The Bukedde, Newpaper of 3rd September, 2010 was awash with a story of Pastor Muwanguzi who was arrested with women panties in his car. It was also reported that this pastor was caught with a gun and miliarary attire in his house. Women have come forward to accuse this pastor of rape but the state in Uganda just does nothing. One time Army officers spiced up Muwangizi’s wedding. Muwanguzi has been involved in many extortion scandals but he contiues to go away with it. Such are the antics of political pastors in Uganda. Once they are got pants down, they claim to be adent supporters of the current president. As usual after the current saga, it is claimed that Muwanguzi has simply vanished.
Muwanguzi bamukutte n’obuwale bw’abakazi
http://webcache.googleusercontent.com/search?q=cache:V6imv36n5t0J:https://bukedde.co.ug/index.php%3Foption%3Dcom_content%26view%3Darticle%26id%3D28649:muwanguzi-bamukutte-nobuwale-bwabakazi%26catid%3D1:omuko-ogusooka%26Itemid%3D591+Muwanguzi+n%27obuwale+bw%27abakazi&cd=1&hl=en&ct=clnk&gl=ug
Bya Meddie Musisi
Bukedde, Thursday, 02 September 2010 13:40
POLIISI ezudde obuwale bw’abakazi obw’omunda obusukka mu 40 mu mmotoka gye yasuuzizza Paasita Muwanguzi nga kiteeberezebwa nti abadde abakaka omukwano n’abalagira obuwale bwabwe okubulekamu.
Mu birala ebyazuuliddwa mu mmotoka eno bye biragalalagala ebiteeberezebwa nti byanywesa abakazi ne bamuwunga n’alyoka abasobyako n’ebyawongo ebyabadde bisibiddwamubiveera.
Ebirala ebyazuuliddwa kuliko ebiteeteeyi by’abakazi, engatto zaabwe n’ebintu by’abakyala ebirala. Muwanguzi yeesimattudde ku baserikale ba poliisi n’adduka nga n’okutuusa kati tewali amanyi gy’ali ng’akyagenda mu maaso n’okunoonyezebwa.
Akulira poliisi y’e Nateete, Richard Kuteesa yategeezezza nti bakama be baamulagidde aggalire abasirikale be bana be yasindise e Namungoona mu maka ga Muwanguzi okumuggyako emmundu gye yabadde nayo kyokka ne bakomawo ne bamutegeeza nga bwe yabadde abadduseeko.
Ku poliisi ez’enjawulo abakazi bagenzeeyo emirundi egiwerako nga baloopa Muwanguzi bw’abasobezzaako era ebyazuuliddwa mu mmotoka ye byongedde okukakasa poliisi bwazze yeenyigira mu bikolwa bino.
Eyasembayo yali muyizi wa ssomero eyagamba nti Muwanguzi yamukaka omukwano mu loogi lwa mpaka ng’amusonzzeemu pisito era nga teyayambala na kondomu Muwanguzi okusooka okukwatibwa kyaddiridde okuggyayo pisito n’atandika okukuba amasasi mu bantu e Nateete ku Lwokubiri ekiro n’asonga pisito mu omu ku bantu abaabadde bavuga mmotoka zaabwe n’amulagira amudduse amutwale ewuwe e Namungoona.
Oluvannyuma poliisi yayungudde abasirikale ne bazinda amaka ge e Namungoona okumukwata n’okumuggyako emmundu kyokka bwe baamuleese ku poliisi e Nateete, n’abategeeza nti emmundu yabadde agireseeyo eka.
Poliisi y’e Nateete yamutaddeko abasirikale bana n’agenda nabo e Namungoona okuggyayo emmundu kyokka mu ngeri etategeerekeka baakomyewo ne bategeeza nti olwabawadde emmundu n’abeemululako n’adduka era mu kiseera kino abasirikale bano baggaliddwa.
Muwanguzi era yakwatiddwa ne densite eziraga nti akola mu ofiisi ya pulezidenti era n’abakuumi be yabadde nabo baabadde ne densite eziraga nti bajaasi ba UPDF.
Muwanguzi asangiddwa n’engoye z’amagye
http://www.bukeddekussande.co.ug/detail.php?mainNewsCategoryId=3&newsCategoryId=169&newsId=730899
Bya Josephine Nakawunde
POLIISI ezinze ennyumba ya Paasita Muwanguzi e Nakulabye mu Kampala n’ekukunulayo ebyambalo, enkofiira n’engatto eby’amagye.
Wasoose kubaawo nsitaano ng’abawaka beesibidde mu nju okulemesa poliisi naye eyabasizza akasiiso okutuusa lwe bagguddewo nga balowooza poliisi egenze.
Abaserikale baakukunuse gye baabadde baliimisiza ne bayingira enju gye baayazizza ne basanga ebyambalo by’amagye.
Akulira poliisi y’e Natete Richard Kuteesa agambye nti Muwanguzi aguddwaako emisango esatu, ogw’okunyagisa emmundu, okwefuula omuserikale wamu n’oku-kozesa emmundu obubi. Muwanguzi ye akyabuze.
Published on: Saturday, 4th September, 2010