Monday, 8 March 2010

Pastor Muwanguzi now uses SMS to con People

Muwanguzi kati akozesa ssimu okufera

http://www.bukeddekussande.co.ug/detail.php?mainNewsCategoryId=3&newsCategoryId=167&newsId=712124
Bya Musasi wa Bukedde

NABBI William Muwanguzi bw’alabye abagoberezi bongera okumuddukako oluvannyuma lw’okukitegeera nti abakolamu bukozi ssente tali ku bya ddiini, kwe kufumba omutwe n’aleeta akakodyo k’okukozesa essimu abafune.

Muwanguzi kaakati akolagana n’amakampuni agaweereza obubaka obuwandiike ku ssimu obumanyiddwa nga ‘SMS’ n’aweereza abantu obubaka ng’abatiisa ng’Omukama bw’amulaze ebifa ku bulamu bwabwe omuli n’okuba nti boolekedde agazibu bw’atyo n’abayita bagende gy’ali.

Omuwala Sarah Nansansi omu ku baagudde mu katego ka Muwanguzi yategeezezza nti, “Ndi muyizi mu S.5 mu ssomero erimu mu Kampala. Essimu yange ya UTL abamu gye bayita Mango [0712……] kwe nasanze obubaka obuva ewa Muwanguzi obwampise okugenda gy’ali e Mengo ku Holy Fire Ministries International. Bwabadde bugamba nti, “Mukama alina by’andaze ku bulamu bwo obwolekedde okubengeya kubanga wabuuka eddogo era obuzaayo ennaku ntono ofe. Ky’olina okukola jjangu ewange abukulongooseze. Nze W. Muwanguzi. Ebisingawo kuba essimu eno.”

Attottola nti mu kiseera ekyo yasobeddwa n’alinnya emmotoka eyamutuusizza e Mengo kyokka bwe yatuuseeyo abayambi ba Muwanguzi ne basooka okumuggyako 20,000/- okumulaba nti ate bwe yamutuuseeko naye n’amuggyamu 50,000/-.

Okunoonyereza okwakoleddwa omusasi wa Bukedde kwazudde nti Muwanguzi asinga kukozesa nnamba za UTL era abantu abaziriko abaweereza obubaka obw’engeri eno obufaanagana olwo abangu ne bamunoonya ate abamanyi nti yeenoonyeza ssente bo tebebufaako.

Omu ku bayambi ba Muwanguzi yategeezezza nti okuweereza obubaka baba bayamba kutegeeza abalina ebizibu basobole okusabirwa.

Wabula kyazuuse nti obubaka obuweerezebwa ku buli mulundi bubeera bufaanagana eri abantu ababufuna ekiwa ekifanaanyi nti bwa bulimba kubanga abantu kizibu okufaanaganya ebizibu.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Henry Kalulu yategeezezza nti poliisi etandise okunoonyereza ku bubaka buno obuwandiike okukakasa oba ddala Muwanguzi y’abuweereza.
Published on: Saturday, 6th March, 2010


Alangidde endiga ze obukodo

http://www.bukeddekussande.co.ug/detail.php?mainNewsCategoryId=3&newsCategoryId=186&newsId=712093

KATEMBA taggwaayo wabula ne paasita William Muwanguzi amuzannya bubwe. Muwanguzi ali ku musango gw’omuwala amulumiriza okumukaka akaboozi kati azze na nkuba mpya.

Abagoberezi be atandise kubaferera ku masimu. Benjamin Ssebaggala agamba Muwanguzi abagoberezi abaweereza bubaka ku ssimu n’abategeeza nga bw’abeera alabye ebisiba obulamu n’emikisa gyabwe n’abayita okusaba naye abasumulule.

Ssande ewedde yaweerezza obubaka ku simu nga busoma nti: Nze Nabbi William Muwanguzi, Mukama andaze eri obulamu bwo ebibadde bisiba emikisa gyo gyangu enkya ku sande saawa 3:00 e Mengo tusabe ffenna.

Takoma ku kuweereza bubaka wabula abaweereza n’ennamba kwe babeera bakuba singa babeera baagala okumanya ebisingawo. Olwakubye ku ssimu gye yataddeko yayogedde ng’alina kye yeekengera n’ategeeza kimu nti jjangu ku Ssande essaawa ssatu nga talina ky’amaanyi ky’annyonnyodde kusinga ku kiri mu bubaka obuwandiike.

Wano MOSES JJAGWE we yasinzidde n’agenda e Mengo ku Ssande nga February 28, 2010 ku kkanisa ya Holy Fire Ministries era byonna ebyabaddeyo abikutusaako bwati:

Ku ssaawa 3:00 nabadde mutaka ku kkanisa era abagoberezi obwedda batuuka batonotono olw’enkuba.

Abaabadde baagala essaala ez’enjawulo nga batuukira mu kasenge wabula eno olina kuyingirayo n’ebbaasa ekuweereddwa mw’oteeka ssente ezikusaliddwa okutandikira ku mitwalo ebiri. Nayagadde okugenda mu kasenge wabula bwe gwatuuse ku gw’okufuna ebbaasa ate ng’oteekamu ssente ne mbyetegula ne nninda kusaba kwa bonna.

Abantu baagenze beeyongera nga buli atuuka afuna katebe ke ng’atuula. Abamu batuuse n’okusumaagiriramu nga tewali kigenda mu maaso.

Bwe zaaweze ssaawa 7:00 ez’emisana okutendereza ne kuba ng’okutandika. Abayimbi baalinnye ku kituuti wabula nga ku bonna omunaana tewaabadde luyimba lulambulukufu lutandika. Ekyanneewuunyisizza ku bayimbi, buli omu yabadde na nnyambala yiye n’asuddemu enkunamyo era ono olwakutte akazindaalo n’awoza nti, ‘Totunuulira nze bye nnyambadde naye weeweeyo bwewi eri Mukama...’.

Ebya kkwaaya bwe byagaanyi, kalabaalaba w’olunaku kwe kuyita omuntu yenna eyabadde n’oluyimba okulinnya ku kituuti era bano be baacamudde abantu n’okubamalamu empewo.

Bano baatwazizza ddala okutuusa ku ssaawa 8:10.

Ku ssaawa zino kalabaalaba yatulagidde okuzibiriza twewombeeke eri Mukama nga bwe tulindirira nabbi wa Mukama ajja.

Ow’ennanga olwasuddemu akayimba, eddoboozi lya nabbi Muwanguzi ne liwulikika ng’agamba nti, “Mweweeyo eri Katonda agenda kukola. Olwaleero Mukama abantu bonna abazze wano nga basibe basumululwe. Lwaki ggwe, okuba nga ggwe oyita mu mbeera eno? Wano waliwo omukyala Mukama gw’andaga, olina ky’obadde oyitamu ennaku zino zonna naye olwaleero bigenda mu linnya lya Yesu n’amabanja gonna agatwala ’. Nze we nabadde najeemedde ebiragiro bya kalabaalaba era obwedda ntemya bukofu. Eddoboozi lino lyabadde lifubutuka mu ntimbe eziri ku kituuti.

Emiranga obwedda gigenda mu maaso ng’eddoboozi likkaatiriza kya kuzibiriza n’okweweerayo ddala nga basaba.

Wano we yaviiridde mu ntimbe n’alinnya ku kituuti ng’ayambadde essaati enzirugavu ne baasikooti efaanana n’empale bya kivuuvu n’atuula mu katebe ke.

Yagenze mu maaso nti, ‘Buli omu nga weewaddeyo eri Katonda yogera ebigambo bino ng’obikkiriza nti Mukama agenda kubikukolera mugambe nti Mukama olwaleero nva mu bwavu, ne mu mabanja byonna Mukama agenda kubikola olwaleero.

Kakano baako ekiweebwayo ky’okwata eky’okukkiriza mu ngalo zo otandike okusaba mu kaseera kano kubanga Mukama akumanyi. N’ekiweebwayo kyo ng’okikutte mu ngalo, kati saba. (Wano abagoberezi baabadde batunula)

Tambula mangu oleete ekiweebwayo kyo wano ku kituuti, dduka mbiro okiteeke awo ku kituuti oddeyo mu kifo kyo tusabe.

Zibiriza amaaso go kaakano saagala kulaba muntu yenna atunula’. Nze nga mmoga, omukebezi yalinnye ku kituuti kuba ye yabadde tazibirizza n’akung’aanya zonna ezaabadde ziteereddwaawo.

Muwanguzi yalagidde buli omu atandike okusabira mikwano gye n’abalabe be bonna.

Oluvannyuma yayise abalina Mukama by’abakoledde mu wiiki bataano bawe obujulizi.

Eyasoose yagambye nti, ‘Mukama yeebazibwe abooluganda nneebaza Mukama ku Ssande ewedde nabbi yatugamba okusiiba ennaku ssatu, baali bangoba ku mulimu naye nabadde ndi awo nga bankubira nzire ku mulimu, nze mbeera Mubende naye buli lwa Ssande nnina okunoonya ssente ezindeeta wano’.

Omulala yazze n’atandika, ‘Ssebo nnabbi njagala okwebaza Mukama, bwe twali tukyali e Namulanda najja n’onsabira sicklecell ezaali zintawaanya ne ziwona. Ennaku zino bbiri ekirwadde kyangwiridde kati kwe kujja nga njagala kunsabira..’ Wano Muwanguzi kwe kumuboggolera nti, ‘Abantu nga mmwe mwantamaatama dda, mujja wano nga mulina ebizibu wabula bwe muwona temukomawo kwebaza ate mumala kufuna birala ne mulyoka mudda, vva ku kazindaalo.

Wamma Mukama yeebazibwe, ng’enda kubasabira essaala ya myaka 30 mu maaso gy’olina okuwangaala, kwata ekiweebwayo kyo eky’okukkiriza odduke mbiro ojje wano mu maaso okireete , bw’otuuka wano zibiriza saagala muntu atunula wano oyinza okutwala ebikolimo by’abalala be tugobako ebikwa.
Published on: Saturday, 6th March, 2010

Muwanguzi yeeyanjudde ku poliisi

http://www.bukedde.co.ug/index.php?option=com_content&view=article&id=20966:muwanguzi-yeeyanjudde-ku-poliisi&catid=29:amawulire&Itemid=572

Bya Angel Lubowa
Thursday, 25 March 2010 13:17
NABBI William Muwanguzi yeeyanjudde ku poliisi ne yeewozaako ku bigambibwa nti akozesa akakodyo k’okusindikira abantu abali ku ssimu za UTL mesegi’ ng’abalagula ebitiisa ku bulamu baabwe.

Kino kiddiridde abamu ku baafuna obubaka buno okwemulugunyiza poliisi nti obubaka buno obwobuwaze Muwanguzi abuweereza ku ssimu zaabwe ng’abayita nti kyokka bwe batuukayo n’abaggyako ssente.

Ku Lwokusatu Muwanguzi yagenze ku kitebe kya bambega e Kibuli ne yeenyonnyolako ku by’obubaka. Omu ku baserikale abaabadde babuuza Muwanguzi yategeezezza nti Muwanguzi yabategeezezza nti kino akikola mu mutima mulungi.

N’agattako nti, ‘yatugambye nti yafuna obubaka okuva ewa mwoyo mutukuvu nga bumusindika okwongera amaanyi mu busumba nti yamala ennaku ssatu ng’omumwa gwesibye bwe yaddamu okwogera kwekusalawo okukozesa enkola ya mesegi’. Yagambye nti bamulagidde okuddayo oluvannyuma lw’emyezi ebbiri.