
zaakola kinene nnyo okwawulayawula mu bantu n’agamba nti y’ensonga
lwaki bwe yajja mu buyinza, yasookera ku magye n’aggyayo ebyeddiini.
Yalabudde Abalokole okukomya okuvvoola eddiini endala
wabula bazisseemu ekitiibwa nga bwe baba baagala okukyusa abantu
bakikole okuyita mu kubalaga ebyokulabirako mu bikolwa sso si kukozesa
lyanyi n’okuvvoola, era wano kwe kulagira Dr. Joseph Serwadda (akulira
Born Again Faith) naye eyabaddewo, okubunyisa enjiri eno.
Museveni yakoonye ne ku ky’Abalokole okwokya amasabo n’agamba nti
bwe baba baagala okukyusa abasamize, babasikirize na bikolwa kasita baba
nga tebamenye mateeka.
“Mu 1986, nga nnaakajja mu buyinza, waliwo abaali baagala mpere
okusaba kw’omu biwempe ne ng’aana, naye kati abaali mu biwempe bazimbye
amakanisa gaggadde,” Museveni bwe yayongeddeko.
Abalala abeetabye mu kusaba kuno mwe muli Katikkiro wa Uganda
omuggya, Dr. Ruhakana Rugunda, abalamuzi, ababaka ba Palamenti,
abakulembeze b’eddiini ab’enjawulo okuva wano ne mu mawanga amalala ne
bannabyabufuzi bangi.
Mu kusooka, amyuka Sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanyah, yasabye
Bannayuganda okwebaza Museveni olw’okusaawo eddembe lya buli omu
n’agamba nti y’ensonga lwaki y’omu ku bakulembeze abasinze okukulembera
eggwanga lino ebbanga eppanvu.