Thursday, 28 April 2011

Uganda CLERGY REJECT cohabitation and Sharia courts in Marriage bill

CLERGY REJECT MARRIAGE BILL


http://pressrelease.co.ug/pressuganda/?p=4080

The clergies from various religious organizations have petitioned the Parliament to amend the marriageand divorce bill 2009 before it is passed.
The clergies were from Uganda Joint Christian Council, Evangelical fellowship of Uganda and Nationalfellowship of born again Pentecostal churches among others were appearing before the legal and parliamentary affairs committee.

Presenting their petition to the committee chairman, Stephen Tashobya, the executive director of Family life network, Pastor Stephen Langa said the parliament should ensure that all anti family provisions in the bill are deleted such as the legalization of cohabitation.

He argues that legalization of cohabitation will weaken the marriage institutions causing more problems in society.
The group further called for an amendment of the bill to cover all Ugandans including Muslims, and a constitutional amendment to stop the introduction of Qadhi courts.

Bannaddiini bawakanyizza ebbago ly’etteeka ly’amaka


http://www.bukedde.co.ug/index.php?option=com_content&view=article&id=38738:bannaddiini-bawakanyizza-ebbago-lyetteeka-lyamaka&catid=29:amawulire&Itemid=572

Bya Muwanga Kakooza Wednesday, 27 April 2011 19:17

OMUSUMBA w’Essaza ly’e Lugazi Mathias Ssekamaanya akulembedde ekibinja kya bannaddiini ne bagenda mu palamenti gye baasinzidde okuwa-kanya ebbago ly’etteeka ly’amaka n’okutandikibwawo kwa kkooti eziddukanyizibwa ku mateeka g’Ekisaaamu (Sharia).

Bannaddiini bano abeegattira mu kibiina ekigatta enzikiriza za Krisito ekya ‘Uganda Joint Christian Council’ era baasabye gavumenti okuggya Uganda mu kibiina ekigatta amawanga Amasiraamu ekya ‘Organization of Islamic Conference.’
Bino byonna baagambye nti biringa ebifuula Uganda eggwanga ‘’Essiraamu’’ ng’ate Konsitityusoni egamba nti Uganda terina ddiini ntongole.

Eyasomye ekiwandiiko ku lwa bannaddiini Steven Langa yagambye nti bawakanya eky’okutondawo kkooti za -----‘Sharia’ kuba kikontana ne Konsityusoni. Baagambye nti Abasiraamu okuwozesebwa mu ngeri ey’enjawulo ku Bannayuganda abalala kiba ng’ekibafudde nti bo ba njawulo ng’ate ‘’ffena twenkana mu maaso g’amateeka’’.
Ebbago ly’etteeka ly’amaka lireka wabweru ebikwata ku kuwasa n’okwawukana mu Busiraamu nga ligenderera okubaleka beekolere ku nsonga zaabwe. Kyokka kino bannaddiini bano baakiwakanyizza nga bagamba etteeka lirina okukwata ku bonna.
Era baagambye nti Uganda okusigala mu kibiina ekigatta amawanga Amasiraamu kiba kititiibya Obusiraamu n’okuba ng’ababufudde eddiini y’eggwanga. Ebbago ly’etteeka baliwakanya lwa kuba balumiriza nti litongoza obufumbo bwa ‘kawundo kakubye eddirisa’ olw’okuba ligamba abaagalana abali mu mbeera eyo okugabana ebintu byabwe nga baawukana.

Kyokka eyali akulira ekibiina ekigatta ababaka abakazi Winnie Matsiko yagambye nti yeewuunyizza bannaddiini okuleeta endowooza zino mu palamenti nga baaboogereza dda ne bakkaanya nti bagenda kuwagira ebbago lino.

Eby’okugaana kkooti za Sharia ab’akakiiko baagambye nti bibali waggulu ne basaba ababawakanya bakwate ekkubo eddala ery’okusaba Konsiti-tyusoni y’eggwanga ekyusibwe nga bayitira ewa sipiika oba mu gavumenti eya wakati.