Wednesday 25 March 2015

Illuminati claims to have killed Ugandan Singer AK 47 because he became a born again Christian



Comment

The so called Illuminati claim, that they killed AK 47 because he became a born again Christian is simply ridiculous. This is a lie from satan. This young man was never born again. He was a worshiper of satan and mocker of salvation. You can not be born again and remain in the catholic satanic system . His Confused ‘gospel’ song is proof that he was not born again and did not have a clue about salvation. In this song AK 47 insinuates that every body is saved, including his catholic brothers chameleon and Pallaso. This is utter confusion.

AK 47 was anointed by the devil to sing

It is so amazing that Uganda and its neighborhood shook at the death of a 25 year old AK 47. The death of this boy captured headlines for days. This fame does not come without spiritual power attached. AK 47’s song titled, champion  touched the hearts of Ugandans even when they do not understand the message being communicated in that song (https://www.youtube.com/watch?v=tHZVATznlcI ) . Other songs such as Kidandali(https://www.youtube.com/watch?v=gS44l6Y-uok ) are anointed by the devil to spread sexual promiscuity and rebellion among the teens and youth.


Does the Devil have power to kill anybody without the will of God?

The devil has no power to kill anybody  if it is not the will of God. Unless God willed AK 47 death, the devil has no power whatsoever to kill AK 47. If the devil had the power to kill anybody he wished, he would have killed all born again Christians. When the so called ‘illuminati’’ claim to have killed AK 47, they are claiming power they do not have.

MUST READ:

Saved Catholic !!! Ugandan Catholic musician AK 47 dies in bar: Shortly before his death, he released a song where he claims that he is saved as well as his catholic brothers Chameleon and Pallaso: Drugs suspected in AK47’s death, police rule out murder

Akabinja akatwala abayimbi mu nnyanja keewaanye okutta AK47
kampala | Mar 23, 2015

Omugenzi AK47 ekifaananyi kye yassa ku mukutu gwe ng’alangirira nga bw’alokose.Bya JOSEPH MAKUMBI NE VALLY MUGWANYA
EBY’OKUFA kw’omuyimbi AK47, byongedde okubobbya aba poliisi emitwe akabinja akoogerwako nti ke katwala abayimbi mu nnyanja bwe kavuddeyo ne keewaana nga bwe kali emabega w’okutta omuyimbi ono.
Mu bubaka ab’akabinja kano akeeyita “Illuminati” bwe basaasaanyizza ku mikutu gya Facebook ne Twitter baategeezezza nti AK 47 abadde Mmemba wa kibiina kyabwe okumala ebbanga era baamussaako n’obubonero ku mubiri gwe obulaga nti mmemba waabwe omujjuvu.
Bongerako nti bazze bamuyamba nnyo okukuba ennyimba ezookya omuli olwa “Champion” ne mu “Kidandali” kyokka ekyabaggye mu mbeera, ye muyimbi ono okulangirira nga bw’alokose n’abissa ne ku mikutu gye egya Facebook, ensi yonna ebimanye.
Mu bubaka bw’abakabinja kano baategeezezza nti baludde nga balabula AK 47 okutuukiriza obukwakkulizo bwe baamuteekako nga bamuwa ‘amaanyi’ agazze gakuba ennyimba ne zikwatayo, wabula ne yeerema.
Nti bwe baalabye ku bifaananyi bye yatadde ku mikutu gya Facebook nga yeewaana nga bw’alokose baabadde tebalina kirala kye bayinza kumukolera okuggyako okukola kye baayise “okumubonereza”.
Tebannyonnyola ngeri gye basse; oba be baatumye kanyama eyalondodde AK 47 mu kiro kya Mmande n’amuttira mu kiyigo ky’ebbaala ya Dejavu oba okumutugisa amaanyi gaabwe ge boogerako nti gatambulira mu bbanga.
Ku mikutu kwe baasindikidde obubaka buno teboogera mannya gaabwe wabula beeyogerako nga “Angel of Death” ekitegeeza “Malayika y’Olumbe.” Beeyogerako ng’ab’ettabi lya Illuminati ery’omu mawanga g’Obuvanjuba bwa Afrika (East Africa) eriwa ‘Bassereebu’ amaanyi okutuukiriza ebirooto byabwe, kyokka babaweerako obukwakkulizo bwe balina okugondera.
Mikwano gya AK 47 n’aba famire baasambazze ebigambibwa nti omuyimbi ono abadde alina akakwate n’akabinja akasinza emizimu.
Roger Mugisha eyayitibwanga “DJ Shadow” owa Shadow Angels y’omu ku Bannayuganda eyavaayo n’awa obujulizi ku ngeri gye yakolaganangamu n’akabinja k’abasinza emizimu ne kamuwa ettutumu kyokka n’addukayo ng’obukwakkulizo bwe bamutaddeko bwa musaayi!
Nti yasimattukira watono okufa ng’adduseeyo, era essaala z’Abasumba ab’amaanyi nti ze zaamuwonya.
POLIISI EBIYINGIDDEMU
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga, ategeezezza nti, batandise okugoberera obubaka buno okuzuula obutuufu obubulimu.
Yagambye nti bagenda kukozesa tekinologiya okuzuula abasindika obubaka we basinziira, ebituufu ebibakwatako n’ebigendererwa byabwe. Nti bagenda kwogerako n’ababadde ku lusegere lwa AK 47 bazuule oba abadde alina ebibinja by’abantu abatategeerekeka b’abadde akolagana nabo.
Kyokka Enanga yagasseeko nti kisoboka okuba ng’abasaasaanya obubaka buno bagezaako kuwuddiisa poliisi bagiggye ku mulamwa gw’enfa ya AK 47 entuufu nti era kino nakyo bambega bakirowoozaako.
JEFF, SHEEBA NE DIAMOND OSCAR BEEYANJUDDE KU POLIISI
Poliisi eyongedde okunoonya obujulizi bw’eyise Jeff Kiwanuka Maneja wa Team No Sleep, Sheeba Karungi ne Diamond Oscar era baakoze siteetimenti eggulo ku poliisi e Kabalagala ku ngeri AK47 gye yafuddemu.
Omwogezi wa poliisi, Fred Enanga yategeezezza nti, baafunye amawulire okuva mu bamu ku bantu abaasemba okuba ne AK47 ku lunaku lwe yafa nti yanywa enjaga okuva ku ssaawa 9:00 ez’olweggulo kyokka nga talya ekiteeberezebwa nti nakyo kyakosa obulamu bwe.
Yagambye nti bakyanoonya ebirala ku ngeri kompyuta ey’ekika kya “Laptop” eya AK 47 gye yabuziddwaawo n’ebigendererwa by’abaagibuzizzaawo.
CHAMELEONE ATEGEKA  KUSISINKANA KAYIHURA:
Dr. Jose Chameleone y’akulembedde aba famire okusisinkana omuduumizi wa poliisi mu ggwanga Gen. Kale Kayihura boogere ku by’enfa ya mutoowe, AK 47 n’okunoonyereza we kutuuse.
Aba famire ya Gerald Mayanja taata w’abayimbi bano yategeezezza nti ensisinkano eno bagisuubira leero ne bagattako nti balina bwino ow’omunda ku by’okufa kw’omwana waabwe gwe baagala okuwa Kayihura obutereevu.
EBIKWATA KU ILLUMINATI

1  “ Illuminati” , kigambo kya Lulattini ekitegeeza  “Abamanyi bokka”.  

2  Bammemba b’ekibinja  kino beeyita, “The Illuminati” ekibinja  ky’abantu  abekkiririzaamu nti  balina okumanya okusinga abantu abalala bonna ku nsi.

3  Ekibinja kino kyatandikibwawo omusajja Adam Weishaupt nga  May 1, 1776, ekigendererwa kye kwe kulwanyisa eddiini zinnansangwa ze baayogerako ng’ez’obulimba.

4   Ba ‘Illuminati’ balina amatabi mu mawanga ag’enjawulo kyokka bikuumibwa nga bya kyama. Mu Afrika bamanyiddwa nnyo ng’abatwala abantu mu nnyanja okufuna obugagga, ettutumu, amaanyi n’emikisa.

5  Aba Illuminati be bali emabega w’enteekateeka  eyitibwa ‘New World Order’ egamba nti waliwo ekibinja ky’abantu ababalirwa ku ngalo abafuga ensi eno  kyokka nga tebamanyiddwa era nga tebalina kifo kyonna kye balimu mu gavumenti yonna, kyokka nga kye baagala ky’ekikolebwa.

6  Aba Illuminati  basimbye amakanda mu  bayimbi n’abantu abali mu bizinensi ey’okusanyusa abantu  abaakazibwako “Bassereebu”. Omuzannyi wa firimu Angelina Jolie y’omu ku boogerwako nga Mmemba asinga amaanyi kati.

7  Abalala ababadde Bammemba kuliko Micheal Jackson, Whitney Houston, Tupac Shakur, Bob Merley n’abalala.
8  Amaanyi gaabwe agasinga gali mu Amerika ne Asia.

9   Kiwanuuzibwa nti ab’ekibinja kino baali emabega w’obulumbaganyi obwakolebwa ku Amerika nga September 11,

Basereebu boogedde ku kabinja ka ‘Illuminati': ‘Gye bali era bali mu ffe’
 Mar 25, 2015

Roger Mugisha 
Oluvannyuma lw’abakabiina ka ‘Illuminati’ okwewaana okubeera emabega w’okufa kw’omuyimbi AK47 twogedde n’abamu ku basereebu (omuli n’abayimbi) ne batuwa endowooza zaabwe ku kibiina kino.
Abamu bakkiriza nti kituufu gye kiri ate abalala babiyise bya bulimba.
Roger Mugisha
Wadde sikkiriza nti be bali emabega w’okufa kwa AK47, enzikiriza ya ‘Illuminati’ kituufu gy’eri era erimu ebika eby’enjawulo okugeza abafuusa, ab’ebibiina nga bw’olaba ‘lotale’ n’ebirala wabula okufaananako abasawo b’ekinnansi bwe balimu abatuufu n’abafere ne mu nzikiriza eno mulimu abafere bangi abagyerimbiseemu okubba abalala era beebo be muwuulira nga beesoma n’okwewana nti bammemba, abatuufu tebeesoma.
Ng’omuntu eyaliko mu nzikiriza eno (yagivaamu mu 2003) okugyegattako bakuwa obukwakkulizo obukakali omuli n’okukikuuma nga kyama ((secret society) ate si kyangu kubivaamu y’ensonga lwaki nze nnaddukira mu kkanisa. Ne mu Uganda mulimu bammemba naye kizibu okubamanya.
Mun G. (Emmanuel Matovu)
Ebya ‘Illuminati’ mbiwulira naddala mu nsi z’Abazungu naye  sibikkiririzaamu era ndowooza tebiriiyo. Ekyo kibooziboozi kya bantu kye bateeka ku bantu abalina obuwanguzi obwenjawulo bwe batuuseeko era wano mu Afrika abasinga batera kuliyita ddogo, abalala nti kugenda mu nnyanja.
Ndi musajja Mukatoliki akkiririza mu Katonda n’okukola ennyo ne mu ‘Karma’ ekitegezza nti akola ebirungi afuna birungi ate akola ebibi afuna bibi.
Vampino (Elvis Kirya) 
Hahaha….! Ebyo ebya  ‘Illuminati’ kuzannyira bantu ku bwongo naye si bituufu. Ng’omuntu sisobola kukkiririza mw’ebyo. Mbiwulira mu Amerika eri abagagga ababikkiririzaamu n’okubigoberera era bano beeyambisa ssente ennyingi ze balina okusendasenda abantu okubeegattako naye ebyo temuli!
Navio 
‘Illuminati’ tebiriiyo, kiringa bw’owuulira abantu aboogera ku ddogo. Bw’okola ennyo n’obaako obuwanguzi bw’otuuseeko nga baliyita ddogo ne beerabira nti maanyi go na Mukama Katonda bye bikusobozesezza okutuuka awo.
Kati nze mmaze ebbanga  nga  ndi waggulu era waliwo abagezezzaako okunnwanyisa bansuule naye balemeddwa era omuntu kino ayinza okukiyita kyonna ky’ayagala oba bw’alowooza.

EBIRALA.................











AK47 aziikiddwa: Kitaawe alaajanidde Gavt.'Muntaase enjaga emmalirawo abaana'
 
 Mar 19, 2015

Omulambo gwa AK47 nga guziikibwa. EKIF: JOSEPH MUTEBIBya JOSEPH MUTEBI
MUZEEYI Gerald Mayanja asabye Gavumenti eyongeremu amaanyi okulwanyisa enjaga bwe kibeera kisoboka aboobuyinza basaanyeewo emisiri gyayo gyonna kubanga emumaliwo abaana n’abavubuka b’eggwanga.
Yasinzidde mu kuziika mutabani we, omuyimbi Emmanuel Mayanja (AK47) eggulo n’alaajanira abavubuka bave ku kufuuweeta enjaga kubanga baamuswazizza abo abazze okuziika obwedda badda ebbali mu busiko ne bagifuuweetera mu bibinja.
Abantu baabadde bangi nnyo abaagenze e Busaato Kalangaalo mu Namutamba ekiri mu disitulikiti y’e Mityana okuziika kyokka ekiseera kyatuuse nga tebakyasobola kutuuka mu kifo kyennyini we baaziise, poliisi kwe kusalawo emmotoka zonna okuzisibira e Kalangaalo.
Bwe baalabye nga biri bwebityo, abamu nga Ronald Mayinja ne Harunah Mubiru kwe kusalawo okutambuza ebigere okutuuka mu kifo kyokka tebaasobodde kutuula mu budde era bangi baatuseeyo ng’okuziika kuwedde.





 



Ebifaananyi bya Joseph Mutebi ne Eddie Ssejjoba

EBIRALA.................