Tuesday 2 March 2010

Media ridicules Pentecostal Pastors for blindly following Benny Hinn

Abasumba abaseegu lwaki ensi ebakubira mu ngalo!


http://www.bukeddekussande.co.ug/detail.php?mainNewsCategoryId=3&newsCategoryId=236&newsId=711374

WALIWO obweraliikirivu nti wayinza okubaawo omuyaga gw’okunoba kw’abakazi bak’abasumba b’ekanisa z’Abalokole.

Omuyaga guno gujja kuva ku Suzana muk’Omusumba Benny Hinn eyanobye ng’agamba nti takyayinza kugumira muze gwa bba ogw’okulya ebisiyaga.

Kigambibwa nti waliwo ne bakaabasumba abalala bangi abafumbira ku bugubi olw’ebikolwa bya babbaabwe eby’obwenzi, wabula nga batya okuvaayo okwanika ebikolwa ebyo mu lwatu n’okunoba.

Kati bwe kiba nga Suzana muk’Omusumba asinga obwatiikirivu mu nsi yonna yeevuddemu n’anoba era n’ayanika omuze gwa bba ogw’okulya ebisiyaga naddala eby’obulenzi obuto, waliwo obweraliikirivu nti n’abalala bayinza okukala amaaso ne bakola ekyo Suzana kye yakoze Omusumba Benny Hinn.

Bwe kiba nti Benny Hinn ayatiikiridde mu nsi yonna olw’okubuulira enjiri ey’obulokozi kyokka nga mukozi wa bivve, ekyo kikulaga nti ensi yagwa dda eddalu nga tetumanyi.

Kikwewuunyisa aboonoonyi engeri gye beewoomya kungulu ne beefuula abatuukirivu. Anti Benny Hinn lwe yasooka okukyalako mu Uganda mu 2007 bwe yali akola eby’amagero mu kisaawe e Namboole, Abasumba abakulu okuli: Joseph Sserwadda, Robert Kayanja ne Irene Namutebi baamwesimba mu maaso abagobeko emizimu era mu kukola kino baagwanga eri ne basambagala! Naye osanga singa abasumba baffe bonna baakimanyaako nti oyo abeetukulizaako mwenzi wa ccepe osanga ate be baalimulindiggudde eri ne bamugobako emizimu egimukozesa ebivve naddala okulya ebisiyaga.

Ate Benny Hinn bw’akomyewo wano omwaka oguyise, laba abasumba bwe bamulandukiddeko ne bagenda bamuloopera musumba munnaabwe omuli w’ebisiyaga. Bambi tebaategeera nti gwe baloopa ne gwe baloopera bombi omu katta ate omulala kasalira. Kale okulya balya naye basonyiwazza nnyo ekkanisa olw’okubuulira enjiri ey’obulokozi kyokka mu kyama ne baba nga bo boonoonefu nnyo abatuuka n’okwesittaza bakazi baabwe ne banoba amaka gaabwe ne gasasika.

Kino kakibeere kyakuyiga eri abasumba abakombooza Abazungu okubaleeta kuno okubuulira enjiri n’okukola ebyamagero mu Kkanisa zaabwe. Weewaawo Abazungu abo balina ddoola wabula nga zonna zisaabaanye ebikolobero era ebyo Abazungu abo bye baba bazze okusaasaanya.

Okukombooza ba Benny Hinn ne bajja wano okwongera okusiga ebivve kijja kwongera bwongezi okusuula ensi eddalu ekkankada, obulamu bwongere okukaluba... Sikulimba.


Published on: Saturday, 27th February, 2010