Sunday, 24 January 2010

City pastor quizzed over rape

FIRST SEE:

http://watchmanafrica.blogspot.com/2008/05/pastor-muwanguzi-says-he-was-born-with.html


City pastor quizzed over rape

http://www.newvision.co.ug/D/8/13/706513

Friday, 8th January, 2010

By Herbert Ssempogo

THE police are investigating a city Pastor, William Muwanguzi over allegations of raping an 18-year-old student.

Muwanguzi of Holy Fire Ministries based in Mengo, a Kampala suburb on Thursday spent over eight hours at the Criminal Investigation Directorate at Kibuli.

Dressed in maroon traditional garb, Muwanguzi arrived at Kibuli in a black car and proceeded to the general crimes section.

There, a female detective interrogated him before he recorded a statement. He had no lawyer. Saturday Vision could not ascertain what he told the police.

It later emerged that Muwanguzi recorded a charge and caution statement but declined to comment about the allegations.

The Pastor will undergo medical tests to ascertain his HIV sero-status. The tests are mandatory for all people accused of sexual offences.

According to sources, the girl narrated her ordeal to another Pastor, who reported the matter to a minister. Subsequently, The New Vision learnt, the minister had ordered for a probe.

In an interview, the teenager, an orphan, alleged that she met Muwanguzi at his church in May where she had gone for financial help. “I had heard him over the radio saying that he could assist to people with financial difficulty,” the girl said, adding that Muwanguzi asked her to meet him ong Kabakanjagala Road in Mengo.

He allegedly drove her to a secluded place near Sseguku in Kampala, where he raped her.

In May 2008, Muwanguzi was arrested at the US embassy over allegations of stealing a vehicle. The car, a Toyota Land Cruiser, belonged to a businessperson in Masaka. It was later recovered from the DRC. Muwanguzi said his wife, a Congolese had traveled in it.

William Muwanguzi - Nabbi wa Mukama oba mufere wa ddiini?

Wednesday, 13 January 2010 08:44

Omusumba William Muwanguzi taggwa mu misango! Oyinza okulowooza nti kisiraani kyagyo kye kimulondoola.
Ennaku zino omuwala amulumiriza olw’okumusobyako ng’agenze okumusabira ekyawalirizza minisita wa gavumenti ez’ebitundu Matia Kasaija okulagira Poliisi emukwate mangu avunaanibwe.

Muwanguzi y’akulira ekkanisa ya Holy Fire Ministries International e Mengo. Olwatuuka e Mengo n’akyusa amannya n’ebitiibwa, kati yeetuuma Faaza Lwazi!

Okutandika obuweereza
Amannya ge amatuufu ye William Muwanguzi, agamba nti azaalibwa Buwama mu disitulikiti y’e Mpigi. Wabula abamumanyi bagamba nti bamuzaala Kigungu okumpi ne Ntebe.

Muwanguzi yang’ambye nti eyo alinayo bajjajjaabe era atera okubakyalira wadde taboogera mannya. Abamu bagamba nti bajjajjaabe abo tebasamidde baweneenya mbwa wadde bino Muwanguzi abyegaana.

Muwanguzi agamba nti amaze emyaka 16 mu buweereza. Wabula abamumanyi obulungi bamuwaako obujulizi nti yatandika jjuuzi wano mu 2005 n’ayitimuka mu 2006 mu kifo kye e Namulanda ku luguudo lw’e Ntebe.
Ebiseera eby’emabega yali muvubi ne batabuka ne bavubi banne n’abivaamu!

Okubuulira enjiri, okulagula n’okuwa obujulizi ku laadiyo ezitali zimu kwe kwafuula Muwanguzi ky’ali kati oluvanyuma lw’omu ku bamugoberera okukuba essimu ku laadiyo emu n’amulagula.

“Genda mu kisenge kyo waliyo omusajja omu alina omusota mu nsuwa gw’ataddeyo, bw’ogusangayo kuba essimu ojja kuba owonyezeddwa!”, Omu ku be yagendanga nabo ku laadiyo bw’alambika ebyaliwo ku lunaku Muwanguzi lw’atandika okufuuka ow’ettutumu.

Omu ku banne bwe baakolanga emirimu agamba nti Muwanguzi bwe yalagula omusajja ono n’awa enkeera obujulizi ku laadiyo abantu bangi beesomba ne bagenda e Namulanda okulaba ‘Omusumba’ alagula ebiriyo, sso nga n’ekyo kyali kipange!

“Luno olunaku ye yali entandikwa y’ettutumu lya Muwanguzi kubanga abantu beesomba ne bayiika e Namulanda n’ekkanisa ne tusalawo okugigaziya,” bw’annyonnyola.

Muwanguzi yakalambidde, “Omusajja bye nnamulagula byaliyo!”

Ebirabo, ebiweebwayo, obweyamo ssaako ssente z’okuzimba ekkanisa byonna byeyongerera ddala anti Muwanguzi yatandika okufuna ensimbi ng’ayoolera mu bisero. Okumanya yaziyoola mu bbanga ttono nnyo olwalaba nti buli kye yali ayagala kiwedde n’agula mmotoka ey’ekika kya Hammer kwe yassa ennamba ezisoma nti ‘Kiwedde’.

Empeereza ye
Nga buli kimu ‘Kiwedde’, muwanguzi yakyusa ebitiibwa ne yeeyita Nabbi era yakyusa n’empeereza mu kkanisa ye olwo ng’okumulaba osiitaana.

Enkola eno na buli kati ekyaliwo. Okugeza okumulaba olina kusooka kwewandiisa ne bakuwa ebbaasa gy’olina okussaamu 20,000/- era ziwandiikiddwa ku bbaasa kungulu.

Okuyingira offiisi olina kuggyamu ngatto n’olinda okumulaba era etteeka terikukkiriza kuvaawo nga tomulabye kasita oyingira ekkanisa ye.

Bangi bamumanyidde Namulanda anti abantu bettanira nnyo okusaba kw’ewuwe okwa Ssande kuba olwo yateranga okuleeta abayimbi ab’enjawulo ne bakooka.

Ebya Muwanguzi bya mpuna. Ye akulembeza Katonda naye abayimbi abaayimbanga mu kusaba kwe baakulembezanga kimansulo na nnyimba za nsi. Bobi Wine, Bebe Cool, Catherine Kusaasira be bamu ku bayimbi be yakozesanga ennyo okuyimbira endiga ku Ssande.

Omutume Michael Obina anoonyerezza ku nkola ya Muwanguzi agamba nti ye Musumba akulembeza ssente okusinga ebirala era ebimu ku by’azudde nti abagoberezi be bangi abaamugobereranga baatuuka okuvaayo nga bakaaba ttwaawa nga ntulege!

Emisango egimuroopeddwako
lMu 2008 Muwanguzi yawaabirwa okubulankanya mmotoka ya mukwano gwe ey’ekika kya Land Cruiser.
lPoliisi yamulangirirako mu bantu be yetaaga oluvanyuma lw’okubula ng’aliko emisango gy’azizza. Oluvanyuma baamukwatira ku kitebe ky’Amerika ng’agenze kusaba Viza.

lPoliisi yamukunyaako olw’okubeera n’ebyambalo by’amagye n’abaserikale abamukuuma ab’amagye. Oluvanyuma kyazuulwa nti byali bimuweereddwa bakungu kuva mu magye.

lOmusuubuzi omu e Nakasero yamuwaabira ku Poliisi oluvannyuma lw’okumuwa emitayimbwa gya bukadde 75 n’agaana okusasula.

lYasalako omuvubuka omu Kawooya enviiri n’enjala oluvannyuma lw’okumutiisatiisa okumutwala ku Poliisi. Oluvannyuma Kawooya omusango yagutwala ku Poliisi e Kajjansi.

Ebyewuunyisa ku Muwanguzi
lMu bbanga lya myaka esatu gyokka, Muwanguzi yaakeetuuma amannya agasoba mu ataano. Yasooka kweyita Musumba Muwanguzi, Mutume wa Katonda, Nabbi, Kabona , kati yeeyita Faaza Lwazi.

lErinnya Faaza Lwazi , Muwanguzi aliwaako ebyamagero nti yaliggya ku ngeri gy’alabiriramu abantu be nga taata, kwe kweyita Faaza ky’aggya mu kigambo ky’Olungereza ‘Father’. Olwazi akiggya mu byawandiikibwa Petero nti ‘Ndizimba ekkanisa yange ku lwazi ……..”.

lAkozesa abakozi Abasiramu bangi mu kkanisa ye.

lMu kasenge gy’asisinkanira abantu be okubasabira ebifaananyi ebisingayo bya ntalo.
lBwe yava mu kaduukulu ka Poliisi yatuukira mu kwanjula mukyala we Omucongo Athina Muwanguzi n’okukuba embaga ng’akuumibwa baserikale. Omusumba Kayiwa ye yabagatta. Agamba nti bakyali bonna era alina abaana babiri mu kiseera kino.

lMu kusaba okwabeeranga mu kkanisa ye yagulanga abayimbi ne bayimbira abantu abazze okusaba era nga bayimba nnyimba za nsi sso si za Katonda.

lTeyafaayo kuwasa mukazi alina baana balala kyokka ebyenfuna byabatabula omukazi n’atuuka n’okumuwaabira nga bwe yamubbye obukadde 300. Wabula kino Muwanguzi akyegaana.

lYasinga mmotoka ye eya Kiwedde ku bukadde 50 n’emulema okuggyayo.

lEngeri gy’afunamu amaanyi etankanibwa,yasiibula abagoberezi be nti agenze Yisirayiri era bwe yavaayo ku kisaawe ky’ennyonyi e Ntebe abantu beeyala ku ttaka n’atambula ng’abalinnyako .

lEbyuma bye yabiguza omuyimbi Geofrey Lutaaya kwe yassa okuguza aba A.y ebintu ebirala bye yakozesanga mu kkanisa ye e Namulanda.

lOkuva e Namulanda, yatunda ettaka ly’ekkanisa ye n’ebyuma ng’abagoberezi be tabategeezezza. Abagoberezi be abasinga eyali munywanyi we Eriya Katende ye yabatwala eyakola ekkanisa endala e Namulanda.
Omusumba Joseph Sserwadda agamba nti Muwanguzi si Mulokole era engeri ye yonna gy’akolamu ebintu bye si ya kirokole. Agamba nti ebikolobero byonna Muwanguzi by’akola Gavumenti y’evunaanyizibwako.


Lwaki abasumba abamu balekeddwa okuyimusa enjiri y’amaanyi g’ekibi!Lwaki abasumba abamu balekeddwa okuyimusa enjiri y’amaanyi g’ekibi!

Wednesday, 13 January 2010 09:23

http://66.102.9.132/search?q=cache:-RRlspkYwtUJ:www.bukedde.co.ug/index.php%3Foption%3Dcom_content%26view%3Darticle%26id%3D17568:lwaki-abasumba-abamu-balekeddwa-okuyimusa-enjiri-yamaanyi-gekibilwaki-abasumba-abamu-balekeddwa-okuyimusa-enjiri-yamaanyi-gekibi%26catid%3D72:ddwaddwadwa%26Itemid%3D452+Omusumba+William+Muwanguzi&cd=2&hl=en&ct=clnk&gl=ug

ABAMU ku basumba b’ekkanisa z’abalokole bakyagenda mu maaso n’okukola ebikolobero! Omusumba William Muwanguzi kati aleebuukana na gwa kulya bitali biramule bwe yakkakkana ku kawala k’essomero akatanneetuuka n’akawalaawala n’akayingiza mu loogi n’akatuusa mu mbuga ya sitaani n’akazinnyisa disiko ku mudumu gw’emmundu.

Ekyewuunyisa omusumba oyo poliisi yabadde emuyimbudde omusango gwe yazza gubuulirizibwe ye ng’alya butaala.

Kirabika poliisi eby’okubuuliriza ku misango ebifudde kakodyo ak’okuliiramu enguzi n’okuginya abakozi b’ebikolobero.

Kale omusumba alekeredde okusumba abantu ate n’adda mu kuvaabira ebisobooza by’obuwala obutanneetuuka kaakati oyo abuulirizibwako biki okuggyako okukuumirwa mu kaduukulu?

Akawala kalumiriza omusumba Muwanguzi nti kaamusaba kukasabira kafune sikuulu fiizi ezikakuumira mu ssomero kyokka n’akasumba nga bwe yeesasula fiizi ez’okukalyako ebisobooza byako ku kifuba!

Sso nno ng’era si gwe mulundi ogusoose okuwulira omusumba Muwanguzi ne banne abamufaanana nga bakola ebikolobero eby’engeri eno ku ndiga ze basumba. Obusumba babweyambisa kuliirako bitali biramule n’okwegaggawaza nga balyakula abantu ababalaba nga beewejjeese mu maliba g’endiga kyokka bambi nga tebamanyi nti gyo misege gyennyini egyekwese mu Bayibuli gikole ebikolobero .

Minisita wa gavumenti ow’ensonga ez’omunda Matia Kasaijja yalagidde poliisi eddemu ekwate Muwanguzi emuggalire mu kaduukulu mw’aba abeera ng’omusango gwe gubuulirizibwako. Ekiragiro kya Kasaijja bwe kiba nga tekyesigamiziddwa ku mateeka agaliwo, naye ky’ekiseera okussaawo amateeka nga ago aganyweza bamuwanguzi nga bakoze ebikolobero sso si kubayimbula ne bayinaayina.

N’ekkanisa z’abalokole zaamala okutongozebwa. Kati n’abakulembeze b’ekibiina ekizigatta era ekizifuga bateekewo amateeka mwe bakangavvulira bamuwanguzi abaluvu oba n’okubeggyirako ddala nga bagobebwa mu bulokole bwe beekweseemu batuukirize ebikolwa bya sitaani.

N’Abalokole bajja kutuuka okudwadwalikana abaddu ba sitaani bwe banaalekebwa okwekweka mu bulokole bakole ebikolobero eby’okuvumaganyisa ekkanisa z’Abalokole.

Newankubadde amaanyi galiteereddwa ku kulwanyisa kibi eky’obwenzi obubwebwena obuwala obutanneetuuka, naye olw’okuba kati abakola ekibi ekyo be bantu abasoose okwefuula abasumba b’ekkanisa oba be baba basooka okulwanyisibwa obusumba bw’ekkanisa buleme kufuulibwa kiddukiro kya bakozi ba bikolobero.

Era awo Ddwaddwaddwa Mumansa we nsinziira okubuuza abasumba abatanaliibwa nnamuginga nti mukolaki okusitukiramu okulwanyisa sitaani ajjidde mu bamuwanguzi ng’ajjiridde okuyimusa n’okugulumiza amaanyi g’ekibi?