Omukazi ng’agenda asika akateeteeyi bwe yabadde afulumizibwa mu Klezia ku lutikko e Lubaga mu kusaba
Comments
Kato
Mivule
7
YEARS in Jail for Mini-Skirts and watching Porn...
Please,
please, please, let someone help stop the "Taliban-nization" of poor
Ugandans! There are other bigger issues to address, among them, corruption and
theft of public funds...
Kizito
Michael George
Kudos
Bro.Kato, this is real talibanisation of Uganda. And even if this law if
passed it will be impossible to enforce it with out serious repercussions. Will
they round up all the miniskirted university girls, female MPs, girls in pastor
kayanja’s church, wives of Male MPs, University professors etc etc. More so, is
Museveni so naïve to risk losing all the marks he has scored internationally on
the gender empowerment in Uganda.
They are more burning issues to handle than incarcerating skimpy dressed ladies
.
Omukazi bamugobezza enkunamyo mu Klezia
Dec 29, 2012
Kampala
Bya MARGRET
ZIRIBAGGWA NE BENJAMIN SSEBAGGALAAbakulembeze b’enzikiriza ez’enjawulo mu ggwanga bavuddeyo ku mukazi eyafulumiziddwa okuva mu mmisa ku Lutikko e Lubaga ku Ssekkukulu olw’okwambala enkunamyo.
Omukyala ono, eyabadde mu kiteeteeyi ekimyufu kyokka nga kimpi nnyo, yaggyiddwa mu mmisa ne bamufulumya n’alinnya emmotoka ye eya Ipsum n’agenda.
‘Bwe twambala obubi mu masinzizo abato bandigutwala ng’omusono’ Vicar General wa Kampala, Msgr Charles Kasibante yannyonnyodde nti Klezia tegenda kuvaayo egambe bantu nti oteekwa kwambala bw’oti, naye eteeka essira ku bintu bisatu: Omuntu ayambale mu ngeri eweesa ekitiibwa ng’abeera kyakulabirako eri abalala, tokola kintu kiteeka banno mu kikemo era Yezu yakiteekako essira nti oyo eyeesittaza abato asibwe olubengo mu bulago asuulibwe mu nnyanja.
“Bwe twambala obubi, abalala bayinza okukitwala nti musono naddala abato ne bakikoppa okukitwala mu maaso. Tujja kwongera okukiteekako essira okulung’amya ku nnyambalanaddala mu bavubuka,” Msgr Kasibante bwe yaggumizza.
Bwe tulaba ayambadde obubi tumusibako kaleesu - Sserwadda Omusumba Joseph Sserwada owa Victory Christian Centre mu Ndeeba agamba nti abawala ensangi zino bakoppye nnyo enneeyisa mu mawanga g’Abazungu:
“Abazadde baayonsanga abaana baabwe kyokka nga bwe bamala, babikka amabeere gaabwe, naye kati abaana bayita bukunya! Obwamalaaya abantu babukola kyere nga kati abakulembeze b’eddiini kibakakatako okwongera okubuulira abawala engeri ku nneeyisa.
“Mu kkanisa yaffe twassaawo buleesu nga bwe tulaba ayambadde mu ngeri eyeesittaza abalala nga tumusibako kaleesu. Bwe gabeera amabeere nga ge gali ebweru, nago tugasibako era bangi bwe bakomawo okusaba baba bakyusizza mu nnyambala,”
Sserwadda bwe yannyonnyodde. ffe engoye z’abadigize twazigoba mu kkanisa - bp. jackson matovu
Ate Omulabirizi Jackson Matovu owa Central Buganda agamba nti, “Ffe abalabirizi abava mu Buganda twakiraba era ng’olukiiko olutugatta ne tusalawo obutagatta abagole abambadde obubi ne tubalagira bambale engoye ezibikka ekifuba kyonna.
Emisono gy’engoye waliwo ze baabakolera nga za kucakala kyokka ate osanga ze baleese mu kkanisa!” ‘bannaddiini tebakyabuulira njiri eryowa myoyo gya bagoberezi’
Omutume Alex Mitala agamba nti, “Ababuulira enjiri baddeyo okubuulira enjiri ey’obwakabaka bwa Katonda, Yesu gye yalagira era abatume gye baabuulira eyakyusanga abantu. Abalyoyi b’emmwoyo balemeddwa okubuulira enjiri entuufu ekwata ku bantu ne bakyusa enneeyisa yaabwe omuli n’ennyambala.
Obusiraamu bugamba ki? Omwogezi wa Uganda Moslem Supreme Council, Hajji Nsereko Mutumba yagambye nti mu Busiraamu, amateeka galagira abakazi okwambala engoye empanvu n’okwebikkirira ne bwe baba tebagenda mu muzigiti kusaala.
Minisita w'empisa Rev. Simon Lokodo
Palamenti
ereeta etteeka eriwera abakazi okwambala mini
Kampala
Bya Muwanga
Kakooza MINISITA w’okukwasisa empisa Rev. Simon Lokodo agambye nti gavumenti ekyagenda maaso n’entegeka zaayo ez’okussaawo etteeka eritangira abakazi okwambala ‘mini’ n’engoye endala ezeesitaza abalabi.
Rev. Lokodo yagambye nti mu tteeka erituumiddwa ‘’anti pornography bill ‘’ litangira abantu okwambala mu ngeri eyesitazza era lirimu ebibonerezo ebikambwe nga n’ekimu ku byo kyakusibwa myaka musanvu.
Yategeezezza ku palamenti nti etteeka ligenda kuleetebwa lwa bavubuka naddala abakazi abayitiridde okwambala obubi ne beesitazza ensi. ‘’Bamala okwambala enkunamyo ne basikiriza abasajja ate bwe babakwata nga bakaayana nga be babeeyitidde’’ Rev. Lokodo bwe yagambye.
Yagambye nti asuubira nti palamenti bw’enaava mu ggandaalo ejja kuba esobola okuteesa ku tteeka lino n’oluvannyuma eriyise pulezidenti bw’anaalisaako omukono lifuuke etteeka.
Kyokka Minisita Lokodo yagambye nti etteeka erijja ligenda kuzingiramu abantu abasaasaanya ebikolwa by’obukaba ng’okukuba ebifaananyi by’abali obukunya n’ebirala.