Friday, 17 January 2014

Uganda Rogue Pastor William Muwanguzi given an extra sentence of three years in Prison

Eyeetita Paasita Kiwedde bamwongedde ekibonerezo ekirala
 
 Jan 16, 2014 

 Bya JOHNBOSCO MULYOWA

PAASITA William Muwanguzi amanyiddwa nga Kiwedde ali ku kibonerezo ky’okusibwa emyaka ebiri olw’okweyita ky’atali, waakwevuma olunaku lwe yakwata ekkubo n’agenda e Masaka okufera abaayo.

Ku kibonerezo kino ayongeddwaako ekirala eky’okugezaako okutoloka mu kkomera lya Gavumenti e Kaliisizo mu Rakai.

Omulamuzi wa kkooti y’eddaala erisooka e Kaliisizo, Suzan Awid yamuwadde ekibonerezo ekirala kya kusibwa emyaka esatu ku musango gw’okugezaako okutoloka mu kkomera.

Omusango gw’okweyita Faaza n’afera Abakristu b’e Kaliisizo mu Rakai gwamusalirwa ku nkomerero y’omwaka oguwedde.

Kati Kiwedde waakumala emyaka etaano mu kkomera ekkulu e Masaka.





Also read:

Uganda’s Rogue Pastor, William Muwanguzi arrested: He has changed his names to Paul Mwamba and Started a church in Eldoret Kenya


Uganda’s Rogue Pastor, William Muwanguzi( Kiwedde) remanded to Luzira Prison


Con Man Pastor who is always arrested by the Uganda police and set free : ‘Pastor’ Steven Muwanguzi arrested in Kaliisizo in Rakai for conning people: He was posing as roman catholic priest