Tuesday, 22 January 2013

Eating the world!!! Celebrity Ugandan Prosperity Musician Pastor Dr. Tee (real name Travis Kazibwe) of Kann Records is now caught up in a sex scandal involving three wives


Celebrity Ugandan Musician Dr.Tee


Singer Dr. Tee Now a Full Time Pastor

http://www.newvision.co.ug/D/526/577/745714

The New Vision, 3 February 2011

CELEBRATED music producer Dr. Tee (real name Travis Kazibwe) of Kann Records in Makindye has continued his meteoric rise in spiritual circles.

Dr.Tee with his new catch Malaika


Just a short time after raiding the gospel music realm, Dr. Tee is now a full time evangelist. Dr. Tee told our snoop, recently, that he has now gone into full evangelistic ministry as a co-pastor with Clear Ministries of God Church, which is located in Kazo.

Dr. Tee nonetheless said he would continue to do his work at Kann Records, while at the same time saving souls for God. Congratulations, Dr. Tee.

 Dr.Tee's three wives from left  Malaika, Bashabire in the middle  and  Mpologoma.

Dr Tee sets up church in Kazo


Publish Date: Nov 26, 2010


SINGER and music producer at Kann Records, Makindye, Travis Kazibwe, whose stage name is Dr Tee, is now a pastor. He preaches every Sunday at Clear Ministries of God Church at Kazo, Kawempe Division in Kampala.



He runs the church with pastors Richard Mugisha, Richard Lwanja and John Kato on land donated by George Ssemuwemba.


Dr. Tee says he will stick to Gospel music and converting people. He told snoops, he converted Catherine Namugumya and her fiance Willy Mukaabya whom she introduced recently with sponsorship from the church.


 Bashabire with Dr Tee's children

Tewali alitwawukanya ne Dr.Tee-Betty Mpologoma


Oct 27, 2012

Kampala
Bya STEVEN MUSOKE

OMUYIMBI Betty Mpologoma asekeredde abamuyeeya nti Dr. Tee amusuddewo n’agamba nti bbo omukwano gwabwe gwava wala era tewali ayinza kugwekiikamu. “Sirina bwe nnyinza kunnyonnyola nkolagana yange ne Dr. Tee, ye Polomoota wange, ye Producer era ettutumu lino lye nnina y’alintuusizzaako.

Dr. Tee tumaze emyaka egisoba mu 12 nga tuli ffembi era twetegeera bulungi. Eky’omukazi okuba n’abaana tekinjigula ttama kuba twagalana”.


Kino kiddiridde Dr. Tee ng’amannya ge amatuufu ye Trevor Kazibwe okwemulula ku Betty Mpologoma n’akyala mu bazadde ba Mariane Bashabirye, nkubakyeyo mu Bungereza.

Dr. Tee with  Bashabire.

Mpologoma yagambye nti okuva Bukedde bwe yafulumizza amawulire agalaga nga Dr. Tee bw’amusuddewo, abasajja bangi okusingira ddala abagagga b’omu Kampala bamukubira essimu nga bamusaba aleme kuterebuka olwa Dr. Tee okumukyawa kuba bajja kumulabirira aleme kujulirira mu ngeri yonna.

Okukakasa kino, ku Lwokusatu omu ku basuubuzi b’emmotoka mu Kampala Herman Ssebuufu yayise Mpologoma n’amuwa kaasi obukadde bubiri agira alyako aleme kulimbibwa basajja abayinza okumutuusa ku bizibu ebirala.

Mpologoma agamba nti Ssebuufu mwannyina era ye yatadde ssente mu vidiyo ye empya eya ‘Jjejjerebu’gye yakutte ne Dr. Tee.

Ku Ssande ewedde, Dr. Tee ne Mpologoma balina omukolo gw’okwanjula kwe beesisinkanidde ne bagwang’ana mu bifuba ekyasanyusizza abaabaddewo.



Dr Tee atabuse: Betty Mpologoma amugasseeko omukazi omulala

http://bukedde.co.ug/news/69551-dr-tee-atabuse-betty-mpologoma-amugasseeko-omukazi-omulala.html  

Kampala
Bya MEDDIE MUSISI

OMUYIMBI Dr. Tee ng’amannya ge amatuufu ye Trevis Kazibwe atabuse ne mukyalawe ‘Nkubakyeyo’ eyaakamwanjula oluvannyuma lw’omukazi okukizuula nti ate alinayo omuwala omulala gwe yazaddemu abaana babiri.

Maraine Bashabire omutuuze w’e Bungereza ye yatabuse ne bba (Dr. Tee) oluvannyuma lw’okukitegeera nti alina omukazi omulala ayitibwa Grace Malaika gw’aludde ng’apepeya naye era nga mu kiseera kino balina abaana babiri okuli omulenzi gwe yabbulamu amannya ge Devine Trevis Kazibwe aweza emyaka ebiri ate nga ge gamu ge yatuuma n’omulenzi omukulu owa Bashabire ssaako n’omuwala gwe yatuuma Sonnie Kazibwe.

 Dr. Dee with  Mpologoma

Omu ku mikwano gya Dr. Tee yategeezezza nti, omuwala Malaika aludde nga yeewaanira ku Bashabire ng’amukubira amasimu n’okumuwandiikira obubaka ku mukuttu gwa Facebook okuva lwe yalaba okwanjula kwabwe mu Bukedde okwabaddewo mu October w’omwaka oguwedde.

Yatutegeezezza nti Malaika olwalaba ebifaanannyi by’okwanjula n’ava mu mbeera n’ayombesa Dr. Tee olw’okumulekawo n’ayanjula omukazi omulala era okuva olwo yatandika okuteeka ebifaanannyi bye ng’ali ne Dr. Tee ku Facebook mu ngeri ey’okulumya muggyawe, Bashabire.

Obubaka Malaika bw’aweereza
Mu bumu ku bubaka bwe yateese ku mukutu guno ng’awandiikira muggyawe, Bashabire yamutegeezezza nti “Akusuubiza nsi, ate nze ansuubiza Ggulu….to my co-wife… I luv you darling..,” .

“I need your prayers oba wuwo, lwaki nze anjagala nnyo….lwaki bwe nvaawo akaaba?

“Ebyo eby’embaga gye yakusuubiza bya kiwaani kubanga nze yaginsuubiza dda”
Bashabire olwategedde ku ky’abaana, yalinnyiddewo ennyonyi era olwatuuse yagaanyi okugenda mu maka gaabwe ne Dr. Tee n’asalawo kusula mu wooteeri.

Ebirala ku Dr Tee......
Ensonda zaategeezezza nti oluyombo lwa Malaika ne Bashabire ku Facebook lututte akabanga nti era Bashabire yakubirako mukwano gwe, Robina Bisirikirwa n’amubuulira ku ky’omukazi ono Grace Malaika amuvuma.

Olwakwagala okwongera okulumya Bashabire omutwe, Malaika yaddidde ebifannanyi by’abaana be n’ebya Dr. Tee n’abiyiwa ku mukutu guno.

Ensonda e Mmengo ewasangibwa situdiyo ya Dr. Tee eyitibwa Song Factory zaategeezezza nti waliwo omuntu abadde atambulira ku Dr. Tee nga y’abuulira Bashabire buli kimu ekigenda mu maaso wano nga kw’atadde n’okumuwa olugambo olutali lutuufu.

Ku lumu ku lugambo lwe yategeezeza nti lwe yafuna ng’ali e London, kye ky’okugamba nga omuwala Malaika bw’atava ku situdiyo e Mengo nti bannyuka bombi kumpi buli lunaku ekintu ky’agamba nti kye kyasinze okukuulako Bashabire waya n’atuuka n’okulinnya ennyonyi okujja wano bagasimbagane ne bba ku nsonga zino.
Ensonda zaategeezeza nti okuva Bashabire lwe yatuuse wano, tebannabeerako mu mbeera nnungi ne bba era baatuuse n’okusisinkana abamu ku bakulembeze mu balokole babatabaganye.

 Muka Dr. Tee n’abaana baabwe.



Dr. Tee ayanjuddwa mu nkukutu n’aleka Mpologoma


Oct 26, 2012

Kampala
Bya MUSASI WAFFE
Omuyimbi Dr. Tee aleseewo Betty Mpologoma n’akyala mu nkukutu mu bakadde b’omukazi omulala, abamu kye baayise okwanjula olw’ebintu ebingi bye yatutte n’engeri omukolo gye gwatambuddemu.

Omukolo gwabadde Bulenga mu maka ga ssenga w’omukyala ku luguudo lw’e Mityana gye buvuddeko.
Omukazi ono eyategeerekese nga Mariane Bashabirye abeera London era balina abaana babiri omulenzi n’omuwala.

Dr. Tee ng’amannya ge amatuufu ye Trevor Kazibwe aludde ng’apepeya n’omuyimbi Betty Mpologpma, wadde nga tebabeera wamu.

Mpologoma bwe yabuuziddwa ku kya muganzi we Dr. Tee okwanjulwa omukazi omulala yagambye nti;  “Dr. Tee ‘sereebu’ atasobola kukola mukolo mu nkukutu.  Nze mukazi omukulu era nze mmanyiddwa n’olwekyo ebyo eby’okwanjula kwabwe tebinkwatako. Ekirala  nze eby’okwanjula omusajja si bye ndiko, nneekubira miziki

bategeka okwanjula makeke essaawa yonna.

Dr. Tee yawerekeddwaako abantu batono ddala okwabadde Karim Ssaava Nsubuga ne Robinah Bisirikirwa, nnamwandu wa Paul Kafeero era tebaayambadde kkanzu.

Abagenyi baabateereddewo weema wabweru mwe baabalamusirizza era okwefanaanyirizaako okwanjula, baafunye ekiseera ne babayingiza mu nnyumba ne baweebwa n’akatta mukago, gattako ekijjulo okwabadde empombo.

 Dr. Tee ne Mpologoma nga bakwata vidiyo ya ‘Jjejjerebu’.

Gye buvuddeko Mpologoma yafulumizza vidiyo y’oluyimba lwe olupya ‘Jjejjerebu’ lwe yakoze ne Dr. Tee nga ku bbiici emu gye baatutte n’ekitanda kwe baagikwatidde.

Ensonda zaategeezeza nti Dr. Tee aludde nnyo ne  ‘nkubakyeyo’ ono nga baalabaganira Sweden gye yamala ebbanga eddene ng’akuba ebidongo.

Yatutte ebintu ebiwerako omwabadde n’enkoko y’omuko era n’agimwekwasiza. Wano mu Buganda enkoko eweebwa omuko mu kwanjula.