My comment
On Tueday 11th July, 2017 Bukedde news paper reported Pr.Bujingo’s attacks against Pr.Sserwadda. Pr. Bigingo accused Pastor Serwadda of being behind the death of late Balabyekkubo and the late Pastor Michael Mugerwa. Pr.Bujingo also said that a number of elders that disagreed with Pr.Serwadda ended up dying. This is carnality of the highest order . Pastor Bugingo is not honest in his fight. He is also after power and money like all prosperity pastors .
Obubbi bwa bujingo butunziza abantu ebyabwe
https://www.youtube.com/watch?v=3hHpVgeo7FY
https://www.youtube.com/watch?v=v1eneNF8CH4Paasita Bujingo ayanise Dr. Sserwadda
Added 21st February 2017
ALOYZIOUS Bugingo owa House of Prayer Ministries ayongedde okulumba
Dr. Joseph Serwadda nti kaweefube gwe yalangiridde okulwanyisa Bannabbi
ab’obulimba agenderera kumufunamu.
Yawadde ekyokulabirako
nti Dr. Sserwadda amadiini ge yavaamu n’agavumirira ate kati g’akitiza
nago era nga yeegatta dda ku mukago ogugagatta ogwa Inter Religious
Council of Uganda(IRCU).
Yasinzidde mu kusaba ku Ssande
n’asimbuliza mu engero 14:14 -15 ekigambo kya Mukama ekirabula abadda
emabega nti oyo adda emabega gy’ava atta ekkubo lye.
Yagenze mu maaso n’ategeeza nti Lukka
9:62 ‘omuntu akwata ekyuma ekirima n’atunula emabega tasaanidde
kuyingira Bwakabaka bwa Katonda.
Omutume Sserwadda owa Victory Christian
Centre mu Ndeeba yategeezezza Bukedde ku Ssande nti agguddewo olutalo ku
Bannabbi aboobulimba.
Yagambye nti abamu abamuvuma n’okumuwalampa bakyali bato bwe banaakula bajja kukkakkana.
Bugingo yagambye nti abasajja abakulu
abalowooza nti abawalampa balimba kubanga omulokole tasaanidde kuba na
kifo mu mukago ogugatta amadiini, obulokole tebulina Kalidinaali wadde
‘bisopu’ kuba Yesu ye Mukama waabwe era abeera mu ggulu ne ku nsi buli
lunaku.
“Abajja mu IRCU ne babagamba nti baliyo
ku lw’Abalokole baba baliyo ku lwabwe tebaliiyo ku lwaffe” Bugingo bwe
yalabudde n’agamba nti bw’owulira bakugambye nti tosaanidde mu Bwakabaka
bwa Katonda kitegeeza nti oli mmemba omukukuutivu ewa Sitaani.
Yakyukidde abagoberezi be n’agamba nti,
olwaleero nsaba mbajjukize Bayibuli gye baatusomesa ate naawe gwe
balimba nti tulina gwe tuwalana oba gwe tuwalampa soma bino.
Ezekeeri 33:8 – 9 egamba nti, ‘Omuntu omubi alifiira mu bubi era omusaayi gwe Katonda aliguvunaana’.
Yayongeddeko nti ekkanisa y’Abalokole teyalingamu kwetikka bugalubindi, kwetikka bikufiira n’okwambala buganduula.
Omubi bw’otamulabula, omusaayi gwe
gubeera ku mukono gwo, bw’olabula omubi n’alemwa okuva mu bubi alifiira
mu butali butuukirivu bwe.
Yatumye abagoberezi be nti oyo
awuliziganya nabo abagambe nti ye (Bugingo) abaagala era tewali muntu
mulala abaagala nga ye ky’ova olaba abajjukiza bayibuli ky’egamba.
Yayongedde okukiggumiza nti buli Katonda lw’anyiiga ayimusaayo omuntu
omunafu agambe ku balala.
“Abasajja abaakwatanga bendera
okuvumirira eddiini endala ne bakuba zikuluseedi nga bwe baali e Bwaise
amasasi ne gavuga, sitaani yabanywamu dda omwoyo bali wuwe kati gye
batudde” Bugingo bwe yaggumizza.
Bw’obeera oyagala okwogera ku Bannabbi
b’obulimba sooka weenenye ggwe wennyini era nga tonnaba kulumbagana
bannabbi sooka osabe Mukama akuwe oluwalo olw’okutuukiriza.
Toyinza kuba ng’osaabaanye obusa ate
n’oyagala onaaze abalala. Abagoberezi nga bwe bamukubira engalo
ez’oluleekereeke, yabategeezezza nti Katonda yamuyamba n’atalimba
ng’akyali mwavu.
Yabakyukidde n’agamba nti, Oyo agamba nti si mugagga abeera musiru kubanga obugagga obubwe teyabusikira.
Yagambye nti abantu baamwesiga ne
bamukwasa obukadde bw’ensimbi nga bagula ekifo we basabira kati e Kikoni
era teyazibuza wabula waliwo abatudde ku ttaka eryali erya bamulekwa
nga baalyekomya.
Siriwagira bannabbi ba bulimba, naye ate
nja kussa ekitiibwa mu Nabbi w’obulimba anyweredde gy’ali n’ayogera ku
muntu ali aga naaga.
Owulira ayogera ku Bannabbi b’obulimba
n’olowooza nti abadde musibe kati bamusumuludde. Abantu abo bambadde
ebyambalo bibiri, munda misege ku ngulu bambadde eddiba ly’endiga. Nfuna
abantu abandabula buli kiseera nti abantu abo bajja kukutta, bayinza
okutta omusiru naye nze!
Tebasobola era tebalina busobozi obwo
obunzita. Ani asoobola okusigaza amaka ne bwe mbeera nga nfudde birala.
Kankiddemu ne nfa, amayumba gaabwe gakoonebwa abaana baabwe battibwa
mbategeeza tewali ayinza kwetantala kunzita.
Yakyukidde aba IRCU nti Bannaddiini
bakimanyi nti bali nabo nga bannanfuusi kubanga baategeka kuluseedi yali
awo Bwaise ne bakubawo bbomu abantu abamu ne bafa bo ne bavaawo nga
balamu naye Katonda eyabataasa baamwefuulira dda.
“Owulira nga babawaana babayita taata,
bannage ffe tulina Kitaffe omu Yesu. Abaana bwe bakulema awaka otandika
okuyisa amateeka okubalagira nti mumpite taata.
Leka sseruganda kola by’olina okukola abaana bajja kukuyita ekitiibwa kyo,” Bwatyo bwe yalabudde.
Nze saalokola kufuna mmotoka, ssaalokoka
kufuna byabugagga. Nja kulwanagana na buli muntu agamba nti atunda Yesu
ng’amba nti oli mbwa, Katonda wabwereere tatundibwa.
Yagambye nti bwe bawulidde nti IRCU
egaba eza Global Fund okudduukirira aba siriimu ne badduka nazo
bazinone. Bwe balyenenya tujja kujaganya, bangi bandibadde beenenya naye
balowoozaamu ne bagamba nti Kakanisaki akatugamba, Kasumba ki
akatugamba.
Ojja kuwulira nga bakugamba nti bugalubindi komawo weenenye kye wali obuulira ge mazima naye wabula.
Abayimiridde ng’okugulu okumu kuli mu IRCU oli aga naaga ogenda kuyulika tosobola kuba eri ng’oli neeno komawo.
Yagambye nti kituufu mu Balokole mulimu
abafere bangi kubanga mulimu abeeyiba Babisopu era Serwadda bw’abeera
ayagala okubazuula asooke agende e Lubaga oba Namirembe akebere
emitendera omuntu mw’ayita okutuuka ku ddaala lya ‘bisopu’ kubanga
abafere bangi naye buli awali ‘dupulikeeti’ wabeerawo ‘oligino’
Yagambye nti ebicupuli by’Abasumba bingi mu Balokole naye tebigaana bulokole kugenda mu maaso.
Abantu bajja kusigala nga boogera nga
bwe baamwogerangako nti alina engatto eziraga ebigere nti zeezimuwa
amaanyi kyokka bwe yali ku Bukedde TV ku pulogulaamu kyogereko ne
wabeerawo abakimubuuza bwe yabasaba aziggyemu bamuleetere z’abeera
ayamba ng’addayo kyabalema nga kiraga nti bye boogera te babyekakkasa.