Wednesday, 17 October 2012

Paasita akwatiddwa mu bubbi bw’emmundu(Pastor Arrested for armed robbery)





Pastor Bonny Sserube Lwanga,  who claims to be the lead pastor of Ebenezer Christian Embassy, Kyengera has been arrested for robbing 36 million shillings  from an Indian business man at Gun point together with two others. 



Paasita akwatiddwa mu bubbi bw’emmundu


Kyengera

Bya JOB NANTAKIIKA

PAASITA n’abasajja abalala babiri bakwatiddwa nga kigambibwa nti beekobaana ne banyaga ssente ku musuubuzi

Omuyindi obukadde 36 nga beeyambisa emmundu ekika kya basitoola n’emmotoka ya paasita.

Paasita Bonny Sserube Lwanga 30, agamba nti ye nannyini kkanisa eya Ebenezer Christian Embassy esangibwa e Kyengera mu Wakiso ng’abeera Busega ne banne abalala babiri Alan Oyetisize 28 ow’e Bbira ku lw’e Mityana ne
Said Miiro 29 ow’e Busega be baakwatiddwa.

Omuduumizi wa poliisi mu disitulikiti y’e Wakiso Vincent Irama agamba nti Omuyindi gwe babbako ssente zino ye Sadick Jabal ow’essundiiro ly’amafuta erya Oil Africa erisangibwa e Bulenga.

Yategeezezza nti Jabal yabadde atwala ssente zino mu bbanka mu kibuga Kampala kyokka Oyetisize ne Miiro nga bano bombi batunda musenyu okumpi n’essundiro ly’amafuta lino b’ateebereza okuba nti baabadde bamulinnya kagere nga boogeraganya ne paasita ne bamugamba alinnye bodaboda era yabadde yaakalinnya, mmotoka Premio gye yavudde n’etomera booda Omuyindi n’amuvuga ne bagwa wansi.

Paasita Sserube yatuuse n’emmotoka ye nnamba UAJ 375H kibina n’ateekamu Omuyindi nga yeefudde amuyamba nti bamutwala mu ddwaaliro.

 Mmotoka ya Paasita Bony Lwanga Sserube ow’ekkanisa ya Ebenezer Christian Embassy, ekika kya Corona ku kkono gye babbiramu omuyindi.

Kyategeezeddwa nti Omuyindi Jabal yalaajanye bamuzzeeyo ku ssundiro ly’amafuta nti wano we baamuggyiddeyo emmundu ekika kya basitoola ne bamuvuga okumutuusa e Kyengera ne bamutwala mu kakubo akatono ne bamunyaga oluvannyuma ne bamusuula eyo, abatuuze gye baamusanze nga takyesobola ku ssaawa 8 ez’emisana.

Bino byonna byabaddewo nga 5/10/12 era paasita alumiriza mikwano gye poliisi gy’etennakwata; Billy ne Mulunda ng’agamba nti bano be bamanyi ebikwata ku mmundu.

Paasita yategeezezza poliisi nti ku ssente zino zonna yafunako obukadde busatu n’emitwalo nkaaga zokka.

Irama yategeezezza nti paasita ono ne banne bagenda kutwalibwa mu kkooti bawerennembe n’ogw’okubbisa emmundu era omusango guno guli ku fayiro nnamba SD/22/05/10/12.

 Kkanisa ya Paasita Sserebe esangibwa e Kyengera mu Nkokonjeru Zooni.