Tuesday, 16 March 2010

Hiss of the Serpent: Prophet Patrick Kimera says bible supports polygamy

Translation


I HAVE MANY WIVES- PROPHET KIMERA

http://www.bukeddekussande.co.ug/detail.php?mainNewsCategoryId=3&newsCategoryId=186&newsId=712800

Pastor Patrick Kimera of End times message gospel church, Wakaliga-Nateete, Kivumbi Zone says that there is no scripture in the bible that supports monogamy. His reiterates as follows.

I’m not a pastor, I’m a prophet of God who received a revelation 30 years ago. I got my revelation three years ago when I went to Pastor Simeon Kayiwa’s church and was told by Pastor John Kibuuka that I had been chosen to preach the word of God.

From that time I started getting many revelations and in one of the revelations God told me to go and preach the gospel on the street which I did.

During the time I have spent in salvation I have discovered that many pastors in all religions are preaching a lot of heresies and one these heresies is marrying one wife.

I have carefully searched the scriptures and discovered that the bible does not forbid us from marrying many wives . It allows us to marry many wives and personally I have many wives.

In 1Kings 11: 1 – 3 Solomon married many wives. He was not rebuked for this. He was only rebuked for marrying foreign women.

1Corithians 7:1-5 says that if a man marries many wives there will be no sexually transmitted diseases because the man will be sleeping only with his wives.

The bible says that when a woman is in her periods you should not sleep with her for 7 days. If you have many wives the woman’s periods will not inconvenience you.

Acts of the Apostles 15:19- 20 says that do not lie with your wife when she is in her periods. God is forbidding us to sleep with women in their periods because this can bring diseases.

When a woman gives birth to a girl child, the man should not sleep with his wife for 40 days and when she gives birth to a baby boy, the bible tells us not to sleep with her for 80 days. I pity you who has one wife.

The church is full of fornicators and adulterers because of this false monogamous teaching. Many youth have the capacity to marry many wives but they are prevented. This forces them to have children outside marriage which annoys God.

The law of God on marriage is, ‘’ the male shall have many females’’. This is clearly manifested in even animals, and birds (DID THIS MAN STUDY KINDERGARTEN SCIENCE???)

According Genesis 25:26 our grand father Abraham married many wives.

Exodus 21:10-11 says that when a man re-married he should not stop providing for his first wife…

In 2 Samuel. 12:7- 12 God says categorically that God gave Saul’s wives to David

The bible does not teach any where that a man can not divorce his wife.

The bible says every male has a herd of females that why a male bee moves with a swarm of females)

God brought the New Testament because he wanted to correct what had gone wrong in the old testament . In the new testament he changed the law which says, ‘’One male for many females ’’ ( DO YOU SEE THE CONTRADITION HERE???)

This monogamy teaching was started by the catholic church after forbidding its priests to marry.

It surprising that some brethren teach that you should not divorce your wife but Matthew 5:31- 32 allows a man to divorce his wife if he catches her in adultery and if he finds out that the woman deceived him that she was a virgin.

1Corithinas 7:10-16 allows divorce but after divorce , the woman should never re-marry . If she wants to re-marry, she must go back to her husband(the one who divorced her).

I have many wives and will continue to marry because the bible tells me so.



Nze nnina bangi- Nabbi Kimera

http://www.bukeddekussande.co.ug/detail.php?mainNewsCategoryId=3&newsCategoryId=186&newsId=712800

Bya Meddie Musisi

OMUSUMBA Patrick Kimera akulira ekkanisa ya End Time Message Gospel Church e Wakaliga-Nateete mu Kivumbi Zooni agamba tewali Bayibuli w’eyogerera ku kya kuwasa mukazi omu era ye alina bangi.Byonna abirambika bw’ati:

Nze siri musumba wabula nabbi wa Mukama eyabikkulirwa emyaka 30 emabega.

Obubaka bwange obwasookera ddala nabufuna bwe nagenda ew’omusumba Simeon Kayiwa gye nasanga omusumba John Kibuuka n’andaga nga bwe nali nnondeddwa okubuulira ekigambo kya Mukama.

Okuva olwo natandika okwolesebwa ebintu eby’enjawulo era nga n’ekimu ku byo Mukama yandagira ng’ende ku nguudo z’omu Kampala ntandike okubuulira ekigambo.

Mu bbanga lye mmaze mu bulokole, nkizudde nti waliwo ebintu bingi abasumba mu ddiini zonna bye bataputa ekifuulannenge nga mu byo mwe muli n’ekigambo ekikwata ku kuwasa n’okwawukana.

Nsomye Bayibuli ne ngyekkaanya bulungi ne nkizuula nga tewali w’etugambira kuwasa mukazi omu ng’abasumba abalala bwe basomesa wabula etulagira okuwasa abakazi bangi era nze nnina bangi.

1Ssekabaka 11: 1 – 3 Nabbi Sulaiman yawasa abakazi 1000 era talina mu Bayibuli wonna we yali ayogeddwa ng’omwenzi wabula Katonda yamunenya kimu kyokka kya kuzimbira bakatonda ba bakazi be buyumba bwa lubaale.

Mu 1Bakolinso 7:1-5, kirambikiddwa bulungi nti singa omusajja awasa bakazi be abawera, n’endwadde ez’obukaba tezandibaddewo kubanga wandibadde tewali bwenzi ng’omusajja omu atabaalira mu bakazi be yawasa.

Waliwo obudde bw’omukazi okubeera mu nsonga, kino Bayibuli etangira omusajja okumwesembereza okumala ennaku munaana noolwekyo bw’oba n’abakazi abangi oba tokaluubirizibwa.

Ebikolwaby’Abatume. 15:19- 20 ‘Tosembereranga mukaziwo ng’ali mu musaayi. Mu kino Katonda yali atwewaza kugenda mu kikolwa kya kwegatta ng’omukazi ali mu nsonga kubanga kirimu obulwadde.

Waliwo embeera y’omukazi ng’azadde omwana omuwala, Bayibuli etugamba okumwewala okumala ennaku 40 ate bw’aba omulenzi ennaku ezisoba mu 80. kati olwo ggwe munnaffe ow’omukazi omu mba nkusaasidde.

Ekkanisa nnyingi mu kiseera kino zijjuddemu bwenzi lwa njigiriza eno enfu kubanga abavubuka bangi abalina obusobozi okwewasiza abakazi abalala babatangira n’ekivaamu kwenda na kuzaala baana mpolampola ne beerabira nti kino kye kisinga okunyiiza Katonda.

Etteeka lya Katonda ku kigambo ky’okuwasa liri nti “Ekisajja kimu ku bikazi bingi” mu kino n’ensolo, ebinyonyi byonna bizingirwamu. Lubereberye 25:6. Jjajjaffe Ibrahim yawasa abakazi bangi.

Kuva. 21:10- 11, omusajja yenna bw’awasanga omukazi omulala, talemanga okuwa eyasooka emmere, engoye, n’emirimu gy’omu kitanda aba alina okugituukiriza, bw’atakola atyo omukazi addangayo ewaabwe n’atasabaayo bintu.

Samuel. 12:7- 12. Katonda agamba Daudi nti “Nakuwa abakazi ba mukamaawo, Saulo, bonna n’Abayudaaya n’aba Yisirayiri, singa abo babadde tebakumaze, nandikwongedde n’abalala. Mwekyo Katonda yatulaga okwewala obwenzi tuleme okukwata ku bakaabasajja wabula tuwase abo abatalina basajja.

Bayibuli erambika bulungi nnyo ensonga z’obufumbo kubanga n’ekyokugamba nti bwe mufumbiriganwa temulyawukana okutuusa okufa tekirina we kiri wabula obuzibu bwonna buli ku babuulizi ba njiri kutaputa bubi bintu.

Ensonga lwaki Katonda yaleeta endagaano eyookubiri, ng’ayagala okulongoosa ebyo byonna bye yali alabye nga tebitambula bulungi mu ndagaano eyasooka era mu mbeera eno n’ensonga z’obufumbo zaatereezebwa mu ndagaano eyookubiri muno mwe yakyusiriza ekyasooka nti “Ekisajja kimu ku kikazi kimu”.

Bayibuli egamba nti buli kisajja kirina eggana ly’ekikazi era ndowooza olaba enjuki ensajja bw’etambula n’eggana lyayo.

Kye mmanyi kiri nti enjigiriza y’okuwasa omukazi omu yatandikibwawo Klezia ng’emaze okuyisa etteeka ly’Abasumba baabwe obutawasa.

Kyewuunyisa okulaba nga bannaffe abo basomesa nti omukazi tolina kumugoba so nga Matayo 5:31- 32 agamba omusajja anaagobanga mukaziwe olw’obwenzi n’ekirala bw’aba yamulimba nti mbeerera.

1Balokolinso 7:10-16. omukazi n’omusajja basobola okwawukana kyokka omukazi taddangamu okufumbirwa omusajja omulala bw’aba ayagala okufumbirwa addeyo atabagane ne bba.

Nze Kimera nnina abakazi bangi era nkyeyongera okuwasa kubanga Bayibuli bw’endagira.

Published on: Saturday, 13th March, 2010

Mukama andaze Pulezidenti addako - Nabbi Kimera

http://www.bukeddekussande.co.ug/detail.php?mainNewsCategoryId=3&newsCategoryId=186&newsId=714360

BANGI beebuuza engeri omuntu gy’afuukamu nabbi n’enjawulo eriwo wakati w’obunabbi n’obulaguzi. Wano Meddie Musisi we yasinzidde n’atuukirira nabbi Kimera n’abinnyonnyola bwati:

Nabbi azaalibwa nga nabbi. Soma Yeremiya 1:5: “Bwe nali nga sinnakubumba mu lubuto lwa maama wo, nakumanya, era nga tonnava mu lubuto; “Nkutaddewo okuba nnabbi eri amawanga”.

Okuva mu mirembe egy’edda, abantu baafunanga obunnabbi naye nga busing’ana amaanyi. Abantu nga jjajja w’abakkiriza Ibrahim, Musa, Eriya,Yokaana, Muhamadi n’abalala bangi naye nga bonna bye baakola byali bya njawulo okukakasa obunnabbi bwabwe.

Mu kiseera kino waliwo banabbi? Yeee…. Weebali naye enjawulo eri nti waliwo ab’obulimba n’abatuufu kyokka nga tusobola okubaawulira ku bibala ebiba bibavaamu.

Olwo njawulo ki eri wakati w’omulaguzi ne nabbi?

Abantu bano bombi bayitibwa “Balaguzi” mu lulimi Oluganda, naye enjawulo eri nti waliwo abalagulira Katonda (ffe bannabbi) ate n’abalagulira sitaani kyokka nga nabo baba n’ekirabo okuva eri Katonda era kino sitaani kye yeeyambisa okubakozesa mu bukyamu.

Nabbi omutuufu aba alina kulagulira mu linnya lya Katonda era n’agondera buli kigambo kye kubanga kiba kitukuvu.

Obuzibu obuliwo mu kiseera kino abantu abamu bagufudde mugano okumala geetuuma amannya nga gano nga tebamanyi buzito bwago. Bano be bantu era abaddira banabbi ba Katonda ne babayita aboobulimba ate bo ne beeyita abatuufu.

Bayibuli etugamba nti; ‘Bwe wanaasitukangayo mu mmwe nabbi n’alagula ekintu ne kitatuukirira anaafanga ate bw’anaayogera ekigambo ne mugaana okukiwulira mmwe mulina okufa’.

Singa bannabbi tebabaawo, ekkanisa, eggwanga n’ensi yonna bisobola okuwaba kubanga be boogera ekigambo kya Katonda.

Obunabbi bwange
Mu 1996 bwe nali e Zimbabwe, nabalagula ku bizibu by’ebyenfuna ebyali byolekedde eggwanga lyabwe era kyatuukirira.

Mu 1987, Mukama yandaga okufa kwa nabbi Obir Yeboa era bwe namala okukwasanguliza mu lukung’aana ku White Nile e Katwe,waayita ennaku ssatu n’afa.

Nalagula omusumba Balabyekkubo nti yali agenda kufiira mu kabenje mu bbanga ttono nnyo ne kituukirira.

Mu kiseera kino Mukama yandaze omuntu aliddako okufuga eggwanga lino ng’aliva mu kitundu kya mu mambuka kyokka nga tagenda kuyita mu kalulu noolwekyo tulina okwesabira ennyo.

Mu kiseera ky’ekimu Mukama yandaze okulwanagana okuyinza okubalukawo wakati w’abantu abava mu bugwanjuba ate entalo zaabwe zino ne baziyingizaamu ne Pulezidenti Museveni.

Published on: Saturday, 27th March, 2010