English translation
Pastor Makumbi suspended from Preaching the Gospel
Kajjansi
By Robert Mutebi
Bukedde, Friday, 21-May-2010
The head of Victory churches, Pastor Joseph Serwadda has suspended Pastor Patrick Makumbi from preaching the gospel because of shaming the church. Makumbi was the head of Kajjansi, victory church . Makumbi is accused of having sex with one his followers, an act that waters down the reputation of Pastor Sserwadda’s churches.
In a letter that was written to Pastor Ronald Mukiibi ,the person in charge of complaints against pastors in Victory churches, it is stated that Makumbi was suspended from his job by a resolution from a senior pastors meeting . The meeting resolved that Makumbi can not do the work of God before settling the problems in his marriage.
The letter that was written on May 10, 2010, a copy of which Bukedde got , states,’’ basing on the resolutions of senior pastors in our churches on your marriage, I have been directed to suspend you from the post of senior pastor ,Victory church Kajjansi. If you resolve your marital problems, we shall consider reinstating you to that position.’’
Pastor Patrick Makumbi separated with his wife Joan Makumbi whom he wedded in church after Joan Makumbi alleged to have caught her husband red handed having sex with one of his followers in church .
Pastor Patrick Makumbi said that Pastor Sserwadda is plotting to oust him from his(Makumbi’s) church which he founded. Pastor Makumbi resolved not to live the church.
‘’Pastor Sserwada is playing tricks. He wants to chase me away from my church so that he can take it over. He told me to write a resignation letter but I refused. I cannot abandon the work of God just like that’’. Makumbi said
Makumbi said that he has spent 20 years in Pastor Sserwadda’s church. He reiterates that he was supended from preaching from Victory, Ndeeba pulpit because pastor Makumbi was no longer respected by the flock at Victory church, Ndeeba. Mabumbi said that when he was suspended from Ndeeba, he started his church, but surprisingly Pastor Sserwadda wants to take it as well. He said that his major problem stems from using the name’’victory’’ but stood his ground that he was going to continue serving God.
However, Pastor Sserwadda said that it was not Makumbi who started the church at Kajjansi. He said that they have a disciplinary committee for pastors who have gone wrong.
Omusumba Makumbi bamuyimirizza okubuulira enjiri
Kajjansi
Bya Robert Mutebi
Bukedde, Lwakutaana, 21-May-2010
Omusumba Joseph Serwadda ow’amakanisa ga Victory ayimirizza omusumba Patrick Makumbi okubuulira enjiri nga mulanga kuwebuula Kkanisa.
Makumbi yabadde Omusumba we’ekkanisa ya victory church e kakkansi era alangibwa kwebaka mu n’omugoberezi we ekikolwa Sserwadda ky’agamba nti kyonoona erinnya ly’amakanisa ge.
Mu baaluwa eyawandiikiddwa omusumba Ronald Mukiibi akola ku nsonga z’Abasumba mu makanisa ga victory , yagambye nti okumuyimiriza ku mirimu kiddiridde olukiiko lw’abasumba abakulu okusalawo nti tasobola kugende mu maaso na mirimu gya katonda nga’alemeddwa okutereeza ensonga z’amaka ge.
Ebbaluwa e eyawandiikiddwa nga May 10, 2010 yabadde egamba nti , ‘’ nga tusinziira ku biteeso by’abasumba abakulu mu kkanisa zaffe ebyabadde bikwata ku bufumbo bwo n’amakaago, mpeeredwaa ekiragiro okukuyimiriza ku kifo ky’obusumba bw’ekkanisa ya kajjansi Victory church.
Bw’oriba otereezezza ensonga z’amaka go tulirowooza ku by’okukuzza mu kifo kino.’’Ebbaluwa Bukedde gye yafunyeko kkopi bwe’egamba.
Omusumba Makumbi Yayawukana ne Mukyala we Joan Makumbi gwe yawasa empeta oluvannyuma lw’omukyala okuvaayo n’amulumiriza nga bwe yali amukwatidde mu kkanisa nga yeerigomba n’omu kubagoberezi be. Wabula makumbi yagabye nti Omusumba Sserwadda ali ku magezi ga kumugoba mu kkanisa gye yeetandikira n’awera nga bw’atajja kugivaamu.
‘’Oyo Muzeeyi(Sserwadda) ali ku bukodyo bwe kungoba mukkanisa yange agyeddize kubanga yangamba muwandikiire ebbaluwa nga ndekulira ne ng’aana nga sisobola kuwa kumulimu gwa mukama bwetyo’’, Makumbi bweyategeezezza.
Yagabye nti amaze emyaka 20 ngali mukkanisa ya Sserwadda era nti yali yamugoba dda ku kituuti kye ng’amba nti abantu tebosobola kumuwuliliramu oluvanyuma lwomukazi okumulumiriza nga bwe yamukwatira mu bwenzi.
‘’Emyaka 20 gyemaze ngankola ne muzeeyi era nnina ebintu bingi bye mumanyiiko. Alina okugenda empola kubanga yatuka nokungoba ku kituuti ky’ekkanisa ye n’ensirika n’enkola ekkanisa eyange , kati alabye ewambye ate n’ajja okunumbayo ewatali nsonga yonna. Erinya victory lyelindetedde ebizibu naye njakusigala nkola omulimu gwa mukama,’’ bwe yagasseeko.
Wabula omusumba Sserwadda yagabye nti Makumbi ssi ye yatandika kkanisa eno era n’ategeeza nag bwe balina olukiiko olukangavvula n’okulungamya abasumba mumakkanisa gabwe ababeera balina ensobi ze bakoze.
MORE STORIES ON THE SAME
City Pastor Faces Divorce over Infidelity
http://allafrica.com/stories/200611150834.html
Jude Luggya
The Monitor, 16 November 2006
________________________________________
Kampala — A WIFE to a senior pastor in town has filed for divorce over infidelity.
Ms Joan Ndikirya Makumbi, wife to Pastor Patrick Makumbi of Victory Christian Church in Ndeeba, is accusing her husband of having extra-marital affairs, domestic violence and denying her sex since 2000.
Adultery - 100 Couples Seeking Divorce in Kampala
Lydia Mukisa
The Monitor, 8 April 2007
________________________________________
Kampala — Although it is written in the Bible that what God has put together no man shall put asunder, over 100 people within the Kampala magisterial area have moved to court seeking dissolution of their marriages.
Ms Joan Ndikirya Makumbi, wife to Pastor Patrick Makumbi, of Victory Christian Church in Ndeeba is among persons who filed a divorce petition at High Court Kampala family division.
Pasita Sserwadda alabudde Abasumba ‘Temuntiisatiisa’
Publication date: Sunday, 26th November, 2006
http://www.newvision.co.ug/D/58/60/534459
Bya Richard Kayiira
OMUSUMBA Joseph Serwadda alabudde Abasumba abamulwanyisa olw’okubikkirira omusumba eyakwatiddwa mu bwenzi okumuvaako.
Yagambye nti Abasumba bano abaakulemberwa Alex Mitala basaana okukomya okumulinnyirira, kubanga si be bakamaabe.
“Sijja kugendera ku biragiro by’abantu obuntu, Mukama y’annung’amya era y’amanyi gye ndaga. Abo si be balina okutulaga ekkubo” Serwadda eyabadde mu kusaba ku Ssande mu kkanisa ye eya Victory e Ndeeba bwe yagambye.
Yayongeddeko nti, ‘sikolera bantu oba kibiina, wabula nkola mirimu gya Yesu oyo eyantuma okubuulira enjiri ey’obulokozi’, olwo n’alyoka ayita Omusumba Brown eyavudde e Bungereza n’ajja ku katuuti okubuulira enjiri nga ye (Serwadda) bw’avvuunula mu Luganda.
Kino kiddiridde omu ku Basumba mu kkanisa ya Serwadda era nga y’atwala n’ettabi ly’ekkanisa ery’e Kajjansi Patrick Makumbi okukwatibwa mukaziwe yennyini Joan Ndikirya ng’ali mu ofiisi y’ekkanisa asinda omukwano n’omukazi omulala, kyokka Serwadda n’atabeerako ky’akolawo.
Abasumba abakulemberwa Alex Mitala baanenyezza Serwadda nti abikkirira abenzi kubanga abaziyiza okukangavvula Abasumba abatyoboola ekitiibwa ky’Ekkanisa.
Serwadda talina kye yayogedde ku by’obwenzi ebivunaanibwa Omusumba we omukulu mukaziwe Ndikirya gwe yatutte mu kkooti e Mmengo ng’ayagala bagattululwe.
Mu kusaba kuno okwabadde okw’ebbugumu, abagoberezi baasondeddemu 500,000/= egy’okuggulawo ettabi ly’ekkanisa ya Victory eddala e Manafa.
Yeemulugunya ku Sserwadda
http://www.newvision.co.ug/D/58/60/533333/Omusumba%20Patrick%20Makumbi
Monday, 20th November, 2006
Bya Richard Kayiira
MUKAZI w'Omusumba Maku-mbi alumirizza Omusumba Joseph Serwadda olw'okukwasisa bba ekisa ng'akwatiddwa mu bwenzi.
"We nnatuukidde okugenda mu kkooti nga nsisinkanye Omusumba Serwadda emirundi egiwerako ne muloopera empisa za Makumbi wabula mu nfunda zonna nga Sserwadda talina ky'asalawo," bwe yagambye.
Joan Ndikirya yakutte bba Omusumba Patrick Makumbi ng'ayendera mu ofiisi y'ekkanisa ya Serwadda eya Victory mu Ndeeba, kwe kusalawo okutwala omusango mu kkooti y'e Mengo ng'asaba ebagattulule.
Yayongeddeko nti Serwadda yabakwasa mukaziwe Frida agonjoole ensonga zaabwe wabula kino kyawa Makumbi enkizo kubanga omuntu gwe yali atya yali Serwadda yekka era okukkakkana nga Frida alemereddwa okubatabaganya.
Serwadda bwe yakubiddwa essimu yagambye nti ali mu lukung'aana lwa njiri e Mbale, bw’alidda alibitunulamu.
Makumbi nga y'amyuka Se-rwadda era nga y'akulira etta-bi ly'ekkanisa ery'e Kajjansi yagambye ku ssimu nti; "Ensonga zange nja kuzanjulira kkooti y'eneesalawo."
Omusumba Sserwadda olimba Friday, 15th December, 2006
http://www.newvision.co.ug/D/58/67/538010/Omusumba%20Patrick%20Makumbi
Nnenya Omusumba Sserwadda ow’ekkanisa ya Victory Church mu Ndeeba.
Omusumba ono azze avumirira emize gy’ekko egiri mu basumba banne. Ku bya Kiganda nkujjukira wali ku ttivvi ya UBC n’omunenya okwanika obwenzi bwa mukyala we mu mawulire. Wagamba nti wamuyita omutuuze omubuulirire ne yeerema.
Ku mulundi guno eky’obwenzi kyagudde mu kkanisa yo, muk’Omusumba Patrick Makumbi bwe yamukutte ng’ayendera mu ofiisi.
Basumba banno bwe baakunenyezzaako wabaanukudde na bukambwe nti tebakwepankako. Naye olowooza wano totitiibizza Makumbi alekeredde ebya Katonda n’adda ku bya sitaani? Jjukira enjiri gye wateeka ku mukutu gwo ogwa yintaneeti ogwa www.victoryuganda.com
Francis Kagolo Mulokole
Makerere University
Omusumba Makumbi aleppuka lwa bwenzi
http://www.newvision.co.ug/D/58/60/537918/Omusumba%20Patrick%20Makumbi
Thursday, 14th December, 2006
Bya Richard Kayiira
Omusumba Patrick Makumbi mukazi we gw'alumiriza nti yamukwata lubona ng'asinda omukwano n'omukazi omulala eggulo yatwaliddwa mu kkooti atandike okuwerennemba n'emisango egimuvunaanibwa.
Makumbi omuyambi w'Omusumba Joseph Serwadda mu Kkanisa ya Victory e Ndeeba era nga y'akulira n'ettabi ly'Ekkanisa ery'e Kajjansi yawawaabirwa mukazi we Joan Ndikirya ng'amulumiriza okumukwata n'omukazi omulala mu ofiisi y'Ekkanisa mu Ndeeba. Omukazi asaba kkooti ebagattulule.
Ndikirya yategeeza kkooti nti Makumbi yaleetanga n'abakazi abalala mu maka gaabwe agali e Kyamula ku lw'e Salaama n'abaganzika mu kayumba mwe baalundiranga enkoko.
Yamuggulako n'emisango emirala omuli ogw'okugezaako okumutta enfunda bbiri, n'okwonoona ebintu bye omuli engoye, essaawa n'ensawo ze.
Eggulo Omusumba Makumbi yazze mu kkooti okutandika okuwoza emisango egimuvunaanibwa.
Yazze awerekeddwako abayambi be 3 ne looya we eyavudde mu Bemanyisa Adomijoh Advocate.
Looya wa Makumbi yasabye kkooti ereme kuwulira musango guno ng’agamba nti terina buyinza buwulira musango guno kuba omuwaabi n'omuwawaabirwa tebasula wadde okukolera mu kitundu ekitwalibwa kkooti eno.
Wabula Looya wa Ndikirya yamuwakanyizza n'agamba nti olw'okuba abafumbo bano baagattibwa mu Kkanisa y'e Ndeeba eri mu kitundu ekitwalibwa kkooti y'e Mmengo, erina olu-kusa oluwulira omusango guno.
Omulamuzi Jolly Nkore eyawulidde omusango guno yawadde olwa January 7, 2007 okusalawo oba kkooti eno eneewulira omusango oguvunaanibwa Makumbi, oba okugugoba.
Omusumba Makumbi nkumaze lwa bwenzi
http://www.newvision.co.ug/D/58/60/535419/Omusumba%20Patrick%20Makumbi
Friday, 1st December, 2006
Bya Richard Kayiira
Omusumba Patrick Makumbi avunaanibwa mukazi we ng’ayagala bagattululwe olw’obwenzi asabye kkooti emwongereyo akaseera. Kati ajja kuwoza nga December 18.
Makumbi amyuka Omusumba Joseph Sserwadda owa Victory Church mu Ndeeba yawawaabirwa mukazi we Joan Ndikirya (waggulu) amulumiriza nti yamukwata lubona ng'asinda omukwano n'omuwala mu ofiisi ewa Sserwadda.
Ekyo okubaawo, Ndikirya alumiriza nti yali akutte bba enfunda eziwera mu bwenzi era ensonga n’azitwala ewa Sserwadda n’abasumba abalala kyokka ne bazivuvuba. Kwe kusalawo okugenda mu kkooti baawukane.
Ku Lwokusatu omusango lwe gwabadde gutandika, Ndikirya yatuuse mu kkooti e Mengo ku ssaawa 8 ez’olweggulo. N’agamba:Obwenzi bwa Makumbi tebukyagumiikirizika. Twawukane.
Kyokka Makumbi yasindise balooya Edward Akankwasa ne Benjamin Adon abaawaddeyo okwemulugunya nti ebbaluwa eyita omuntu waabwe baagifunye kikeerezi.
Omulamuzi kwe kwongezaayo okuwulira omusango nga December 18.
Oluvannyuma lw'okwongerayo omusango, Ndikirya yagambye :
Wadde tazze nze sifuddeeyo. Ne bwe buliba ddi tujja kugasimbagana mmulumirize.
Makumbi avunaanibwa n'emisango emirala okuli okutulugunya n’okugezaako okutta mukaziwe.
"Yajja olumu n'ansanga nga nneebase, n'akwata akatto n'akateeka ku mimwa ng'agezaako okunnemesa okussa nfe ekiziiyiro. Kyokka nnamulwanyisa ne ne mwetakkuluzaako." Ndikirya bw'agamba mu mpaaba ye.
Omusumba bamukutte mu bwenzi
http://www.bukeddekussande.co.ug/detail.php?mainNewsCategoryId=3&newsCategoryId=169&newsId=532945
Omusumba bamukutte mu bwenzi
Joan Makumbi ne Patrick Makumbi
Bya Richard Kayiira
ABALOKOLE babadde bakyali ku muka Pasita Kiganda okumukwatira mu bwenzi ate omusumba omukulu mu kkanisa ya Joseph sserwadda mu ndeeba naye ne bamukwata ng’asinda omukwano n’omuwala mu ofiisi.
Omusumba Patrick Makumbi yakwatiddwa mukyala we yennyini Joan Ndikirya Makumbi era atutte omusango mu kkooti ebagattulule. Omusango guwulirwa November 30 mu kkooti e Mengo.
Makumbi y’amyuka Omusumba Sserwadda owa Victory Christian Church mu Ndeeba era y’akulira ettabi ly’ekkanisa eyo e Kajjansi. Aweereza pulogulaamu ‘Omwana w’omwami ku leediyo Impact.
Ndikirya ayimba ennyimba z’eddiini okuli Mukama nkwesiga; Erinnya lyo ddungi agamba nti bba mujoozi nnyo era by’amutuusizzaako okuva mu l994 lwe baafumbiriganwa bimumutamizza.
Okumukwata n’omuwala mu ofiisi, agamba yagenzeeyo mu ttuntu gye buvuddeko n’asanga ng’oluggi luggale. “ Nnabadde sinnakonkona kwe kuwulira amaloboozi agasiiyiriza ag’abantu abasinda omukwano”, bwe yategeezezza.
Ndikirya akolera ku Family Radio e Luzira, agamba guno si gwe gusoose bba aludde ng’akola ebintu bingi era wadde Musumba kyokka okukuba mukazi we (Ndikirya) takirinaamu lusozi. “Ankuba mu lujjudde era anneegezezzaamu okuntuga enfunda eziwerako”, bw’annyonnyola.
Okumumanya bw’ali omwenzi, kyaliwo mu December 2004, omukwano bwe gwatemba Makumbi n’akomawo awaka mu maka gaabwe e Salaama n’omukazi anyirira ng’ekinya.
Nnamubuuza nti mwami oyo tumuyita tutya? Ko omusumba:ndeese mukozi kulabirira nkoko zange. Ekyatabula Ndikirya ye Makumbi okusalawo okugenda okusula n’omukazi ono ng’agamba nti yali atya okusula yekka mu nnyumba y’abakozi (boy’s quarters).
Ndikirya okugenda mu kkooti mu kifo ky’okutuukirira abasumba okubatabaganya ne bba, agamba nti ebikolobero bya Makumbi tewali atabimanyi. Enfunda nnyingi atuukiridde Sserwadda kyokka tamuyambye. Okuggyako Muka Sserwadda, abasumba bonna tebafaayo kunenya Makumbi. Ndikirya kwe kusalawo agende mu kkooti ebagattulule.
Published on: Saturday, 18th November, 2006
‘Katonda ampadde okwolesebwa ku federo’
http://www.sundayvision.co.ug/detail.php?mainNewsCategoryId=7&newsCategoryId=10&newsId=660753
‘Katonda ampadde okwolesebwa ku federo’
Abantu nga bava okutwala ekiwandiiko ekisaba federo mu Palamenti mu 2003.
MOSES Ssekyanzi omubuulizi mu kkanisa ya Victory Church mu Ndeeba ekulemberwa Omusumba Joseph Sserwadda awadde obujulizi nga bwe yalabikiddwa n’atikkibwa obubaka bwa Federo abutwalire Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II. MEDDIE MUSISI gwe yannyonnyodde byonna:
Nakula ne jjajjange Erivania Norah omukazi eyali omulokole era nange ne nkula nga ndi mulokole. Twasabiranga mu kkanisa ya Pentecostal e Nkokonjeru gye nava okwegatta ku Victory Church.
Mu Victory, nasooka kukola ng’omuweereza kyokka oluvannyuma Omusumba Serwadda n’ampa omulimu gw’okumuvuga ate gye yanzigya n’anfuula alabirira ebyobugagga bwe.
2007 ng’atandika, Mukama yandabikira mu kirooto n’ang’amba nve ku mulimu gw’okulabirira ebintu by’omusumba kubanga yali agenda kuntuma eri omuntu oweekitiibwa ennyo mu Buganda.
Omulimu nagulekulira omusumba taliiwo, era bwe yadda ne yeewuunya. Omusumba bwe yanneesibako nziremu okumukolera, nakkiriza ne nzirayo kyokka era ne nziramu okufuna ekirooto kye kimu.
Ku luno naguviirako ddala kyokka ne nsigala nga mpeereza mu kkanisa mu bifo ebirala.
Ku ntandikwa ya 2008, Katonda yayogera nange mu kirooto. Nawulira eddoboozi ery’omwanguka nga ling’amba nti, ‘Nawulira okusaba kw’abantu bange nga bansaba Federo, era mbaanukula nga mbategeeza nti ngibawadde era ngitisse ggwe ogitwale eri mukama waabwe’(Kabaka).
Natya nnyo oluvannyuma lw’okufuna obubaka obwo ne mmala omwezi mulamba nga nsaba ekiro n’emisana. Mukama yandagira okugenda mu ddungu e Sudan mmaleyo emyezi essatu.
Nakomawo wano ne ng’enda e Mmengo mu ofiisi ya Katikkiro ankolere entegeka nsobole okusisinkana Ssaabasajja mmukwase Federo nga Mukama bwe yantuma.
Omuwandiisi wa Katikkiro gwe nasooka okulaba yampa amagezi ng’ende mu ofiisi ekola ku nsonga za Ssaabasajja era ne nkola bwentyo. Bang’amba nsooke mpandiike ebbaluwa nga mpita mu muwandiisi wa Kabaka ow’ekyama era ne bansaba nnamba ya ssimu yange nti balimpita naye n’okutuusa ku ssaawa eno sifunanga kuddibwamu.
Mukama yankuutira Federo obutagikwasa muntu mulala yenna okuggyako Ssaabasajja era sisuubira kufuna mirembe nga sinnamusisinkana.
Nsaba Ssaabasajja akkirize mmusisinkane mukwase obubaka bwe kubanga bummennya.