Thursday 17 May 2012

Ugandan Gospel Musicians have been blamed for participating in secular music concerts but aren’t they putting into practice the greed that their prosperity pastors have taught them over the years???


My analysis

Of recent Gospel musicians in Uganda have been greatly criticized for performing in bars and participating in secular music concerts. In fact Pentecostal radio stations such as Kingdom F.M recently gave the gospel musicians an ultimatum to register all their songs that have not been copyrighted with the station. The musicians have been warned that failure to register these songs will imply that their songs will not be played on the station. Some Ugandan gospel musicians are so drunk with the prosperity gospel that the poor can no longer afford to attend their Album launches. In order to attend these launches you need 5,000 Uganda shillings if not 10,000 or more.Some of them have already sold their ‘God given’ albums to secular persons such that if you play their songs, you risk being sued by these secular guys.   

Many people have blamed these gospel artists. In fact pastors such as David Kiganda have been on the fore front of the campaign against these gospel musicians. However, our blame of  these musicians is not focused. Gospel musicians in Uganda are behaving the way they are doing because of the rotten prosperity gospel being preached by Ugandan pastors such as David Kiganda. The prosperity Gospel can produce nothing other than a rotten fruit. Pastors have taught these musicians to love materialism, money, above anything else by the gospel they preach. The pastors in Uganda pray for people for money and like wise gospel artists demand money from people in exchange for their songs. Either way it all about selling the gospel for filthy lucre’s sake .

Therefore unless there is a paradigm shift from the prosperity gospel to the gospel of repentance, Gospel musicians will continue to look for money and prosperity in secular concerts and bars. They are doing exactly what the pastors have taught them to do i.e. to love and pursue materialism, power, wealth, money, fame etc.

FIRST READ:

Bishop David Kiganda’s stinking Prosperity Gospel: Money in one hand and the bible in the other

http://watchmanafrica.blogspot.com/2010/07/bishop-david-kigandas-stiking.html

Uganda's Rotten Prosperity Movement

http://takeheedafrica.blogspot.com/2008/03/ugandas-rotten-prosperity-movement.html

Pastor Franklin Mondo Mugisha attacks Uganda’s Prosperity Gospel on NTV: Advocates for the gospel of Righteousness

http://watchmanafrica.blogspot.com/2012/05/wind-of-change-or-change-in-wind-pastor.html

A SCRIPTURAL REBUTTAL OF THE PROSPERITY GOSPEL

http://watchmanafrica.blogspot.com/2010/07/scriptural-rebuttal-of-prosperity.html

Prosperity Gospel: A gospel from hell

http://arthurgraph.wordpress.com/category/antichrist-prosperity-gospel/

Prosperity Gospel : A Gospel of the Antichrist

http://sites.google.com/site/gloryofhiscross/antichrist

 

Temugendera ku bigambo bya bisopu Kigganda- basumba

http://www.eddoboozi.co.ug/index2.php?page=article.php&x=542

Abasumba b’amakanisa g’abalokole bawabudde Bisopu David Kiganda owa Christianity Focus Center -Kisenyi era nga y’omu ku beebuuzibwako ku nsonga z’eddiini y’obulokole ku ky’okuvumirira abayimbi b’enyimba ez’eddiini okuyimbira mu bivvulu by’abayimbi ab’enyimba ez’ensi.

 Gye buvuddeko, Bisopu Kiganda yategeezezza nti kivve nnyo abayimbi b’enyimba ezitendereza omutonzi okuyimbira mu bivvulu by’abayimbi abatali nga bo kubanga kiweebuula eddiini yaabwe.

Paasita Wiberforce Samanya owa Joint Christian Ministry ku luguudo lw’e Ntebbe  yagambye nti, “Ekigendererwa ky’enyimba z’eddiini eziyimbibwa abalokole kya kubuulira njiri era tetusobola kuzibuulira nga tetulumbye bantu.”

Wabula Samanya yategeezezza nga bwatakkiriziganya na bayimbi kuyimbira nsimbi naddala mu bifo ebyensi olwensonga nti omulamwa gw’okuyimba gubeera tegukyagasa.

Paasita Solomon Male owa Arising for Christ yagambye nti, “Kyannaku okulaba ng’abasumba bakyeyagaliza bokka, mu kiseera kino abayimbi kye bakola kye kimu n’abasumba kye bakola bwe bategeka enjiri mu mabala ne basoloozaayo ensimbi. Bwe baba baagala abayimbi basigale nga bayimbira mu makanisa, babasasule.”

Male alaze obutali bwenkanya olwengeri abalokole gye bagaggawalamu kyokka ng’abayimbi abayimbira mu makanisa gaabwe ba mpaleenyweranamuguwa.

“Abayimbi n’abasumba bonna banoonya ssente naye abayimbi bwe bayimbira mu makanisa tebaweebwa nsimbi. Abasumba bazzezza bokka ne bazimba amayumba agatalina alina n’okugejja embuto kyokka nga bonna bakola omulimu gwa ttendo mu kubuulira enjiri,” Male bwe yagambye.

Paasita Sserwadda yalagidde abayimbi abayimba enyimba z’eddiini okwewandiisa kibasobozese okuleeta ng’enyimba zino ku leediyo zaabwe okuli eya; Kingdom, Family leediyo, Top ne Impact, okuzikwatanga ku ntambi ku bwereere kibasobozese okuzifulumyanga nga tebazisaasaanyizaako nsimbi yonna.

Wabula Male agambye nti, “Abasumba tebasobola kugamba nti enyimba z’abayimbi zaakutandikibwa kuyimbibwa bwereere ate nga waliwo essaala ezimu ezisabibwa abasumba eri endiga nga basoose kuwaayo nsimbi.”

Kiteeberezebwa nti endiga zibadde zitandise okwesalako okujja mu makanisa olwabayimbi b’enyimba z’eddiini okutandika okulabikiranga mu bivvulu by’abayimbi b’enyimba z’ensi ne kitabatwalira budde kugenda mu makanisa gano, ekisuubirwa nti kisazeeko ku birabo ebiweebwayo mu makanisa gano.
 MUKASA IVANIE MALE

Abasumba beesimbye mu Pr. Bugembe, Babirye ne Samalie Matovu

http://www.bukedde.co.ug/news/63071-Abasumba-beesimbye-mu-Pr--Bugembe--Babirye-ne-Samalie-Matovu.html

Apr 13, 2012

Kampala
Bya Josephat Sseguya
WABALUSEEWO obunkenke wakati w’abayimbi abalokole abayimba ennyimba z’eddiini n’abasumba b’Amakanisa g’abalokole  abagamba nti bangi ku bayimbi bano ettuttumu baliggya mu makanisa kyokka ate ne balyeyambisa mu ngeri enkyamu omuli n’abamu ku bo okukung’anga abantu okugenda mu zi ttabbulu ezitegekebwa abayimbi be bayita ab’ensi.

Olutalo luno lwatandikibwa omuyimbi eyeeyita Nabbi Omukazi (Maggie Kayima) kyokka kati luyingiddemu abamu ku basumba abanene nga bagamba nti wateekwa okussibwawo amateeka agabafuga baleme kuva ku mulamwa.

Kino abayimbi kibasattiza nga bagamba nti kigenda kubaavuwaza kubanga mu bivvulu bye bayita eby’ensi gye basinga okuggya akasente ate nga mu ngeri y’emu nayo baba bakolerayo omulimu gw’okubuulira enjiri.

Mu bimu ku bigambibwa nti abayimbi bano babikola mu bukyamu mwe muli okukunga abantu okugenda mu ttabbulu nga eya Bobi Wine ku mwalo e Busaabala gwe yatuuma  One Love Beach.

Kuno kwe bagatta okuyimba mu bivvulu bye bayita eby’ensi, okuyimba n’abayimbi b’ensi, n’ okuyimbira mu mabaala.
Kyokka abamu ku basumba bwe baatuukiriddwa ku nsonga eno baajoogeddeko mu ngeri ez’enjawulo.

Omusumba David Kiganda ow’ekkanisa ya Christianity focus center mu Kisenyi yategeezezza nti kituufu waliwo ensonga abalokole abayimba ennyimba ezitendereza Mukama ze balina okugonjoola. N’agattako nti yabayise mu lukiiko ku Lwokuna e Nakasero bateese ku bintu bo ng’abasumba bye balaba nti abayimbi bano bandibadde bakola okusobola okutwala omulimu gwabwe n’ekitone mu maaso obulungi.

 “Ensonga ez’enjawulo zo weeziri naye siyinza kuzigamba mwe b’amawulire nga bannanyinizo abakwatibwako tebannazimanya. Katusooke tutuule nabo nammwe munaazimanya oluvannyuma.” Kiganda bwe yategeezezza ku ssimu ku Lwokusatu.

Kyokka ensonda zaategeezezza nti ssente z’abayimbi bano nazo zibatabula n’abamu ku bakulembeze b’abalokole. Bagamba nti ssente ekibiina kya (Uagnda Performing Rights Society) UPRS kye zisolooza ku zi leediyo ne tivvi z’abalokole olw’okukuba ennyimba zaabwe ku mikutu gino nnyingi kyokka ate ng’okuzikuba abayimbi bano tebasooka kubasasula.

Abakulembeze kwe kusalawo babage ekiwandiiko abayimbi bonna bateekeko emikono nga balaga nga bwe batasasula kukuba nnyimba zaabwe ku mikutu egyo kisobozese abakulembeze okukakasa aba UPRS nti tebalina kye bafuna ku bayimbi n’emirimu gye bakola gya bwannakyewa olwo babasonyiwe ssente ezo.

Ensonda zaategeezezza nti, ssente zino aba UPRS bazigabanyaako abayimbi era abayimbi zibayamba okugenda mu situdiyo okukwata ennyimba ekitegeeza nti tebayinza kukkiriza kuteeka mikono ku kiwandiiko ng’ekyo.
Kyokka omu ku basumba abalina emikutu gy’amawulire eyasabye amannya ge gasirikirwe yategeezezza nti abayimbi abo si benkanya kubanga babakubira ennyimba zaabwe ku leediyo ne ttivvi nga tebasasudde kyokka ate ne baagala bo abasumba babasasule (kubanga abasumba bwe basasula UPRS baba ng’abasasudde abayimbi).

Ensonga endala ensonda gye zaawadde kwe kubeera nti abayimbi babafuuwa ssente bwe bayimba mu makanisa kyokka abakulira amakanisa gano ne bazitwala nga bagamba nti si zaabwe.

Wabula Pasita Bugembe, bwe yatuukiriddwa yagambye nti kituufu y’omu ku bayimbi abalokole abaasooka okugenda mu bivvulu eby’ekika ekyo era ekigendererwa kyali kya kusaasaanya njiri okugituusa mu bantu ab’ekika ekyo.

Yayongeddeko nti Abasumba bwe baba bakirinako obuzibu bayinza okuba nga balina ensonga, kyokka eky’ennaku tannatuulako nabo kumutegeeza buzibu buno.
Abayimbi abali ku lukalala:

Kuliko Judith Babirye, Pasita Wilson Bugembe ow’ekkanisa ya Light the World e Nansana, Samalie Matovu eyali ayimbira mu kkanisa y’Omusumba Imelda Namutebi nga kati ali mu Kream Productions,  Hanson Baliruno, Wisdom Kaye, Simon Mirembe eyayimba ‘Nali mmanyi’, Julie Muteesasira, Silver Kyagulanyi, Jacky Ssenyonjo, Dangello Busuulwa, Exodus, Ken Miziki n’abalala.

Ebibonerezo bye babataddeko:
  1. Okubagoba obutaddamu kuyimbira mu kkanisa zaabwe n’ebikujjuko bye  bategeka ng’omwaka guggwaako mu bisaawe eby’enjawulo n’enkung’aana z’enjiri endala.
  2. Okulekera awo okukolagana n’abantu abakolagana n’abayimbi bano.
  3. Okuboolebwa mu balokole kubanga baba beefudde ng’abantu abalala.

Abakoze ennyimba n’abayimbi ab’ensi
Bino we bijjidde ng’Omusumba Bugembe yakola oluyimba ne Bobi Wine lwe bayita ‘Ojjanga n’osaba’ era atera okuyimbira ku bbiici ya Bobi Wine e Busaabala. Kati ategeka kukola ne Bebe Cool wamu n’okubatabaganya mu kivvulu ekituumiddwa ‘The Battle of Champions’ ekigenda okubeera ku Rugby Grounds e Lugogo.

Samalie Matovu naye yakoze oluyimba ne Bobi Wine.
Maggie Kayima eyeeyita Nabbi omukazi yakola oluyimba ne Jose Chameleone kyokka ye tebaamutadde ku lukalala. Ono ye yatandika olutalo ne Bugembe ng’agamba nti ayimba n’abayimbi b’ensi wamu n’okuyimbira mu biduula ebirimu abatamiivu n’abanywi b’enjaga.

Abasumba baagala abayimbi abalokole beeyise nga Betty Nakibuuka gwe bagamba nti ayimbira mu makanisa mwokka.  

Abayimbi boogedde;

Wisdom Kaye, Ssentebe w’ekibiina kya  Uganda National Gospel Artistes Association ekigatta abalokole abayimba ennyimba z’eddiini agamba nti Yesu teyabayita kuyimbira balokole bokka. Ne  Baibuli etulaga Yesu mu kkanisa emirundi ebiri: Ogwasooka yagenda kweyanjula nti mwoyo wa Mukama ali ku ye wabula tebaamutegeera.


Ogwokubiri yagenda kugoba baali basuubuliramu biyiibwa n’abakuba kibooko. Ebbanga lyonna yalimala abuulira b’asanga mu byambyone. Kikola amakulu okugenda mu Silk ne tuyimbirayo kuba abagendayo be basinga okwetaaga ekigambo lwakuba abasumba tebakitegeera.


Judith Babirye
Bw’otunuulira minisitule ya Yesu, yali asinga kunoonya boonoonyi ababuulire kubanga kye kyamuleeta. Banabbi abaayogeranga ku kujja kwa Yesu ku nsi mu Isaiah, baagambanga nti agenda kujja kujjanjaba abalina emitima egimenyese, abazibe balabe n’ebirala era kye yakola.


Nze mmaze akaseera nga nneetegereza ekitone kyange ne nsalawo nti Yesu teyantuma mu kkanisa mwokka wabula n’ebweru mu bantu abalina emitima egimenyese nga Yesu gye yabasanganga. Wabula ne mu makanisa abafalisaayo baabeerangayo naye ate yabalekangayo n’anona ab’ebweru. Abantu baagala ennyimba zaffe nga tebakakiddwa era buno nabwo bulokozi eri Katonda. Y’akikola si ffe tubakaka.

Abayimbi abalala bawanda muliro

Hanson Baliruno
Nze sirina mutawaana ku bya kugenda mu bivvulu bino ne bwe kuba kuyimba na bayimbi nga Chameleone. Ndowooza ffe tulina okunoonya abeetaaga mwoyo so si bo kutunoonya. Era bwe tugenda eyo tuba tutwala butukuvu gye bali balokoke kubanga mu kkanisa batyamu.



Samalie Matovu
Buli omu yajja mu nsi ng’alina omulimu Katonda gwe yamutuma. Ate buli omu alina ekitone Katonda kye yamuwa akozese. Kati tolina ngeri yonna gy’oyinza kuziyiza muntu kukozesa kitone Katonda kye yamuwa okuyamba abalala era ng’enda kwongera okuyimbira abantu.



Dangello Busuulwa
Ono ye yayimba ‘Omwaka guno ne ‘Sijja kubizzaayo’. Ekintu kino kyanyumidde nnyo ne kinsesa n’abaakireese gye baakiggye. Nneewuunya, abantu abali mu mabaala be tulina okuyimbira balwadde bamyoyo abavudde ku mulamwa. N’abasumba bennyinni bagenda mu butale, mu bbaala ng’awabeera ‘Embaga y’Embaata’ wooteeri n’ebifo ebirala ebisanyukirwamu ne babuulira enjiri naddala mu biseera by’amalya g’ebyemisana.
Olwo bbo baba banoonyayo ki?


Exodus
Amannya amatuufu ye George Lubega eyayimba I gwe. Katonda yasindika Yesu ku nsi eri aboonoonyi abatuukirivu n’abaleka mu ggulu.

Naffe kye tuva tugenda mu mabaala nga tuzudde nti amakanisa galimu abamanyi Yesu.
Nze nali muyaaye naye era enjiri eyagimbuulira gye yansanga ne njaagala nange gye mbasanga ne mbawa ekigambo.

Abayimbi ng’enda kubayita twogere - Kiganda

Abasumba boogedde

David Kiganda akulira ekkanisa ya Christianity Focus Centre mu Kisenyi yategeezezza nti, kituufu abayimbi bano balina okukkaanya ku nsonga ez’enjawulo ku ngeri gye balina okukolamu emirimu gyabwe.

Agamba nti waliwo ensonga ze baludde nga baagala boogereko kyokka babadde tebannafuna budde wabula kati bakkaanyizza okusisinkana. Yategeezezza nti yabayise bonna basisinkane e Nakasero mu lukiiko bateese ku nsonga ez’enjawulo kyokka n’agaana okwogera ensonga zino okutuusa nga zoogeddwaako mu wiiki eno nga tennaggwaako.

Omusumba Imelda Namutebi Kkula

Yagambye nti eby’okugoba abayimbi bano tabiriimu wabula n’awa amagezi nti bandibalese ne bayimbira yonna gye baagala. Ekya Samalie Matovu okuva mu kkanisa ye mwe yali ayimbira n’agenda mu  Kream Productions teyakyogeddeko ng’agamba nti buli omu y’amanyi bw’akola emirimu gye.

Omutume Alex Mitala
Akulira ekibiina kya National Fellowship of Born Again Christians bino teyabigaanyi  ate teyakkirizza wabula yasabye asooke ategeezebwe abayimbi abaabadde beemulugunya nti bagenda kuboolebwa alyoke abyogereko.


Omusumba Joseph Sserwadda Ono ye nnannyini kkanisa ya Victory mu Ndeeba. Yagambye nti eky’okulabula abalokole abagenda mu biduula by’ensi takiwulirangako n’agamba nti tayinza kukotoggera bantu ba bitone byabwe. Wabula kye yandisabye abayimbi abo kwe kwawula ennyimba ezikwata ku by’ensi n’ezikwata ku Mukama. Oluvannyuma eza Mukama basobola n’okuzitwala ku leediyo zaabwe kyokka ezitakwata ku by’ensi tebasobola kuzikuba.

Abayimba ennyimba z’eddiini bagaanyi okwewandiisa

http://bukedde.co.ug/news/63153-Abayimba-ennyimba-z-eddiini-bagaanyi-okwewandiisa.html

Apr 17, 2012

Kampala

Bya Josephat Sseguya

ABAYIMBI b’ennyimba z’eddiini Abalokole batuuzizza olukiiko olw’amangu omwetabye n’omuwandiisi w’ekibiina ky’abalwanirira eddembe ly’ebiyiiye, ekya UPRS ne basalawo nga bwe batagenda kwewandiisa ng’Abasumba baabwe bwe baasazeewo nti balina okuteeka emikono ku kiwandiiko mu wiiki bbiri ekiraga nti leediyo zaabwe ne ttivvi tebazisasula okukuba ennyimba zaabwe.

Ekiwandiiko kino kye kiwolereza abalina leediyo zino ne ttivvi baleme kusasula Gavumenti misolo gya kukuba nnyimba zaabwe.

Abayimbi abaakulembeddwa ssentebe w’ekibiina ekigatta abayimbi b’enyimba z’eddiini Abalokole, Wisdom Kaye baasisinkanye omuwandiisi w’ekibiina kya UPRS, James Wasula ku wooteeri ya Serena eggulo ne basalawo nti
bakugira nga balinze okwewandiisa nga bwe baaweereddwa ebibiina eby’enjawulo amagezi.

Abayimbi abalala abaabadde mu lukiiko mulimu Judith Babirye, Hanson Baliruno n’abalala abaategeezezza nti balinze wiiki bbiri ezaabweeereddwa balyoke balabe ekiddako.

Kaye yategeezezza nti, ekimuluma n’abayimbi abalala kwe kubeera nti Abasumba kino baakifudde kya busumba nti abayimbi be bakiteekako bateeke emikono ku kiwandiiko kino, balina okufuna ebiragiro bino ne bakkiririzaawo kubanga abaabibawadde Basumba so ng’eno bizinensi.

“Bwe tukola konsati mu kkanisa tusasula ssente eziri mu 500,000/- ne bw’oba muyimbi mu kkanisa ng’ogenda kuwasa oba kufumbirwa era osasula ez’ekkanisa. Lwaki batussaako etteeka lino. Leediyo zeetaaga ennyimba zaffe kubanga wadde zituyamba okuzimanyisa abantu naye ne leediyo zeetaaga ennyimba zino abantu banyumirwe bongere n’okuziwuliriza.”

Wasula yategeezezza nti leediyo zonna ne ttivvi zeetaaga okukuba ennyimba z’abayimbi ziryoke zifune abaziwuliriza zifune ebirango kazibe nga zibuulira njiri, zeetaaga abaziwuliriza n’olwekyo eky’okugamba abayimbi bewandiise balemese leediyo zino okusasula ssente kiba kikyamu.

Wiiki ewedde, Omusumba David Kiganda yasisinkanye abayimbi b’ennyimba z’eddiini n’abalagira beewandiise mu wiiki bbiri.