Wednesday, 11 January 2012

Uganda Pentecostal pastors threaten to go to the streets to protest police allegation over Pastor Mulinde’s acid attack

First They Came for the Jews

First they came for the Jews
and I did not speak out
because I was not a Jew.
Then they came for the Communists
and I did not speak out
because I was not a Communist.
Then they came for the trade unionists
and I did not speak out
because I was not a trade unionist.
Then they came for me
and there was no one left
to speak out for me.

Pastor Martin Niemöller

In their meeting that took place in Kawempe, Pastor David Kiganda, the senior pastor of Christianity Focus centre gave the Uganda Police an Ultimatum of two weeks to produce a recording that implicates Pentecostal pastors in Pastor Mulinde’s acid attack or else they take to the streets. The Uganda Police has recently intimated that it has a recoding of a 2010 pastor’s meeting, in which some pastors threatened to cause harm to Pastor Mulinde . The police alleges that the pastors were hungry with Mulinde’s monopoly of the Israel pilgrimage business. It must be noted that Mulinde takes pilgrims to Israel every year and charges little fares as compared to other pastors. This according to the police hungered some pastors so much that they decided to pour acid on Mulinde.


My analysis

The allegations of the Ugandan Police that Pastors are behind Mulinde’s acid attack are indeed bogus. The Uganda government is hiding the truth in this case in order to avert a conflict between Muslims and Pentecostals in Uganda. The government is only afraid that this incident might fuel more division and conflict between Muslims and Pentecostals. The conduct of the Ugandan Police is quite similar to the one where American forces burned bibles in Afghanistan to avoid offending Muslims.

Military burns unsolicited Bibles sent to Afghanistan


http://articles.cnn.com/2009-05-20/world/us.military.bibles.burned_1_bibles-al-jazeera-english-military-personnel?_s=PM:WORLD


Military burns Bibles sent to troops in Afghanistan


http://www.examiner.com/christian-in-louisville/military-burns-bibles-sent-to-troops-afghanistan#ixzz1f4yklBBN



Abasumba balumbye poliisi ku bya Mulinde



http://www.bukedde.co.ug/news/61158-Abasumba-balumbye-poliisi-ku-bya-Mulinde.html


Jan 11, 2012

Bya Moses Lemisa

ABASUMBA b’Abalokole batabukidde poliisi ne bagiwa wiiki emu eveeyo ebalage akatambi akalaga nti mubo mwe muli abaayiira Mulinde asidi singa tekikolebwa bagenda kukunga Abalokole beeyiwe ku nguudo z’omu Kampala beekalakaase.

Abasumba bano abaakulembeddwa omusumba David Kiganda ow’Ekkanisa ya Focus Centre mu Kisenyi, bino babyogeredde mu lukiiko olwatudde ku Kkanisa ya Trinity e Kawempe ku Lwokubiri ne basaba Kayihura asitukiremu mu bwangu ku nsonga ya Mulinde.

Kiganda yagambye nti Poliisi yavaayo ku mikutu gy’amawulire n’etegeeza nti abaayiira Mulinde asidi baali basumba kyokka n’okutuusa kati terina n’omu gwe yali ekutte.

Yawagiddwa abasumba abawerako okwabadde Godfrey Luwaga owa City of Lord ku Kaleerwe n’abalala abasoba 50 abeetabye mu lukiiko luno.

Kiganda yategeezezza nga Mulinde bwe yaggyiddwa e Buyindi n’atwalibwa mu Yisirayiri mu ddwaaliro lya Teller Vvi e Sheba ku Lwokutaano lwa wiiki wedde kyokka eddwaaliro ly’e Buyindi lyasigadde libanja omutwalo gwa doola.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu Kampala, Ibin Ssenkumbi yategeezezza nti ensonga z’omusumba Mulinde zaakwasibwa ekitongole eky’enjawulo ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango ekikulirwa Binoga.

‘Eby’okuyiira Mulinde asidi birimu abasumba’


http://www.bukedde.co.ug/news/60875--Eby-okuyiira-Mulinde-asidi-birimu-abasumba-.html

Dec 29, 2011

Bya Robert Mutebi
POLIISI ezudde obujulizi ku kuyiira Paasita Umar Mulinde asidi nga ke katambi okuli amaloboozi n’ebyateesebwa abasumba mu lukiiko olw’ekyama.

Akatambi kano akaasomoddwa bambega ba poliisi kyokka nga kaliko n’abasumba abaakafunyeeko kkopi kaliko byonna ebyateesebwa abasumba 10 abaasisinkana n’abo abaalina okukola ‘misoni’ y’okutuusa obulabe ku Paasita Mulinde ow’ekkanisa ya Gospel Life Church International e Namasuba mu kafo akamu mu 2010.

Mulinde abamu ku basumba banne bamulanga kubayingirira mu ddiiru y’okutwala bantu okulamaga e Yisirayiri gye yayingiramu gye buvuddeko n’ayitimuka nnyo ssaako okuwaliriza abaamusookamu bamu okugyabulira nga tekyabakolera.

Omu ku basumba b’abalokole bano ataayagadde kumwatuuukiriza mmanya yakkirizza nga Mulinde bw’abadde yabawambako ekintu ng’abalokole abasinga abaagala okugenda okulamaga mu bifo ebitukuvu e Yisirayiri bagenda wuwe gye bayitira.

“Ekisooka yalaba obunafu bw’abasumba banaffe abaasooka mu kintu nga balina omulugube gw’ensimbi n’okunyaga abantu ye n’avaayo n’amazima naddala mu by’ensimbi. Emiwendo gye gibadde wansi ddala era y’emu ku nsonga lwaki abadde yeeyunirwa nnyo,” bwe yategeezezza.

Mu nteekateeka y’Omusumba Mulinde, abagenda e Yisirayiri yabasabye ddoola 2000 (ze za Uganda 5,000,000/-) nga buli kimu kiwedde era nga baakukolera ku byetaago byonna omuli viza, entambula, ebyokulya, okusula n’ebirala. Abalala babadde basaba abantu ssente eziri wakti wa ddoola 2,500 ne 3,000 ate nga babakolera ku ntambula, viza ne yinsuwa ebirala ne beerabirira.

Mu mbeera eno, ensonda ziraga ng’abamu ku basumba bwe kitaabayisa bulungi kwe kusalawo okumutuusaako obulabe nga mu lukiiko lw’abasumba 10 omwali n’abalina okutuukiriza ddiiru basooka kusalawo kumutomeza mmotoka.


Wabula kigambibwa nti olukwe luno lwagwa butaka oluvannyuma lw’omu ku bannaabwe okugaana okukkaanya nabo. Kigambibwa nti ekirowoozo kya asidi kyajja luvannyuma lwa kulemesebwa kwa ddiiru yaakumutomeza mmotoka eyali esoose okukolebwa.

Mulinde ku ntandikwa y’omwaka guno yakuba olukung’aana olunene mu kisaawe e Nakivubo n’akunga abantu okweyunira kampeyini ye ey’okugenda okulamaga e Yisirayiri era ng’omwezi gwa October, November ne December omwaka guno abadde akuba enkung’aana ez’amaanyi mu bifo eby’enjawulo gy’abadde abuulirira enjiri n’okukunga abantu ku ky’okugenda e Yisirayiri.

Ku miryango egiyingira mu kkanisa ya Mulinde wajjuziddwa ebipande ebiraga ebifo ebitukuvu mu ggwanga lya Yisirayiri era nga kuliko n’ekifaananyi kya Mulinde wamu n’ebigambo ebikunga abantu okumwegattako.

Omutume Mulinde ayogedde
Mulinde ng’asinziira ku kitanda gy’ajjanjabirwa mu ddwaaliro lya Kampala International Hospital e Namuwongo yakkirizza nga bw’abadde ategese okutwala abantu abasukka mu mutwalo e Yisirayiri okulamaga omwaka guno n’agamba nti abamu yasoose na kubabuulira njiri ne balokoka.

“Kituufu ntambudde mu bifo bingi nga mbuulira enjiri era abantu bangi balokose naye era mu kino mbadde ntegeeza abantu ku ky’okulamaga e Yisirayiri era nga bangi bakkirizza okugenda nange,” Mulinde bwe yategeezezza.

Ensonda mu basumba b’abalokole zaategeezezza nga ddiiru y’okutwala abantu e Yisirayiri bw’efuna emirundu ebiri anti n’Abayisirayiri babaako engeri gye basiimamu oyo yenna atutteyo abantu abangi.

Akulira abasumba ky’agamba

Omusumba David Kiganda akulira abalokole mu kitundu kya Kampala mu kibiina ekibagatta ekya National Fellowship Of Born Again Pentecostal Churches of Uganda yagambye nti bataddewo ekirabo kya bukadde 20 eri asobola okubawa amawulire agabatuusa ku yakoze ettemu lino.

“Bannaffe bwe baba bavuddeyo ne bawa obujulizi nga buno kirungi nnyo era tubasaba babututuseeko naye nga bamanyi ssi bwakutujja ku mulamwa.Mulina amawulire amalungi naye tusabe gabeere nga tegatujja ku mulamwa”Kiganda bwe yategeezezza.

Yagasseeko nti: Mulinde kituufu abadde n’abalabe abamuyigganya okumla ekiseera naye abamu bamanyiddwa kubanga babadde bamulabula okumala ekiseera. Bwe wabaayo abalala ababeegattako ekyo kirala kubanga abasumba bangi abatwala abantu mu Yisirayiri.

Omusumba John Mulinde owa Prayer Mountain ku luguudo lw’ e Ntebe atwala abalamazi ebweru, Omusumba Oyet abatwala, nange ntegeka kubatwala mwaka gujja ate n’abalala bangi ababatwala n’olwekyo kino kiraga nti ssi muntu omu oba babiri abakirimu, basumba bangi abali mu ky’okutwala abantu e Yisirayiri.

Basumba ki abanoonyerezebwako?

Ensonda mu bambega zaagambye nti Abasumba abaali mu lukwe luno bataano ku bbo balina amakanisa ku luguudo lw’ e Ntebe, omu ali ku luguudo lw’e Gayaza, babiri bali mu Ggombolola y’e Lubaga, omu mu Makindye ate omulala yategeezezza nga bwe yeerimbika mu busumba kyokka nga mupanzi wa ddiiru atalina kkanisa ntongole okuggyako okubuna amakanisa gonna nga bw’abeera asanze.

Kigambibwa nti mu lukiiko abasumba bano lwe batuuza ku Pope Paul e Lubaga mu October 2010 okulonda obukulembeze mu kitundu kino abamu mwe baalagira obukyayi eri Paasita Mulinde mu lujjudde.

POLIISI BY’EGAMBA
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Ibn Senkumbi yategeezezza Bukedde nga bwe bali ku kaweefube w’okufuna obujulizi bwonna obwetaagisa okuva mu buli muntu era nga buno bwakubayamba okuzuula omutuufu eyayokya Mulinde asidi.


“Tetulina muntu yenna gwe tujja kutaliza, buli alina amawulire agayinza okutuyambako tumwaniriza era n’abo abasumba abavuddeyo okulokooma bannaabwe tulina kukolagana nabo bulungi kubanga batuyamba ku kunoonyereza kwaffe,” Senkumbi bwe yategeezezza.

Yagambye nti obujulizi poliisi bwe yaakafuna ssaako bwe yeeyongera okufuna mu kiseera kino bubawadde essuubi ly’okutuuka ku bantu abatuufu abaayokya omusumba.