Recently the Uganda police arrested Blessing Kisaakye. She calls her self Jesus and has a cult with about 80 members.She was arrested becasue of the end message she preaches to her follwers. According to this cult, the world will end this week and every body is going to heaven. The police urgue that they are similarties between this cult and the Kibwetere cult which killed hundreds of people in Uganda .
Eyeeyise Yesu poliisi emukutte
http://www.bukedde.co.ug/index.php?option=com_content&view=article&id=25522: eyeeyise-yesu-poliisi-emukutte&catid=62:masaka&Itemid=580
Bya Ali Mambule
Monday, 28 June 2010 16:00
OMUKAZI abadde yeeyita Yesu ng’alina n’abagoberezi abasukka mu 80 poliisi e Masaka emukutte n’emuggalira.
Blessing Kisaakye yakola ekiggwa ku kyalo Kanywa mu Ggombolola y’e Buwunga mu Masaka okumpi ddala n’amaka ga kitaawe George Nyanzi nga wano w’abadde asinziira okukunga abantu bamwegatteko mu nzikiriza eno.
Mu bimu ku byakwasizza Kisaakye bwe bubaka bw’abadde ategeeza abagoberezi be ng’ensi bw’egenda okutuuka ku nkomerero mu sabbiiti ejja mbu abantu bonna bagende mu ggulu.
Kisaakye abadde akung’aanyiza abagoberezi be mu nnyumba ya kitaawe ne beesibiramu ate nga bwe babeera abangi abamu babaggalira bweru.
Omuduumizi wa poliisi y’e Masaka, Titus Byaruhanga ye yakulembeddemu abakuumaddembe abaazinzeeko amaka ga Nyanzi ne bakwata Kisaakye n’abamu ku bagoberezi be abaabaddewo bonna ne batwalibwa ku kitebe kya poliisi e Masaka gye bakuumirwa.
Byaruhanga yategeezezza nti Kisaakye yasooka kusimba makanda e Lungujja mu Kampala we yava n’agenda e Kyengera nga poliisi emuyigga ate bwe yategeera nti abakuumaddembe baali baagala kumukwata bamuggalire, kwe kusalawo okugenda e Kanywa okumpi n’e Nalozaali mu ggombolola y’e Buwunga e Masaka.
Abagoberezi ba Kisaakye bonna baabadde bakkiriza ng’enkomerero bw’eneetera okutuuka era abadde abalagira okutunda ebyabwe byonna ne bamutwalira ssente kyokka ku bonna tewali ayogera kye zibadde zikozesebwa.
“Ne Kibwetere bwatyo bwe yabuzaabuza abantu n’abasibira mu ssinzizo n’abakumako omuliro mu ngeri ey’ekisaazisaazi bonna ne basirikka,” Byaruhanga bwe yategeezezza.
Byaruhanga yagasseeko nti buli obudde lwe bubadde buziba ng’abantu bano beekunga mu bibinja by’abantu bataano ne batandika okutalaaga ekyalo kyonna, kye yeekengedde nti kyandyongedde n’obumenyi bw’amateeka mu kitundu.
Poliisi era yeekengedde nti abantu bano we babadde bakung’aanira waliwo enku nnyingi ekyaleeseewo okutya nti osanga Kisaakye yabadde ategeka kukuma muliro ku bantu bonna abamugoberera basirikke.
Kyokka ye Kisaakye yalabudde Byaruhanga obutamwepankirako kubanga mwana wa Katonda ddala era Yesu yennyini kuba engeri Yesu gye yazaalibwamu mbu naye Kisaakye gye yazaalibwamu.
Abagoberezi be baasoose kweyiwa ku kabangali ya poliisi Kisaakye kwe yabadde assiddwa wabula abamu ne bagobwako nga bayitiridde.
Mu baatwaliddwa ku poliisi e Masaka mwabaddemu abasomesa n’abalala.
Bagguddwako ogw’okukuba olukung’aana mu ngeri emenya amateeka ku fayiro nnamba gse/10/2010.
Omukazi eyeeyita Yesu
http://www.bukeddekussande.co.ug/detail.php?mainNewsCategoryId=3&newsCategoryId=186&newsId=724665
BYA SSENNABULYA BAAGALAYINA
Blessing Kisaakye (40) ng’amannya ge amatuufu ye Betty Nassenge agamba nti ye Yesu asimbiddwa mu kkooti e Masaka.
Omukazi ono yaleeseewo akasattiro mu bitundu bya Masaka bwe yalangiridde enkomererong’agamba nti Yesu ne malayika Mikayiri bamutuulako ku mutwe ne balangirira obubaka.
Mu kkooti Kisaakye n’abamu ku bagoberezi be baasimbiddwa mu maaso g’akulira abalamuzi abato e Masaka Mw.Moses Mutazindwa Katorogo n’abaggulako omusango gw’okutuuza olukung’ana mu ngeri emennya amateeka.
Yavunaaniddwa ne bba Victor Lubega (42) nga yinginiya mu by’okuzimba wamu ne batoobe Dissan Michael Nyanzi (32) ne Joseph Joan Nabbanja n’abalala Jude Agon,Jude Mbaziira,Simon Peter,Paulo Mulodokayi,Ezekeeri Muwanguzi, n’abalala. Omulamuzi yakkirizza kitaawe okweyimirira muwalawe ,ku kakalu ka mitwalo 20 ez’obuliwo n’akakadde ka ssente ezitali za buliwo.Abasigadde n’abasindika mu kkomera okutuusa nga July 16. Naye oluvannyuma lwa Kibwetere lwaki abantu bakyakkiririza mu bantu nga bano?
Nnyina wa Kisaakye, Mary Nassali Nyanzi agamba:
Omwana oyo ava mu maka Makristaayo naye bwe yagenda e Kampala n’alokoka. Yasooka kweggyako mannya ge aga Betty Nassenge ne yeetuuma Blessing Kisaakye.
Ng’akyali mu ssomero, yafuna obulwadde ne tumutwalako mu basawo b’ekinansi naye olwamutuusaayo n’atandika okutyetyemuka n’okuzina nga bw’abasekerera. N’okusoma obusomesa e Naluzaali obulwadde bwamutawaanya nnyo n’atwalibwako e Mulago nga tewali kye balaba.
Twali tuli awo n’ava e Kampala gye yali asomesa n’atugamba nti, ‘Malayika yanneebikkulidde n’antegeeza nti ye Mikayiri eyanneekwata okuva mu buto eyannemesa okukolwako eby’ekinnansi. Yantwalako mu Ggulu ne mmalayo ennaku ssatu n’ankomyawo ku nsi.’
Omwana nange yanyigiza obulokole era tusaba ffenna. Waliwo abagamba nti okukung’aanira wano tubadde tutegeka kweyokya balimba. Malayika yatikka Kisaakye obubaka ategeeze abantu nti Mukama akooye ensi olw’ebikolobero ebigirimu, okusaddaaka abantu, obwamalaaya n’enkunamyo beenenye ayagala kugizingako.
Agamba nti malayika amuwa obubaka musajja muwanvu, ayambala byeru ate mukambwe ku ky’ayogera. Olulala atugamba nti akkirwako ne Yesu olwo abeera wa kisa era olumu bamutwala mu Ggulu ne bamuwa ebiragiro ebiggya n’aba ng’atakyali ku nsi.
Ate Elia Stella ne Elisa Joram abagoberezi bagamba: Twasabirako wamu mu kkanisa y’omusumba Manjeeri eya Bethel Healing Centre. Mukama waffe Kisaakye akkirwako abatukuvu bangi asooka ye Yesu, Mikayiri, Mwoyo Mutukuvu, Gabriel n’abalala abeera amuseeko ly’erinnya ly’ayitibwa.
Tumwawulira ku ngeri gy’aba ayogeramu. Bw’ayogeza amaanyi oyo abeera Mikayiri ate obukkakkamu abeera Yesu.
Yadde Kisaakye atutte baganda be abamu mu ddiini ye eno naye ate waliwo abooluganda be abamu abamuwakanya.
Robert Ssentamu agamba: Kisaakye, Dissan ne Joan baganda bange, bwe bajja okuzza obuggya ennyumba y’awaka twakisanyukira okuzimbira muzeeyi. Naye bwe baatandika enjiri nti ‘Enkomerero etuuse, mwetegeke, ffe tuloota ne tumulisibwa byonna ebigenda okubaawo’, twekengeramu. Bwe baatandika bye balimu twabeewuunya. Abaana abayivu okudda mu wolokoso. Kisaakye musomesa, Disan yinginiya ate Joan Nabbanja ali mu mwaka ogwokusatu e Makerere.”
Published on: Saturday, 3rd July, 2010