Nabbi, abagoberezi emikisa agibagabira beebase wansi
http://www.bukeddekussande.co.ug/detail.php?mainNewsCategoryId=3&newsCategoryId=186&newsId=730879
Bya Benjamin Ssebaggala
LUBAALE maliba buli omu agambala bubwe, Abalokole bongedde obukodyo mu kusaba. Omusumba alagira abagoberezi beebake ku ttaka abasabire wuuno ate bw’aba tannajja ku katuuti basooka kufukamira okukeetooloola ne basaba nga batunuulidde entebe ye.
Nabbi Mbuya owa Deliverling Power Centre e Kitega Mukono alagira abagoberezi okwebaka ku ttaka mu kkanisa awatali kwawula oba omusajja aliraanye omukazi olwo n’atandika okubasabira.
Takoma awo wabula abeera mukambwe nnyo, Ssande ewedde yakambuwalidde abaweereza omuwala bwe yavuddeyo ng’asabira abantu n’amukasuukirira Bayibuli wabula ye n’agyewoma n’ategeeza abaweereza nti singa omuwala addamu okumutuukako ajja kubagalamiza abakube.
Okulinnya ku katuuti yasoose kubeera munda ng’alina abantu b’alaba kinnoomu wabula buli eyafulumyenga ng’avaayo misinde n’agenda ku katuuti awaabadde entebe n’atandika okusaba. Baakoze bwe batyo okumala ekiseera ne bawera olwo ne beetooloola ekituuti ng’abalala bwe bayimba n’okusaba.
Obwedda abajja ku kituuti nga badduka tebaabadde mu ngatto era nga bagamba nti ekibaddusa kwe kusooka ebyo ebibadde bibasibye ku kituuti olwo Nabbi ajje abikwate nga tebiyinza kumuddira.
Mu kusaba eddoboozi eddene lyasazizzaamu okusaba akasiriikiriro ne kabuna wonna, “Teeka emikono gyo mu kifuba osabe bwe libeera ddogo oba lubaale agende, nyeenya omutwe” wabula eyabadde ayogera nga talabika.
Abasaba baatandise okuleekaana ng’abamu bagwa ne babaggyawo nga babeebasa n’okubatuuza mu maaso. Nga basiriikiridde, omusajja yazze n’alinnya ku kituuti.
Olwalinnye n’alagira be baleese mu maaso bonna okwebaka wansi n’atandika okuyita kinnoomu ng’abasabira. Yabadde akyabasabira omuwala n’awamatuka mu bagoberezi n’alumba nabbi ku kituuti n’amukasukira Bayibuli Nabbi n’agyewoma.
Nga tannaba kulinnya ku kituuti eyabadde asabisa yasoose kulagira abagoberezi ne baleeta ekiweebwayo nga bakiteeka mu kisero , bwe kyawedde n’abalagira okuleeta ekimu eky’ekkumi.
Yalagidde abaweereza be bakwate omuwala kyokka n’addamu n’abeesimattulako n’amulumba. Wano yavudde mu mbeera n’ayomba, “Bw’addamu okubayitako n’atuuka wano ng’enda kubasambasamba oba okubagalamiza mbakube kibooko, muli awo musinika businisi mannyo” bw’atyo bwe yayombye.
Yeeyongedde okusaba n’ayita omuvubuka n’amutegeeza nti balina enjawukana mu maka gaabwe okuva lwe yasikira kitaabwe, mukulu we n’amuloga era amaze emyaka 15 ng’abaana bafa.
Yamuwadde eccupa y’amazzi n’alagira bagende emmanju anaazibwe nga bw’agololwa adde amubuulire wabula saamulabye bw’akomawo.
Bwe yamalirizza okusabira ono n’alagira abagoberezi nti tugenda kuyita Yesu emirundi musanvu.
Bwe baatandise okuyita baayise gumu n’abagamba nti “Sinnaba kuwulira ali siriyaasi mwongereemu amaanyi kubanga ekigenda okukka si kya bulijjo. Yajuuse n’alagira abaweereza nti “ Buli mulwadde mmwagala ku ttaka bw’abalema ng’enda kumusambasamba” baatandise okumeggana nabo abamu ne babalema okukkakkanya.
Oluvannyuma yabalagidde nti ‘Buli muntu ddayo otuule abatasobola mubayambeko muve mu kusinika ebinnyo, waliwo eyazze n’agazibu ge kyokka kati ali wano asinika. Olwamaze bino n’adda gye yavude nga zoolekera okuwera omunaana abasaba ne bagenda mu maaso.
Published on: Saturday, 4th September, 2010