Saturday 28 April 2007

UGANDAN APOSTATE PASTORS EXPLAIN HOW THEY SLEIGH PEOPLE IN THE SPIRIT

Abasumba:Batapuse amakulu g’obubonero bwe bakozesa ne busuula abantu ebigwo

Bya Terah Kaaya


http://www.bukeddekussande.co.ug/detail.php?mainNewsCategoryId=3&newsCategoryId=174&newsId=562335

BULI musumba akozesa amaanyi ag’enjawulo okuwonya n’okusumulula abagoberezi be era amaanyi gano okutuuka mu bagoberezi, gayitira mu bubonero obw’enjawulo buli omu bw’akozesa. Mw. Frank Musumba ng’alina ekkanisa e Kajjansi atapuse obubonero buno n’agamba nti, bulina amakulu ameekusifu okusinziira ku buli omu gy’akolaganamu ne Katonda.

Robert Kayanja owa Miracle Centre Lubaga gye buvuddeko abadde ayambulamu ekkooti ye n’agikasuka mu bantu, olwo amaanyi ne gatandika okubakuba ebigwo, abalina endwadde ne ziwona n’ebizibu ne bisumululwa. Kino kirimu amukulu nti enkola za Katonda n’amaanyi ge gayitira mu buli kintu. “Ekkooti eno mwe muyita amaanyi ne gatuuka ku buli muntu mu kkanisa engeri Kayanja gy’atasobola kutuuka ku buli muntu aba azze mu kusinza.”

Immelda Namutebi owa Liberty Worship Centre Lugala ono ayita mu bantu luwunguko nga bw’abakoonako n’okuwanika omukono mu bbanga nga bw’alagira amaanyi gabatomere. “Kino kiri nti Yesu bwe yalabanga ng’ekibiina kinene ng’alagira buli muntu w’ali awonyezebwe, olwo amaanyi ne gabatomera ne bawona.”

Godfrey Lule ow’e Nakulabye akwata ku mutwe gw’omuntu n’amulagira ayimirire. Afuuwa omukka okuva mu kamwa, ekitegeeza nti nga Katonda bwe yafuuwa omukka mu muntu ne bwe kityo ekibadde kigaanyi, oba mikisa nga gyafa, giddemu obulamu omuntu afune ky’ayagala. Olumu asonga olugalo mu muntu oyo n’alagira emizimu oba ebyokoola bimuveeko, kubanga ne Yesu yasonga busonzi emizimu egyali mu musajja ne gidduka okudda mu mbizzi nga gudduka amaanyi ga Katonda.

Isaac Kiweweesi owa Kansanga Miracle Centre akuba mu ngalo ng’agenda okusindika amaanyi ge mu bantu. Okubwatuka kw’engalo kujjiramu amaanyi agakanga emizimu ne giraba omuliro ne gidduka. Kino akijja ku Yesu ng’alagira abagoberezi be bakaayukirenga emizimu gibadduke.

Fredrick Sserugo owa Centre of Grace Ministries ku Old Kampala afukamiza ow’okusabira n’amuteeka emikono ku mutwe oba ebibegabega olwo n’atandika essaala. Kino kiraga nti gw’asabira akkakkanye era awaddeyo embeera gy’alimu eri Katonda agikoleko kubanga ye emulemeredde. Musumba agamba nti, “ono akola bwati kubanga oyo yenna aba yeetowazza ne Katonda muyimusanga, era agenda okumuggyako emikono nga Katonda amusumuludde ebizibu byonna by’abeeramu.”

Samuel Kakande owa Synagouge Church e Mulago anyeenya emikono, n’okukankanya amagulu nga bwe yeetoloola omuntu gw’asabira. Olumu anyeenya engalo ssatu ekitegeeza obusatu obuli mu Katonda. Katonda kitaffe, omwana n’omwoyo omutukuvu. Buli lwe yeetooloola omuntu n’okugwa wansi, kitegeeza amaanyi g’alina gaba gatandise okusaasaanira omuntu oyo n’abamuliraanye era ge gasuula omuntu oyo.

Joseph Sserwadda owa Victory Chrstian Church e Ndeeba, agolola ekibatu kye n’akyolekeza abagoberezi mu kkanisa olwo abalina ebizibu ne beeyiwa ku ttaka. Amaanyi ga Katonda g’aba akoowoodde ne gakka ku bantu olwo ne gatuukiriza ky’agayitidde. Yesu bwe yali ku nnyanja yayimusa omukono eri omuyaga nga gutiisizza abayigirizwa be ennyanja n’eteeka awo ne Sserwadda aba akoowoola amaanyi ge gamu gawonya abantu.

Irene Manjeri asamba wansi n’okusonga olugalo mu muntu gw’asabira. Olumu akwata emikono gy’abantu b’asabira n’aginyweza olwo n’asaba. Omuntu agenda okumuta yeerindiggula ekigwo ekiraga nti embeera gy’abadde nayo egudde era afunye emirembe. Akola bwati olwo n’aba ng’emizimu gyonna egiri mu muntu gw’akutte agigoba w’amuteera giba gidduse ng’amaanyi gamuweddemu ky’ava agwa.

Steven Ssozi owa Glad Tidings ku Kaleerwe bw’aba mu kkanisa atunula waggulu ng’azibirizza, n’awanika omukono ogwa ddyo, n’akowoola amaanyi ga Katonda olwo abali mu kkanisa nga balina ebizibu ne bagwa ebigwo n’abamu emizimu ne gibakaabirako. Buli lw’atunula waggulu, kabonero nti byonna abirekedde Katonda abituukirize. Omukono ogwa ddyo oguba waggulu, kiraga nti byonna byakolebwa ku bwakatonda, n’olwekyo atuukirize okwagala kw’abantu be era amaanyi agakirimu ge gabasuula mu ttaka n’okukaabya emizimu nga bwe gidduka.

Augstin Iga owa Revival Christian Church e Kawaala, asoka kuseka n’agolola engalo bbiri ng’azoolekezza gw’asabira nga tamusemberedde. Okuseka aba asekerera mbeera omuntu gy’azze nayo kubanga ebyayo biba bikomye. “Okukwata ku muntu si kwe kuwona, wabula amaanyi gange gali mu kigambo”, bw’agamba.

William Muwanguzi owa Holy Fire ministries e Namulanda alagira ab’okusabira bakube mu ngalo nga bwe bakowoola erinnya lya Yesu ate bw’aba mu kasenge ke agolola amagulu n’awanika omukono waggulu w’omuntu gw’asabira ng’akowoola amaanyi gakke ku muntu oyo.

Francis Katongole awanika akatambaala nga bw’ayimba n’okuluma amannyo. Akola ekyo ayite amaanyi gakke ku muntu gw’asabira abe bulungi.

Frank Musumba agamba nti bangi ku bagoberezi b’abasumba bano, balowooza nti abasumba baabwe bwe batakola bubonero buno nga babadde bagenzeeyo okubasabira tebawona.

Published on: Saturday, 28th April, 2007