Monday, 26 April 2010

Pastor Fred Katumba Weds second Wife

FIRST READ:

Pastor Meddy Kitaakufe Marries another wife amidist tight police protection

http://watchmanafrica.blogspot.com/2010/03/pastor-meddy-kitaakufe-marries-another.html

Hiss of the Serpent: Prophet Patrick Kimera says bible supports polygamy

http://watchmanafrica.blogspot.com/2010/03/hiss-of-serpent-prophet-patrick-kimera.html



The article below is about a Ugandan prosperity pastor who wedded in 1994 and has now abandoned his first wife,Grace Nakasi 32 for one Robinah Ssanyu 26. Paasita Fred Katumba 32 was scheduled to marry his new catch at Pr. Lwandasa’s Mount Lebanon Church in Mukono. Before the couple arrived for the ceremony, Nakasi stood up and told the congregation that the man they were about to wed is her husband. The congregation that was about to pounce on the lady were shocked when the lady showed them their wedding photos. Pastor Lwandasa cancelled the wedding . However when Pastor Fred Katumba and Robinah Ssanyu were told that the wedding had been disorganized by the first wife, they went to another church where they were wedded.


Embaga ya Paasita esasise

http://www.bukedde.co.ug/index.php?option=com_content&view=article&id=22398:embaga-ya-paasita-esasise&catid=1:omuko-ogusooka&Itemid=591

Bya HENRY NSUBUGA
Sunday, 25 April 2010 14:53


EMBAGA ya Paasita esasise, omukazi gwe yasooka okuwasa bw’avuddeyo n’ayimirira ku katuuti n’ategeeza omusumba eyabadde agenda okubagatta nti, “Oyo omusajja wange, yampasa mpeta kyokka kati ayagala kunsuulawo.”

Paasita Fred Katumba 32, ayatiikiridde ennyo mu kibuga ky’e Mukono olw’ebigambibwa nti akola ebyamagero ng’asinziira mu kkanisa ye eya Gospel Life Worship Centre e Jjoggo mu ggombolola y’e Ggoma mu disitulikiti y’e Mukono gy’akulira, ye yabadde agenda okugattibwa ne Robinah Ssanyu 26, omugoberezi mu kkanisa ye.
Abagole baabadde bagenda kubagattira mu kkanisa ya Mt. Lebanon Church e Mukono ekulemberwa Paasita Samuel Lwandasa ng’ono y’akulira abasumba mu makanisa g’abalokole mu disitulikiti y’e Mukono.

Kizze kirangibwa mu kkanisa nga Paasita Katumba bw’agenda okuwasa Ssanyu era nga babuuza oba waliyo alina ensonga erobera ababiri abo okugattibwa bagireete, kyokka nga tewali avaayo.

Ku Lwomukaaga ku ssaawa 9:00 ez’olweggulo, ng’ebula eddakiika mbale abagole batuuke ku katuuti bagattibwe, omukazi Grace Nakasi 32, kwe kufubutuka mu bantu n’alumba Paasita Lwandasa ku kituuti n’amutegeeza nti Katumba talina kugattibwa na mukazi mulala kubanga bba era baafumbiriganwa mu 1994. Nakasi yaggyeeyo ebbaluwa ekakasa nti baagattibwa n’agiraga Lwandasa.

Abagoberezi abaabadde bazze mu kkanisa okujagulizaako Paasita waabwe ng’afuna omufumbi w’ettooke, baaswakidde ne balumba Nakasi nga baagala okumugajambula nga bamubuuza lwaki avaayo agootanye embaga y’omusumba waabwe mu bintu ebitaliimu nsa.

Wabula Nakasi yabakkakkanyizza bwe yabalaze ebifaananyi by’embaga yaabwe ne Katumba eyaliwo nga August 20, 1994 mu Kasawo Pentecostal Church nga biraga Pr. Apollo Kabaale ng’abagatta.

Wano Pr. Lwandasa eyalabise nga bimusobedde yayimirizza okusaba n’afulumya Nakasi n’amutwala mu ofiisi ye gye yayogeredde naye n’amunnyonnyola ebisingawo. Lwandasa yalagidde embaga esazibwemu okutuusa ng’ensonga zimaze okugonjoolwa. Abategesi baakubidde abagole amasimu ne babalabula obutatuuka ku kkanisa kubanga ebyabaddewo byabadde bibaswaza.

Nakasi yategeezezza nti alina abaana basatu be yazaala mu Katumba kyokka okuva mu 2005 Paasita abadde tabalabirira.

Nakasi yagambye nti enfunda eziwera yakwatanga Katumba n’abawala abaweereza mu kkanisa kyokka nga buli abasumba lwe babatuuze ne bababuulirira akkiriza era n’amwetondera nti takyaddamu ate bw’amala ng’addamu akola kye kimu ku bawala abalala.

Nakasi yagambye nti mu kiseera kino abeera ne mwannyina Godfrey Bakikakase e Nalukolongo nga bbo abaana yabatwala mu kyalo e Luweero ewa maama we Hadijah Biryeri ng’eno gy’abatwalira ensimbi ezibalabirira n’ebisale by’essomero ng’omusajja yagaana okubalabirira n’okubaweerera.

Wadde ng’embaga eno yasaziddwaamu, ekyewuunyisa Katumba ne Ssanyu baagenze mu kifo we baabadde bategese okusembereza abagenyi baabwe ku ssaawa 12:00 ez’akawungeezi we baasanze abantu ab’olubatu ne babategeeza nga bwe bamaze okugattibwa mu kkanisa endala eya New Life Ministries mu Kampala era n’abawuubira satifikeeti okwabadde amannya ga Rev. Rogers Tasobya eyabagasse.