"Christianity began as a personal relationship with Jesus
Christ. When it went to Athens, it became a philosophy. When it went to
Rome, it became an organization. When it went to Europe, it became a
culture. When it came to America, it became a business.When it came to
Africa , it became witchcraft |
Fake Pastor Augustine Yiga embroiled sex escapees with multi women |
The word of the LORD also came unto me, saying, 2 Son of man, thou dwellest in the midst of a rebellious house, which have eyes to see, and see not; they have ears to hear, and hear not: for they are a rebellious house. Ezek 12:1-2
Pastor Yiga Sued for sexually using a young girl and later dumping her.
Woman alleges that Pastor Yiga impregnated her and infected her with HIV
When Wolves disguise as Pastors : Pastor Yiga dragged to police over child neglect
PASTOR AUGUSTINE YIGA :
LUCIFERIAN OR BORN AGAIN
http://watchmanafrica.blogspot.com/2008/03/pastor-augustine-yiga-luciferian-or.html
http://watchmanafrica.blogspot.com/2008/03/pastor-augustine-yiga-luciferian-or.html
Pastor Yiga Sued for sexually using a young girl and later dumping her.
Uganda’s Occult Prosperity Female Prophetess Maggie Kayima a.ka. (Nabbi omukazi) to fast for 40 days pleading to God to restore a split popular secular band. She has promised that After the fast the band members are going to get back under their former name eagles productions.
Uganda’s Prosperity Female Prophetess (Nabbi omukazi) Maggie Kayima’s Occult connection exposed
Ugandan Celebrity Prophetess, Maggie Kayima quizzed by police over necromancy song
Yiga will end up like this fake pastor William Muwanguzi |
Uganda’s Rogue Pastor, William Muwanguzi( Kiwedde) remanded to Luzira Prison
Uganda’s Rogue Pastor, William Muwanguzi arrested: He has changed his names to Paul Mwamba and Started a church in Eldoret Kenya
PASTOR MUWANGUZI SAYS HE WAS BORN
WITH A BIBLE
Pastor Muwanguzi arrested with
over 40 women panties in his car
Pastor Muwanguzi now uses SMS to
con People
City pastor quizzed over rape
Rogue Pastor Kiwedde Arrested
Nabbi omukazi ayanise ebikolobero bya Paasita Yiga: 'Alinga aliko ekitambo ky'obwenzi, nange yannimbalimba n'ankozesa'
Oct 26, 2015
Bya
MEDDIE MUSISI, HANNINGTON NKALUBO, GEORGE BUKENYA NE HERBERT MUSOKE
NABBI Omukazi agambye nti ekyamuddusa
ewa Paasita Yiga Mbizzaayo nga buli kiseera abawala bajja ku kkanisa
okusaba obuyambi bw’abaana be yabazaalamu.“Yiga alinga aliko ekitambo, bwe kirinnya buli mukazi amusala mu maaso aba ayagala kwebaka naye ne bwaba mukazi mufumbo. Abawala abagenda mu kkanisa ye e Kawaala okubasabira abo yeerobozaamu b’ayagala okwebaka nabo era bangi abafunyisa embuto”, Nabbi omukazi ng’amannya ge amatuufu ye Maggie Kayima bwe yagambye.
Bino biddiridde omuwala Brenda Nalubega 26, okutwala Augustine Yiga mu kkooti n’amulumiriza bwe yamuzaalamu omwana n’amusiiga ne siriimu kyokka n’agaana okumuwa obuyambi.
Nalubega yasooka kutwala Yiga mu FIDA kyokka Yiga n’asooka okwegaana omwana. Bwe baasalawo okumutwala bakebere omusaayi (DNA) ate olwo Yiga n’akkiriza okumuwa 150,000/- buli mwezi. Bwe yasasulako emyezi mitono n’abivaako, olwo Nalubega kwe kugenda mu kkooti y’e Nabweru eyalagira Yiga asasulenga emitwalo 80 buli mwezi.
Olwo Nalubega yali akwataganye n’ekitongole kya bannamateeka ba Legal Aid abannyonnyola kkooti nti ssente zeetaaga okulinnyisibwa kubanga omwana gwe baamuzaalamu yatandika okusoma ate nga ne nnyina mulwadde ali ku bujjanjabi.
Kino Yiga yakiwakanya era ensonga kwe kusindikibwa ku kkooti ya Buganda Road era okusaba kwe ne kugobwa ku Lwokutaano.
Ayogedde ku bawala abalala
Wabula Nabbi omukazi Kayima amaze emyaka munaana ne Yiga yagambye nti abawala b’afunyisizza embuto bayitirivu era bonna bwe banaavaayo okumulumiriza ensi ejja kwewuunya omusajja oyo. Olumu nnamwandu w’omuyimbi omu yagenda ewa Yiga okusaba obuyambi kyokka Yiga n’amuzza mu kafunda era okukkakkana ng’amuzaddemu omwana.
Nabbi yayogedde abawala (amannya galekeddwa) okuli n’abaali mu Bbandi ya Revival eya Yiga bagamba nti nabo Yiga yabafunyisa embuto kyokka n’atabawa buyambi.
Ekibi, Kayima agamba nti Yiga bw’amala okwebaka naawe tafaayo ku biddirira ng’anoonya mulala. Muzibu okukwasa ku ssimu oba okumulaba nga takwetaaga, n’olwekyo abawala bakeera ku kkanisa nga basaba buyambi, abasinga bajja n’abaana.
“Emirundi mingi abakazi bakeera n’abaana ne babeera awo nga teri abafaako. Nze ekisa nga kinkwata ng’omukazi ne nkwata ssente ne mbawa ne bagenda”, bwe yategeezezza.
Nabbi omukazi yalabagana ne Iga mu 2007 nga wa myaka 19, bwe yagendayo okumusabira kyokka Yiga n’amukozesa.
Yannimbalimba bw’andabyemu ekitone ky’okubeera Nabbi n’asalawo annyambe nkule mu by’omwoyo, kyokka gye byaggweera ng’ankozesezza. Oluvannyuma nnazuula nga Yiga tali ku mulamwa gwa bulokole kubanga abawala bangi baali bagudde mu kitimba kya Yiga nga n’abasinga abafunyisizza embuto.
Mu 2012, Nabbi omukazi agamba nti kyali kimuyitiriddeko ng’abawala Yiga be yaganza mu kkanisa ne mu Bbandi ye eya Revival batandise okulowooza nti Nabbi y’abalemesa, olwo ye kwe kusalawo baawukane ne Yiga. “Twatuula ku mmeeza eby’omukwano gwaffe ne bikoma ne tusigala nga tuli ku bizinensi”, bwe yagambye.
“Nnasalawo okwogeranga n’abawala abajjanga mu kkanisa nga mbalabula obutagwa mu katego ka Yiga, kyokka ng’abawala tebawulira buli gw’asaba omukwano akkiriza bukkiriza”, bwe yagambye. Mu 2014, twesanga nga tetukyasobola kweyongerayo ne Yiga kwe kwawukana mu byonna. Olwo Nabbi yali afunye omusajja Omuzungu ekitaasanyusa Yiga.
Yeewuunya Yiga kubanga ne bwe baayawukana yasigala amutiisatiisa nga kumpi buli lunaku amutumira abantu addeyo mangu ewa Yiga oba si ekyo ajja kulaba ekimugwako. Kino kyavaako Nabbi okwewogomako e South Afrika gye yava n’adda e Nairobi ng’ayagala embeera esooke ekkakkane. Okuva lwe yadda era talina mirembe olw’abasajja ba Yiga abamutiisatiisa.
Wabula yagambye nti wadde Yiga mubi, ye y’amufudde ow’ettutumu. Yamuyamba okukwata ennyimba okuli olwa Nabbi omukazi, omusajja ayenze, mwami bibumba ne Yatuma lwe yayimba ne Chameleone.
Ekifuula Yiga omuzibu okulwanyisa y’ekkanisa ye esomba abantu abangi kyokka ng’ebikolobero ebikolerwayo teri abiringiriza wadde okulondoola. Okwo agattako okukolagana n’abanene, yatandika ne ttivvi eya ABS Television n’okwesala ku Basumba oba abakulembeze b’Abalokole n’asigala kukola bibye.
YIGA AKITADDE KU BAMULWANYISA
Eggulo, Yiga yasinzidde mu kkanisa ye eya Revival e Kawaala n’agamba nti waliwo Abasumba abamulwanyisa olw’enkulaakulana gy’atuuseeko n’atuuka n’okukola Ttivvi nti era be bakuma omuliro mu muwala Nalubega.
Yagasseeko nti: Omuwala agamba nti nnamusiiga obulwadde ate ye mulwadde! Nze mundabako awannuma? Omulamu asiiga omulwadde? Yayongeddeko nti omuwala embeera gy’alimu ogwo gwe muggo Katonda gw’amukubye olwa kye yayise okuwaayiriza Omuweereza wa Katonda.
Abawala abalala boogedde ebikolobero bya Yiga 'Mbizzaayo'
Wakati nga Hadijah acamuse, Yiga yamutegeeza nti: Yesu andaze ekifo eky’ebbeeyi ky’ogenda okugula mu bbanga ttono era hhenda kukutwala we kiri nkikulage.
Yamutwala e Kawempe era baasibira ku wooteeri okukkakkana nga lubuto!
Yamuzaalamu omwana kyokka n’agaana okumulabirira olwo naye kwe kugenda mu ofiisi ya Paasita Moses Solomon Male nga April 14, 2008 n’amuloopa.
Allen Kuwaya naye yagwa mu buzibu bwe bumu. Yiga yamuzaalamu abaana babiri era embirigo zaabwe zaatandikira mu FIDA ng’olwo Yiga atumye bakanyama ne babba abaana ne babatwala nti be yali akozesa okukanda Paasita ssente.
Allen yamala kugenda mu FIDA n’ewaliriza Paasita Augustine Yiga Mbizzaayo ow’e Kawaala okuddiza omukazi abaana. Kyokka Yiga era yagaana okumuwa obuyambi, era ensonga ne zigenda mu kkooti y’e Nabweru.
Ebyatuuka ku Allen bifaananira ddala n’eby’omuwala Brenda Nalubega, 26, eyawaludde Yiga okumuleeta mu kkooti y’oku Buganda Road wiiki ewedde olw’okumuzaalamu omwana ate n’atamuwa buyambi.
Nalubega yagenda ewa Yiga okumusabira wabula n’amukaka omukwano, okukkakkana ng’amuzaddemu omwana kati ow’emyaka omusanvu.
Abamu ku bawala b’abadde akolako ebikolobero baddukira mu kkooti kyokka waliwo n’ababadde batwala ensonga zaabwe mu Basumba ab’enjawulo okuli ab’ettabi ly’ekibiina ekigatta Abasumba ekiyitibwa Kampala West okutuusa Yiga lwe yeewaggula n’abaawukanako ng’agamba nti bamulwanyisa olw’ettutumu ly’afunye.
Abalala beekubira enduulu ewa Male ow’ekibiina kya Arising for Christ ekirwanyisa ebikolobero mu makanisa.
EBIRALA...
..............................................................................................................................
MALE ALAZE OLUKALALA LW’EBIKOLOBERO BYA YIGAMale yagambye nti bangi balumiriza Yiga okubafumbiikiriza era yeewuunya gavumenti okuleka abantu nga Yiga okuyinaayina.
Asinga kwettanira bakyala abasuubuzi abalina ssente, abawala abato abatannaweza myaka 20, n’abali mu matendekero aga waggulu.
Ku bano kuliko ow’e Nansana amanyiddwa nga Maama Kyaka eyalina edduuka lya Hardware. Yagenda ewa Yiga okumusabira kyokka n’amwefuulira n’amuzza mu kyama.
Engeri Yiga gye yali amaze okutegeera byonna ebimukwatako, yamutumanga ssente aziweeyo mu kkanisa okukkakkana nga n’edduuka ligudde. Ebyembi, omukazi yafuna olubuto n’azaala omwana kyokka n’agaana okumulabirira.
Waliwo Sarah Muwanguzi, eyaloopa nga May 16, 2006 ng’alumiriza Yiga okumuganza ng’amulimbye okumuwasa kyokka n’amaliriza ng’amubbyeeko ekyapa nga kati kiri mu mannya ga Yiga.
Nnamwandu Olive naye yagenda okumusabira n’amuganza. Nti ono yali amufudde mukazi we ng’alina emmotoka ey’ebbeeyi gye yatambulirangamu. Kyokka amulumiriza nti yamubba ettaka n’emmotoka n’amusulaawo.
Mu balala kuliko omukazi w’e Kabowa mu Ssembuule Zooni agamba nti Yiga yamuzaalamu abaana babiri era mu kumukkakkanya, yamukwasa omuyambi we akola ku kkanisa, Mega Nakisozi ng’amuwa 30,000/- buli wiiki era zimuweebwa.
Yamukwana mu 2006. Nabbi Omukazi (Maggie Kayima) eyamala ne Yiga emyaka musanvu yagambye nti bw’abala ebikolobero bya Yiga okoowa kuba buli kika kya mukazi akizaddemu.
Male yagambye nti waliwo n’Omujaasi w’e Sironko yali aludde ng’awulira nti Yiga aganza mukyalawe. Yabalinya akagere okumala ekiseera okutuusa lwe yabakwatta nga beerigomba. Yiga baamutwala bukunya ku poliisi y’e Kawempe wabula abaserikale omusango ne bagufutyanka.