Tuesday, 7 September 2010

Omusumba Sserwadda afuuse Ssaabasumba w’abakokole

Omusumba Sserwadda afuuse Ssaabasumba w’abakokole

http://www.newvision.co.ug/D/165/186/728754

Saturday, 14th August, 2010
E-mail article E-mail article Print article Print article

Bya Robert Mutebi
SSEMATEEKA eyakolebwa abasumba b’abalokole ku ngeri y’okulungamya emirimu gyabwe batandise okumussa mu nkola bwe balonze abakulembeze baabwe ng’abakulira aweereddwa ekitiibwa kya Ssabasumba.

Ku Lwokuna, abasumba b’ekiwayi kya Dr. Joseph Sserwadda baasisinkanye mu lusirika ku ssomero lya Seroma Christian High School e Mukono ne balonda.

Omusumba Sserwadda ye yalondeddwa ku Bwassaabasumba ate amuwayambi we ye Peter Oyet. Bishop Musisi Kiwanuka ye yalondeddwa okuba omusumba w’ekitundu ky’amassekati ga Uganda.

Omusumba Semeon Kayiwa yeeyaleese erinnya lya Sserwadda n’asembebwa omusumba Imelda Namutebi. Bishop Eriazali Ssejjange yasembye ayitemu nga tavuganyiziddwa. Abaalondeddwa mu bitundu bya Buganda kuliko omusumba Dennis Kayizzi owa Wakiso, Herbert Buyondo owa Kampala, Fred Kyakaye owa Mukono, Jackson Kiwanuka owa Mpigi, Daniel Male owa Luweero, Samwel Lusaago owa Kiboga ne Robert Kityo owa Kayunga.

Mu kulonda kuno, ebitundu eby’enjawulo byalondeddwaamu abasumba ababitwala nga mu bino mulimu amassekati ga Uganda, obuvanjuba, obugwanjuba, amambuka n’amaserengeta era ng’abasumba abaalondeddwa ku disitulikiti batwalibwa bakulu abo.

Mu ngeri y’emu, eno y’enkola enaagobererwanga okukulembera n’okuddukanya amakanisa g’abalokole agali wansi wa Ssabasumba Joseph Sserwadda nga gaakukola ku nkulaakulana n’okubunyisa enjiri.

Sserwadda yeeyamye okukola okulaba ng’alwanyisa emize mu basumba, okukola ku bafere n’okutangira ebyobufuzi mu kkanisa.