Babirye’s bitter split
http://www.newvision.co.ug/D/9/40/709127
Friday, 5th February, 2010
Gospel music sensation Judith Babirye and husband Samuel Niiwo’s marriage has hit the rocks.
The singer told our snoops earlier this week that she was leaving her husband of four years because he is a philanderer, controlling, neglects his parental obligations and often beats her.
The Beera Nange singer who is harbouring intentions of joining Parliament next year, has apparently not been living in the marital home in Bukoto, since November last year.
This followed an ugly incident at their home in which, according to Babirye, Niiwo chased her around the house, grabbed her and beat her ferociously, in full view of their neighbours.
This was after she reportedly confronted him about bad-mouthing her among his relatives. And that, Babirye says, is but one of the many times she has had to endure his beatings.
She says he beat her up and tried to strangle her on their tour of the USA a few years ago. Babirye accuses Niiwo of locking her up in the house, barring her from using her phone and commanding her to cut off her hair, claiming it would make her more attractive to other men.
She claims he did not want her to sing and make money, yet he always got loans in her name.
She also says she single-handedly looked after their home and took care of their child together and his other children. She said he is also a womaniser.
Apparently, she says, some of his women who even come into their marital home, have had the audacity to confront her.
To add injury to insult, Babirye says, he often accused of her infidelity, that on several occasions he has denied being her child’s father.
Mwenzi, ankuba ate talabirira baana
Bya MUSASI WAFFE
Bukedde, Wednesday, 03 February 2010 12:36
http://209.85.229.132/search?q=cache:cBeYTM8P6y4J:www.bukedde.co.ug/index.php%3Foption%3Dcom_content%26view%3Darticle%26id%3D18573:mwenzi-ankuba-ate-talabirira-baana%26catid%3D3:ssanyu%26Itemid%3D584+Judith+Babirye,+Bukedde&cd=3&hl=en&ct=clnk
OMUYIMBI w’ennyimba z’eddini Judith Babirye ayawukanye ne bba, Samuel Niiwo gw’agamba nti abadde ayagala kumutta era ng’amutulugunya okukamala.
Babirye agamba nti bba mwenzi lukulwe era mutemu, kuba abadde amuweweenyula kibooko kumpi buli lunaku nga n’oluusi amukubira mu bantu.
“Mbadde mukyala mugumiikiriza nnyo kuba okuva lwe nafumbirwa omusajja oyo mbadde ntulugunyizibwa. Nze nsasula ennyumba mwe tusula, ndabirira abaana nga kuno kwe ngatta ne b’azaala ebbali n’andeetera.
Omusajja oyo mukambwe nnyo ate mujoozi wa bbaluwa. Andeetera bamalaaya be ne banvuma okunjogoloza kyokka bwe mmunenyaako olwo ng’emiggo eginankubwa tegimanyiddwa muwendo.
Ekinneewuunyisa nti gy’akomya obwenzi ate gy’akomya n’ebbuba. Oluusi ansibira mu nnyumba ng’alina gy’alaga mbu nneme kutambula kubanga abasajja bajja kunkwana. Yali yanzigyako essimu yange era ng’omuntu yenna ayagala okwogera nange asooka kwogera naye, era nze sirina kyama kyonna.
Abakazi b’azaalamu bansuulira abaana babiri kyokka nga bwe twali tufumbiriganwa mu 2005 yannyanjulira abaana babiri. Mu mwaka gumu gwokka yazaaliramu abaana abalala babiri abenkana n’owange omu gwe nnamuzaalira.
Baze tawa bantu bange kitiibwa, oluusi n’omwana wange amwegaana nti si wuwe wa basajja bange kyokka nga sirina musajja gwe njagala naye buli kiseera ansibako obwenzi.
we twali twakalabagana yang’aana okusiba enviiri ng’ayagala mbeere n’obuviiri obuto nti bwe nnaazisiba abasajja bajja kunkwana. Yali yandagira kwambalanga bitengi byokka ate nga biwanvu okutuukira ddala ku bigere.
Yang’aana okuyimba nga tayagala nkole ssente, kyokka nga bw’aba yeewola ssente okuva ku bantu oba mu bbanka akozesa amannya gange. Yang’aana emikwano era ng’awaka mbeerawo nzekka. Talina muyimbi yenna wadde ayimba ennyimba z’eddiini gw’akkiriza njogere naye.
Tugenze mu bapaasita bangi batutabaganye buli lwe tubadde tutabuka kyokka nga bw’atuukayo yeegonza era nga yeemenya nti taliddayo kunsobya. Twatuukirira paasita Joseph Sserwadda ne Joseph Kabuye kyokka ng’oluvaayo atandikira we yakomye.
Ekyasinze okunzigyako waya kwe kuleeta ewange famire ye yonna omuli nnyazaala wange ne ssezaala ne baganda be bonna, n’atandika okubategeeza nga bwe ndi omuntu omubi ennyo, mmutulugunya era simuwa kitiibwa nga baze.
Bino yabikola siriiwo, wabula omu ku bo ye yanzibirako era n’ang’amba tutuule ne baze tukkaanye.
Bwe nnamutegeezezza we waavudde olutalo n’ankuba kibooko ezijula okunzigya mu nsi emisana ttuku mu bantu.
Nange mu November 2009, nnasazeewo ne mmuviira ng’ende ntandike obulamu obuggya, kyokka n’atandika okunneegayirira.
Wabula nnabadde nsazeewo nga sikyasobola kwejjulula ku kye nnasazeewo”, Babirye bw’attottola.
Babirye y’omu ku bayimbi abatutumufu abayimba ennyimba z’eddiini. Yayitimuka nnyo olw’olutambi lwe olwa ‘Yesu Beera Nange’ lwe yafulumya mu 2005, ne lumuwanguza n’engule ya PAM Awards ng’omuyimbi w’eddiini ow’omwaka ogwo.
Ebyama mu bufumbo bwa Judith Babirye ne bba
http://www.bukeddekussande.co.ug/detail.php?mainNewsCategoryId=3&newsCategoryId=167&newsId=709251
Bya Basasi Baffe
OMUKWANO gw’omuyimbi Judith Babirye gwatandikira mu kalyolyongo nga ako akabadde mu bufumbo bwabwe.Babirye yategeezezza Bukedde nti akoze kyonna ky’asobola okugumira ebizibu era abasumba bangi okuli ne Dr. Joseph Sserwadda bagezezzaako okubatabaganya naye bigaanyi kye yavudde asalawo aviire omusajja.
Kyokka n’entandikwa y’omukwano gwabwe nayo teyali ncamufu nnyo era efaananira ddala n’obufumbo bwabwe bwe bubadde. Mu mwaka 2006, Babirye mu mboozi ey’akafubo ne Bukedde Ku Ssande, yattottola akawonvu n’akagga engeri gye yasisinkanamu bba ne batuuka n’okukola obufumbo era yannyonnyola bwati:
Mu mwaka 2000 bwe nali ntongoza olutambi lwange olwasooka olwa Wambaatira ku Victory Church eya Paasita Joseph Sserwadda, Samuel (Niiwo) y’omu ku bawagizi bange abajja.
Bwe nava ku siteegi, Sam yajja okumpi wendi n’ang’amba nti Judith ng’omanyi okuyimba ate nange nnyumirwa nnyo ennyimba zo, yansaba essimu yange n’ang’amba nti yali ayagala okulaba nga nkulaakulanya ekitone kyange.
Saalonzalonza kugimuwa kubanga nali mu butuufu njagala nnyo okuyimba n’okukulaakulanya ekitone kyange.
Mu 2001 yafuuka mukwano gwange mpolampola nga buli kimu tukikola fenna era nga tutambula ffenna.
Twatandika okusaba ffenna mu kiseera ekyo nazuula nti yali ammanyi nnyo kyokka ng’abulako kimu kubeera kumpi nange asobole okunneetegereza era n’omukisa nagumuwa. Twamala emyaka ebiri nga tuli ba mukwano era nga buli kimu y’akimpa.
Kyamutwalira emyaka ebiri okung’amba nti anjagala anti mu 2003 nali ne mukwano gwange, Sam n’ankubira essimu n’ansaba tugende ffembi ku kyemisana. Nakkiriza era yantwala mu kafo akamu e Kololo akayitibwa Thai kyokka buli kaseera Sam yabeeranga antunuulidde nga buli lwe nsitula amaaso aba aganjegese.
Kino kyandaga nti Sam yali anneegwanyiza, kyokka waayita akaseera katono n’akyatula nti ‘Judith, I want to Marry you’ mu kiseera ekyo byansobera (wadde yali amaze emyaka ebiri ng’amulaba). Namusaba ampeeyo akaseera Mukama yali agenda kumbuulira kye nali nnina okumuddamu.
Namubuzaabuza okumala akaseera nga buli lw’andaba ambuuza wamu n’okunzijukiza kye yali yansaba, namala omwaka mulamba nga mmubuzaabuza kyokka teyakyusa mu mbeera wadde okulema okumpa obuyambi.
Kino kyannyongera okumwegomba era mu mwaka 2004 bwe yankubira essimu ng’anzijukiza kye yansaba sijjukira bulungi bigambo bye naddamu wabula nali mmaze okugonda era mu 2005 twafumbiriganwa mu bufumbo obutukuvu.
Tulina omwana omu Li anointed Niiwo era ssaawa yonna ng’enda kumwongera abaana Katonda b’ategese okumuzaalira” bwatyo Judith Babirye bwe yanyumiza Bukedde KU Ssande nga October 1, 2006 .
Kyokka mu kiseera kino by’ayogera ku bba Samuel Niiwo Babirye agamba bwati:
“Omwami ono abadde mwenzi lukulwe gattako okubeera omutemu era ng’ampeeweenyula emiggo kumpi buli lunaku ate ng’ankubira mu bantu.
Nze mbadde mukyala mugumiikiriza nnyo kubanga okuva lwe nafumbirwa omusajja oyo ntulugunyizibwa, nga nze nsasula ennyumba mwe tusula, nze ndabirira abaana be b’azaala ebbali.
Niiwo alina obukambwe obubi ennyo kuno nga kw’ogasse ejjoogo eriyitiridde ng’andeetera bamalaaya be ne banvuma enkya n’eggulo kyokka nga bwe njogerako ankuba bukubi.
Ebbuba alina ppitirivu nnyo ng’andeka ansibidde mu nnyumba buli lw’aba ayagala okukola obwenzi bwe, yali yanzigyako essimu yange nga y’agirina era ng’omuntu anjagala alina kusooka kwogera naye, nga nze sirina kyama.
Sserwadda owa Victory Church by’agamba: “Ebintu by’amaka bwe bityo bwe biba mubaamu ebizibu bingi, mu kiseera kino Babirye akyalina obusungu bungi naye mmanyi nti bw’anakkakkana tujja kubatuuza tubabuulirire kubanga bino bibaswaza n’ekkanisa yonna okutwalira awamu.
Kituufu Babirye yantuukirira enfunda eziwera n’andoopera bba okumutulugunnya n’obwenzi era na batuuza ne mbabuulirira ne baddamu okukwatagana. Nze ng’omusumba siyinza kukoowa kubuulirira bantu baba basowagannye nti era ne ku mulundi guno nnina esuubi nti bajja kuddamu okutabagana.
Obuzibu bwe ndaba ku Mw. Niiwo, kw’asinziira okukuba Babirye emiggo, bulabika buva ku bivvulu gy’agenda okunoonnya ssente oluusi obudde obudda eka mu bwangu ne bumukwata olwo ye (Niiwo) ne kimuyisa bubi.
Published on: Saturday, 6th February, 2010