Maama Fina in a satanic spirits invocation pipe smoking ritual |
MUST READ:
Leader of Uganda’s Satanic priests and priestess Maama Fina’s (Sylivia Namutebi) Insists she will make pilgrimage to Mecca despite threats from Muslim leaders
Maama Fina , a staunch catholic, praying at Bulyanti catholic church where she donated 1 million Uganda shillings .He life style is typical of African Christians who worship the 'God' on Sunday and the devil on Monday |
Spiritual Naivety : Pastor Wilson Bugembe shares Pulpit with Uganda’s notorious witchdoctor Maama Fiina : Even if you own demons and you are revered like Maama Fiina and can walk in space, the almighty is one, preached the witch on Pastor Bugembe’s Pulpit: The witch also donated two million Uganda shillings to Church Project .
http://watchmanafrica.blogspot.ug/2015/01/spiritual-naivety-pastor-wilson-bugembe.html
https://www.youtube.com/watch?v=Om5SkKoholI
Witch Maama Fiina donates 2 million shillings at Pastor Bugembe's church |
When the devil blesses its servants with material prosperity : Maama Fina (real name Sylvia Namutebi) the Ugandan Millionaire “witchdoctor” and media darling: Maama Fina’s life boguses the gospel of some prosperity pastors who tell Christians that worshiping satan is synonymous with poverty.
Uganda’s Satanic priestess Maama Fiina allegedly in hiding after her nude pictures leak to the press
New
Eagles production CEO and soft spoken singer Geofrey Lutaaya held his Olweza
concert at Muganzi
Lwaza Plaza
where several notables were in attendance. Among those in
attendance were Pastor Bugembe of Light World
Church, Nansana, Pastor
Yiga commonly known as Abizaayo and Sylivia Namutebi aka Maama Fiina. When Pastor
Bugembe got on stage to perform, he summoned Maama Fiina on stage and they
sang together his Biribabitya(how will things be at the doors
of heaven) song. In return, Mama Fiina was splashing
50K notes on Bugembe as they shook hands and hugged.
|
Where was the devil she worships when the pics were take!!!Maama Fiina’s husband sues Red Pepper over nude photos
Maama Fiina bamuwadde amahale n’ateeka bba ku bunkenke
Yatuuse
e Kibuli nga ye Slyvia Namutebi amanyiddwa nga Maama Fiina, kyokka
w’aviiriddeyo ng’afuuse Sofia Namutebi oluvannyuma lw’okutoola Shahadu
n’akkiriza nti Nabbi Muhammad mubaka wa Katonda.
Okutuuka
e Kibuli Maama Fiina yazze ne banne nga 10, ng’anekedde mu sharia
emmyufu eriko amayinja ag’ebbeeyi agatemagana gye yaguze e Dubai.
Maj. Kiggundu (ku ddyo) n’omuko Kizito. Wakati ye Sheikh Kibaate.
Yabadde
aboobedde nga mukkakkamu era emikolo bwe gyeyongedde mu maaso nga
batuuse okussa emikono ku satifikeeti y’obufumbo, yalaze obumalirivu nga
kirabika ategedde obukulu bw’ensonga eno.
Ku
Mizikiti e Kibuli yasanzeeyo bba Maj. Kiggundu n’abamu ku
baamuwerekeddeko ne bayingira Omuzikiti ku ssaawa nga 5:30 ez’e misana.
Akola nga Supreme Mufuti, Shiekh Mahamood Kibaate ye yabawooye wabula
yasoose kutooza Maama Fiina Shahadu okukakasa nti ddala asiramuse.
“Sofia
ggwe n’omwami wo ogambye nti mwamala dda okuwoowebwa era watoola dda ne
Shahadu wabula nange ng’agenda okubakakasa mu Busiraamu njagala mpulire ku bigambo byo oba okkirizza okuyingira Obusiraamu nga tewali akukase”, bwatyo Sheikh Kibaate bwe yabategeezezza.
Maama Fiina ng’abala ssente z’amahale.
Obwedda Maama Fiina addamu mpola mu ddoboozi ery’ekigole nti, “kituufu nzikirizza era ndi mwetegefu okufumbirwa Maj. Kiggundu era n’eddiini ngikyusizza.” Amangu ago abagole baabalombeddeedduwa era bwatyo Maj. Kiggundu n’afuuka omwami wa Maama Fiina omutongole. Omuko Kassimu Kizito ye yagabye Maama Fiina.
Oluvannyuma Shiekh Mohammed Ssekikubo omu ku baimaamu mu Muzikiti gw’e Kibuli n’abasabira bafune emikisa mu bufumbo bwabwe.
Omu
ku balabirira Omuzikiti gw’e Kibuli Gotto Hussien Musisi yasomesezza
aba- fumbo bano era n’akakasa ne Maama Fiina nti tatya Obusiraamu era
singa Maj. Kiggundu agezaako okumubonyaabonya, agende ku Muzikiti amuloope.
Yabaagalizza okuzaala abalongo era n’amukuutira nti wadde alina ssente, ateekwa okuwa bba ekitiibwa.
Maama
Fiina yasabye amahale ga 5,000,000/- kyokka nga Maj. Kiggundu alinako
busatu mu mpeke. Shiekh Kibaate yabuuzizza Maama Fiina oba akkiriza
okumuwaako obukadde obusatu n’asooka yeerema ng’agamba nti, Maj.
Kiggundu alina okusooka okumuwa obukakafu nti ezisigaddeyo waakuzimuwa
mu bbanga eggere.
Maama Fiina ng’ateeka omukono ku bbaluwa y’obufumbo.
Bakkiriziganyizza nti, ssente ezisigaddeyo wakuzifuna mu myezi esatu.
Oluvannyuma
ssente baazimukwasizza, Sheikh Kibaate azibale oba ziweze. Kyokka
ng’amaze okuzibala, Sheikh yamubuuzizza nti, “Ssente ziweze?” N’amuddamu
nti, “ teziwera ssebo. N’amugamba ddamu obale bulungi era ku mulundi
guno,n’akakasa nti ziweze , omukolo ne gugenda mu maaso.
Abagole nga bafulumye mu Muzikiti.
Bwe
baamaze okuwoowebwa ne beekubya ebifaananyi buli omu n’adda mu mmotoka
ye n’abantu ne bagenda mu zimu ku wooteeri ez’omulembe mu Kampala gye
bagenda okugabulira abagenyi baabwe era mu bbanga ttono, bagenda kukola
omukolo ogunaamenya n’emiti mu Kampala.
Maama Fiina atabuse ne bba: Amulekedde amaka amakulu e Mityana
Alumiriza bba Haji Ismail Ssekidde okuba n’ebbuba erisusse ng’amulondoola buli w’alaze nti n’atuuka n’okumulumba mu Ssabo ng’akola ku balwadde naddala abasajja.
Nti olumu agenda mu bivvulu by’omu mu Kampala nga bba amulese mu maka gaabwe amatongole agali e Bbuye mu Mityana, kyokka ekyewuunyisa amwekangira mu nsonda z’ebifo ebisanyukirwamu ng’alinga amuliimisa.
Slyvia Namutebi (Maama Fiina) agattako nti bba amulondoola n’atuuka n’okumulumba ku buli wooteeri gy’agenda okusisinkana abakungu ababeera bamuyise okubasisinkana mu ngeri ey’enjawulo, nti kyokka olumubuuza ekimukozesa bino, Haji nti addamu kimu: “Atabubira nsiko ye taliira!”
Ebbuba nti lizadde ebizibu ebirala bingi mu maka omuli okubulwa emirembe, ennyombo ezitaggwa ekikola obubi omwana waabwe ow’emyaka omukaaga gwe balina.
Maama Fiina agamba nti ekirala ekibatabudde ye Haji okwagala okuwa amateeka ku ssente z’ekikyala, n’atuuka n’okumulemesa okugabira ku bantu abalala ensimbi ng’agamba nti talina kumansamansa ssente z’amaka. Agamba nti kino takkaanya nakyo kubanga ye akimanyi nti buli lw’ogaba, n’emikisa gyeyongera.
Haji Ssekidde ng’aliko by’annyonnyola eggulo ku ofiisi za Bukedde.
Yagasseeko nti wadde mugagga naye kimuluma okuba nga talaba ku ssente ya musajja!Maama Fiina yafumbiriganwa ne Haji Ssekidde mu 2004 era obufumbo baakabumalamu emyaka kkumi.
HAJI SSEKIDDE AYOGEDDE:
Haji Ssekidde eggulo yazze mu Bukedde oluvannyuma lw’okukitegeera nti mukaziwe ensonga aziwanvuyizza n’ategeeza nti obutakkaanya bwe balina bwa bulijjo obubeera mu maka gonna era akola ekisoboka okutereeza ensonga z’amakaage mu ngeri ey’ekisajjakikulu; kubanga balina abaana abakulu be bateekwa okukuliza awamu.
Yagasseeko nti mukazi we amwagala nnyo era ne gye buvuddeko baabadde ku bizinga by’e Ssese gye yamututte okuwummulamu.
Kyokka Maama Fiina yategeezezza nti Haji yamututte e Ssese ng’amugambye nti agenda kwetonda olw’obugulumbo mu maka obumaze ebbanga nti kyokka bwe yatuuseeyo n’agaana okwetonda ekyabatabudde, Maama Fiina n’asalawo okuva mu maka gaabwe amatongole ag’e Bbuye n’adda e Bulenga gy’asula kati.
Wabula Haji Ssekidde yagambye nti bakyayogeraganya n’agattako nti tamanyiiyo maka mu nsi gatabaamu kutabuka kyokka ng’abantu abakulu, batuula ku mmeeza ne boogera.
Maama Fiina ye yali akulira abasawo b’ekinnansi mu ggwanga kyokka nga kati yatandikawo ekibiina kya “Uganda N’eddagala N’obuwangwa Bwaffe”.
Amaka amakulu ag’e Mityana, Maama Fiina g’awadde Haji Ssekidde.
Abanene abazze bafuna ebizibu mu bufumbo:- Omugagga Drake Lubega yatabuka ne mukazi we Benita Lubega.
- Omugagga Agnes Babirye yatabuka ne bba William Mugerwa.
- Eyali Minisita James Kakooza yatabuka ne mukyala we.
- Omuyimbi Fred Sserugga eyatabuka ne mukazi we Catherine Kusaasira.
- Dr. Specioza Wandira Kazibwe yatabuka ne bba Ying. Charles Kazibwe (omugenzi).