20 For every one that doeth evil hateth the light, neither cometh to the light, lest his deeds should be reproved. 21 But he that doeth truth cometh to the light, that his deeds may be made manifest, that they are wrought in God(John 3:20-21).
Comment
On Sunday 8th January
2017, Pastor Aloysius Bujingo of House
of Prayer ministries revealed the amount of money he received during the 31st
December, 2016 Cross over prayers . Pastor Bujingo revealed that he received a
total of 211,256,300 million Uganda shillings . Pastor Irene Manjeri of Bethel
Healing centre also revealed that she received 4 million Uganda shillings .
However , it surprising that Pastor Kiganda called Pastor Bujingo’s action
madness .
Pastor Kiganda argued that Pastor
Bijingo is like a ‘child sauce thief’
that reports him self before he is caught. Bishop Kiganda wondered why they
should give accountability when even heads of the catholic church and Muslims
that held prayers that day have not accounted. One wonders why a born again
pastor should compare himself with Muslims and Catholics whom they regard as
members of counterfeit or false denominations.
Pastor Bugingo has really
challenged the hypocrisy of Pentecostal prosperity pastors in Uganda who call
themselves children of light yet they hate
the light(Christ). If we are children of light , what is wrong
accounting for money received? Why do we want to leave our financial secrets
with the prince of darkness(satan)?
Pentecostal pastors must account to at least the members of their churches how much money has been collected from the end of year vigils and how it was spent. Other wise, people wonder about the kind of Jesus these pastors worship.
Abasumba balumbye Bujingo lwa kulaga ssente ze yakuηηaanyizza n'azirangirira mu lujjudde
By Ahmed Mukiibi
Added 11th January 2017
ABASUMBA b'abalokole batadde akaka
ku mbalirira ya musumba munnaabwe owa House of Prayer Ministries, Aloysius
Bujingo gye yafulumizza eya ssente ze yakuη− ηaanyizza mu kusaba okumalako
omwaka kwe yategese ku kkanisa ye e Makerere.
Ku
Ssande mu kusaba kwe yategese okwasoose mu mwaka 2017 mu kifo kye awali
ekkanisa kye yatuuma Canaan, yawadde embalirira ya ssente ze baakuηηaanya okuva
ku kinusu ekya 50/- okutuuka ku kapapula ak'e 50,000/- ne ssente z'amawanga
amalala omuli ddoola ne pawundi n'asoomooza basumba banne nabo bwe baba
beerufu, balage eyaabwe!
Kyokka
mu kifo ky'okuwa embalirira yaabwe, abasumba okuli David Kiganda, Martin David
Ssebuguzi, Joseph Sserwadda, batadde akaka nga bagamba nti bw’alaga ennyingiza,
alage ne akawunti kw’aziteeka n'abagoberezi be yaziggyeemu abalage abantu
abateeka emikono ku akawunti eyo mu kuggyayo ssente.
Kiganda
okusaba yakutegese Nakivubo mu kisaawe, Sserwadda yakutegese Namboole, Bujingo
yabadde ku kkanisa ye e Makerere, Ssebuguzi yabadde ku lusozi e Sseguku,
Kayanja yategese ku kkanisa ye e Lubaga, Kakande naye yategese ku bbiri,
Jackson Ssenyonga yategese Kololo n'abalala nga Bro. Ronnie Makabayi baategese
ku kkanisa zaabwe.
Bujingo
yategeezezza nti, ebinusu yakuηηaanyizza 13,760,300/- ate ez'empapula zaabadde
197,550,000/- zonna awamu omugatte gwa 211,256,300/- era bw’atyo n’agamba nti kino
yakikoze okulaga abagoberezi ssente zaabwe ze basonda ne bye zirina okukola.
Kyokka
Kiganda amwambalidde n’ategeeza nti, “Olaba omwana awaka yeegaana nti sinnabba
ku nva nga tewali amubuuzizza, ggwe omuzadde omanya bumanya nti omwana oyo
yakutte mu nva.”
Yagambye
nti, Bujingo si ye yatandikawo obulokole era bino abikola kuwuddiisa bantu.
"Eryo ddalu lya muntu omu tesobola kufuuka nkola ya buli muntu. Klezia
yasoloozezza, Ssaabasumba oba Kalidinaali yavuddeyo okulaga embalirira?
Emizikiti gyabadde n'okusaala, waliwo eyalaze embalirira, ekyo nkiyita kwagala
kwemulisa mu bitaliimu." Kiganda bwe yategeezezza.
Yagasseeko
nti, "Ennyingiza Bujingo agiwadde ne bw’anaabeera agenda okuggyayo ssente
ku akawunti okugula emmotoka ez'ebbeeyi, abagoberezi anaabagamba nti nzigyeyo
obukadde 800 ηηenda kugula Hammer?"
Yagambye
nti akawunti Bujingo kw’ateeka ssente yiye era tekuli mugoberezi yenna
amuteerako mukono okuggyayo ssente. Abikola na mukyala we n’omwana we b’alinako
obuyinza obw'enkomeredde b’asobola okuduumira nti mukole kino ne bakikola.
"Namirembe yategese okusaba, Ntagali yawadde omuwendo gwa ssente ze
yasoloozezza?
Ye
ku akawunti kw’aziteeka mukyala we na mwana be bateekako emikono? Bujingo aleme
kuwuddiisa bantu." Kiganda bwe yategeezezza.
Martin
David Ssebuguzi eyayawukanye ku Bujingo yagambye nti, ye yabadde ku lusozi gye
yasabidde era baakuηηaanyizza 44,400/- era ezo baazeeyambisizza okusasula
abaabawadde obukuumi.
Yagambye
nti, buli muntu afuna okuyitibwa kukwe era ye tali mu kuvuganya na muntu yenna
ku nsonga yonna. "Sajja kukola ssente, nze Mukama y’annuηηamya okubuulira
ekigambo kye era y'ensonga lwaki saakuηηaanyizza ssente ku bagoberezi."
Ssebuguzi bwe yategeezezza.
Yagasseeko
nti, ye tagenda kukola nga Bujingo bw’akola kubanga Katonda ekyo si ky’amulagira
okukola.
Dr.
Joseph Sserwadda yagambye nti, okusaba kwategekeddwa ggwanga lyonna naye
tewannabeerayo muntu mulala awa mbalirira okuggyako Bujingo n’agamba nti eyo
nkola ye ng’omuntu naye si nkola ya kkanisa.
Omusumba Irene Manjeeri yagambye nti mu kusaba
kwe baategese ku kkanisa ye empya eya Bethel Healing Center baakuη− ηaanyizza
40,000,000/-.