Wednesday, 17 October 2012

Pastor Martin Sempa started serving his sentence of 100 hours of community service at Mulago referral Hospital. Sempa is one of the four Pastors convicted of conspiring to defame fellow Pastor Robert Kayanja.



FIRST SEE:
Pastor Sempa starts Community service Sentence

www.youtube.com/watch?v=2vE0SeTFanM
Pastor Sempa starts Community service Sentence:-
Pastor Martin Sempa started serving his sentence of 100 hours of community service at Mulago referral Hospital. Sempa is one of the four Pastors convicted of conspiring to defame fellow Pastor Robert Kayanja.

http://www.facebook.com/ntvugandafanpage/posts/426726217375838
 Omusumba Martin Sempa mu gganduula ng'aggya omulwadde ku kabangali ya poliisi okumutwala mu waadi okujjanjabibwa.Ekif: Deborah Nanfuka

Paasita Ssempa atandise ekibonerezo kkooti kye yabasalira



Oct 16, 2012

Bya Deborah Nanfuka    
OMUSUMBA Martin Ssempa atandise ekibonerezo ekyamusalilwa kkooti olw'okulebula omusumba Robert Kayanja mu ddwaaliro e Mulago n'okusitula abalwadde okubaggya ku kabangali ya poliisi okubatwala okujjanjabibwa .

Omusumba Ssempa atandise ku Lwakubiri ku kazolite awatuukirwa abalwadde abayi ng'akola gwa kuggya balwadde ku kabangali ya poliisi, okubawandiika amannya wamu n'okubavuga mu bugaali n'abatwala mu waadi we bajjanjabirwa.

"Omulimu gunyuma era nneebaza abasawo okujjanjaba abalwadde ne bataasa obulamu, kyokka ekkubo lyempiseemu lya nnaku nnyo kubanga baatupangako ebisangosango. Ng'enda kusigala nga nkola emirimu egiyamba abantu nga gino", Omusumba Ssempa bwe yategeezezza.



Yategeezezza nti obufere n'obutabeera baamazima mu ggwanga bibaluma. Yagaseeko nti yali waakutandika ku Mmande kyokka abadde mulwadde era akyali ku ddagala.

Omwogezi we ddwaaliro lya Mulago Enock Kusasira  ategeezezza nti Omusumba Ssempa yatandese ekibonerezo kye ku Lwokubiri ng'akola okuva ku ssaawa 3:00 ez'okunkya n'annyuka ku 9:00 ez'emisana nga waakumaliriza ekibonerezo mu wiiki 3.

Omusumba Solomon Male awezezza wiiki nnamba n'akola ekibonerezo kye. Male akola gwa kulagirira balwadde mu ddwaaliro e Mulago n'okubawandiika ate David Mukalazi akola mu Mulago omukadde ng'awandiika n'okuyambako abalwadde.