John Mugisha 36 of International Revival Ministries e Nsambya –Kevina was caught red handed rapping a pregnant woman at 11 o’clock in the night. The woman shouted until her husband and other locals came to her rescue. The pastor who was found without a shirt claimed that he was praying for the woman. The pastor was arrested by police.
Omukazi ow’olubuto akwasizza Omusumba
http://www.bukeddekussande.co.ug/detail.php?mainNewsCategoryId=3&newsCategoryId=167&newsId=717391
Bya Robert Mutebi
WAABADDEWO akasattiro ssemaka bwe yakubye enduulu ng’alumiriza nti Omusumba w’Abalokole eyazze okusabira mukaziwe owoolubuto ate yabadde amwefuulidde ng’amuguddeko ekiyiifuyiifu amukaka omukwano.
Abantu abangi abazze okudduukirira baasambye oluggi ne bayingira mu nju mwe baasanze ng’omusumba tali mu ssaati nga n’omukazi kumpi ali bukunya. Kyokka omusumba yagambye nti okuggyamu essaati yakikoze lwa bbugumu eringi eryabadde mu nju. Yeegaanyi nti eby’okukaka omukazi omukwano bipangirire ebigenderera okumwonoona.
Omukazi eyabadde akaaba ng’awejjawejja bw’agamba nti nfudde nze, ebigambo bye byakwasizza abantu obusungu ne bakuba omusumba ne baleeta n’ekiteeso ekimwokya. Wano poliisi we yatuukidde n’emutwala mu kaduukulu gy’akuumirwa.
Omusumba John Mugisha 36,
ow’ekkanisa ya International Revival Ministries e Nsambya -Kevina y’agambibwa okukaka emu ku ndigaze Annet (amannya amalala galekeddwa) omukwano.
Omusumba baamututte awanjagira Annet: munnange yogera amazima. Ogenda kunsibisa.
Annet n’ayanukula: nedda kisajja ggwe, siyinza kukusonyiwa. Laba by’onkoze. Kati olubuto luba kuvaamu.
Annet naye mutuuze w’e Nsambya gy’apangisa omuzigo mw’abeera n’omwana we ow’emyaka esatu. Amannya ga bba nago tugalese.
Bino byabaddewo ku ssaawa 5:30 ez’ekiro ky’Olwokubiri . Omusumba Mugisha yasoose kubuulira njiri nju ku nju mu Nsambya oluvannyuma kwe kugenda ewa Annet eyabadde yamaze edda okumutuukirira ng’ayagala okumusabirako.
Annet agamba nti Omusumba yamukubidde essimu emisana n’amutegeeza bw’agenda okulambula e Nsambya era ajja kutuuka n’ewa Annet amusabire.
Agattako: omusumba bwe yatuuse ne mmuggulira n’ayingira ne nzigalawo oluggi. Nnasobeddwa wakati mu kunsabira n’okumbuulira ebigambo ebing’umya, ate Omusumba bwe yatandise okuntegeeza nga bw’anjagala ennyo ennyo era ayagala kumponya nnaku gye ndimu nga kye yeetaaga kwabadde kunyumya kaboozi nange.
“Ebigambo by’Omusumba byansobedde kwe kumugamba nti embeera gye ndimu olaba nsobola okunyumya akaboozi?”, bwe yagambye. Nabadde nkyamunnyonnyola n’angwira n’atandika okunkwata ku mabeere, ekyaddiridde kunnuuna, olwo n’ansinga amaanyi….”, bwe yagambye.
N’agamba nti Omusumba yabadde ali mu mukwano omukake ng’omukazi awanjaga kyokka ng’eddoboozi terivaayo kutuuka bweru. Bba we yatuukidde n’agamba nti Annet obadde ki?
Ekyaddiridde ye musajja okukuba enduulu, abantu ne bakung’aana ne basindika oluggi nga luggale. Kwe kulusamba ne lweggula.
Bba w’omukyala ono yategeezezza Bukedde nti yali mugoberezi wa Paasita ono ng’asabira mu kkanisa ye kyokka yavaayo emyezi essatu egiyise olw’okwemulugunya ku Musumba ono okwali kususse.
Kyokka Omusumba yagambye nti ewa Annet yagenzeeyo kumusabira. Yabadde amusabira amusemberedde nnyo, ate ng’olubuto yabadde alubikkudde, olwo bba bwe yabasanze n’alowooza nti yabadde amukaka omukwano kwe kukuba enduulu.
N’agamba nti omukazi okumulumiriza alabika yatidde kuswaza bba nti yabadde ayogera bulimba. Yagambye nti aludde ng’ayamba Annet ne bba, abamanyi nga famire eri mu bwetaavu bwa buli kintu nga tewali ngeri gye yandisikiriziddwa mukazi ng’oyo.
Ekizibu kwe kuba nga Pasita yasangiddwa mu kazigo ka Annet, nga beesibiddemu ku ssaawa 5 ez’ekiro. Lwaki enjiri agibuulira kiro mu maka g’abafumbo? Ekyo kyamulemye okuddamu. Pasita oluvannyuma yeekubye endobo, bwe yagambye nti Annet yali yamwegomba dda nga buli kiseera Annet akubira Pasita amasimu agendeyo amusabire. N’agattako nti bwe yayingidde mu nju, Annet n’asibawo ng’alinga amutega akamasu.
Omusumba talina mukyala ategeka kuwasa . Yava mu kkanisa ya Revival e Kamwokya n’atandika eyiye e Nsambya. Ali ku poliisi e Kabalagala, gye yagguddwako omusango ku fayiro nnamba Ref. 3/21/04/2010.
Published on: Saturday, 24th April, 2010