Monday, 19 May 2014

Pastor Umar Mulinde who was attacked with acid by Muslim extremists on Christmas Eve 2011 Returns Home after Treatment in Israel

 

Must Read:

Is pastor Umar Mulinde Challenging us to re-think the prosperity Gospel? Is God using Pastor Mulinde’s incident to challenge our Bogus prosperity Gospel?


Hiding the serpent: Months have passed by Since Pastor Umar Mulinde’s acid attack: As usual the Ugandan police is just silent about investigations into this attack




When violence begets violence and consumes its propellers: Ugandan Muslim factions turn guns to themselves after covertly condoning an acid attack on a Pentecostal pastor by a Muslim assailant




Pastor Umar Mulinde blinded by acid attack


Church leaders condemn acid attack on Pastor Mulinde


Was He attached by a Muslim assailant? Suspect in Pastor Mulinde acid attack arrested


Omusumba Mulinde eyayiirwa asidi akomyewo
 

 May 17, 2014

Omusumba Mulinde nga yaakatuuuka ku kisaawe e Ntebe. EKIF: Moses Lemisa
     
     
     
     
     
     
     
     
     
     
     
     


BYA MOSES LEMISA
OMUSUMBA Umar Mulinde ayayiirwa asidi olubadde okutuuka ku kisaawe e Ntebe n'awera okutandikira we yakoma okubuulira enjiri ya Kristo.


Mulinde ow’ekkanisa ya Gospel Life International e Namasuba abantu abaannategerekeka baamuyiira asidi nga December 24/12/2011 n'addusibwa mu ddwaaliro ly’e Mengo ne Kampala International. Wabula abasawo baalaba embeera ye tekyukako, n'atwalibwa e Buyindi n’oluvannyuma mu Yisirayiri mu gy’awonedde.
Oluvudde ku kisaawe e Ntebbe Mulinde ayaniriziddwa abasumba ab’enjawulo okubadde; Haruna Nsereko, ng’ono y'abadde addukanya ekkanisa mu kiseera w'atabeereddewo, omusumba John Bunjo n'abalala.


Omusumba Mulinde nga yaakatuuka ku kisaawe e Ntebe
Nga bw'afaananas kati oluvannyuma lw'okujjambwa okumala emyaka esatu
Mulinde nga bw'afaana kati. Ku ddyo ye yali endabika ye nga tannayiirwa asidi
Mulinde atuukidde ku Kkanisa ye e Namasuba n'ayogerako eri abagoberezi be saako n’abatuuze b’omu kitundu b'ategeezeeza nti agenda kutandikira we yakoma okutambuza omulimu gwa Katondo ogw’obulira enjiri mu ggwanga Uganda.
Engeri gye yayiirwamu asidi
Asidi baamumuyiira mu maaso bwe yali ava mu lukung'aana ly'enjiri e Masajja mu kiro ekikeesa Ssekukkulu ya 2012.
Wano ng'ayanirizibwa mu Kkanisa ye wakati mu bukuumi obw'amaanyi.
Mulinde ng'akutte Baibuli awera okubuulira enjiri
Paasita John Bunjo, omu baanirizza Mulinde ng'abuulira mu Kkanisa mu kusaba okwategekeddwa.
Mulinde agamba nti ekyasinga okumwewunyisa kwe kuba nti Poliisi ku kkanisa yatuukawo nkeera n'ekwatayo abaali bateereberebwa kyokka oluivannyuma ne bayimbulwa.
Agamba nti abaamuyiira asidi baali bamwagaliza kufa oba okudda ku nguudo asabirize n'agamba nti baswadde kuba mu kiseera kino wamaanyi mu Katonda n’okusingako luli nga tannamuyiirwa asidi.
Mulinde abadde ajjanjabirwa mu ddwaaliro lya Sheba erisangibwa mu kibuga Tel Aviv, e Yisirayiri nga lino lye lisingamu abakugu mu nsi yonna mu kujjanjaba abantu abayiiriddwa asidi. Eno gy'abadde ne famire ye okumala emyaka esatu ng'ajjanjabibwa.
Mulinde ng'awuubira ku bagoberezi be
Paasita Bunjo ne banne nga basabira Mulinde.
Abalokole abasabaira mu Kkanisa ya Mulinde nga babugaanye essanyu olw'Omusumba waabwe okudda 
Abantu nga baaniriza Mulinde
.............................................................................................
Ebirala ku Mulinde......

.............................................................................................