Tuesday 6 September 2016

Young girl accuses Bishop Patrick Makumbi of Impregnating her : Makumbi denies accusations

 Image result for Omuwala aloopye Bisopu Makumbi okumusobyako; Yampa omutwalo nangamba ssoogera

Omuwala aloopye Bisopu Makumbi okumusobyako; Yampa omutwalo nangamba ssoogera
http://www.bukedde.co.ug/bukedde/ag%E2%80%99eggwanga/1431930/omuwala-aloopye-bisopu-makumbi-okumusobyako-yampa-omutwalo-nangamba-ssoogera#sthash.T8ZTXWGn.dpuf By Musasi wa Bukedde Added 6th August 2016 OMWANA ow’emyaka 15 alumiriza Bishop Patrick Makumbi okumukaka omukwano n’amufunyisa n’olubuto. Olubuto baaluggyamu kyokka omwana n’asigala ng’avaamu omusaayi, n’okutuusa leero tannatereera. Bp Makumbi alina ekkanisa ya International Gospel Healing Centre e Lweza- Kajjansi ku lw’e Ntebe Ekkanisa erina ettabi eddala n’essomero e Namugongo. Alina pulogulaamu gy’asasulira ku Bukedde Ttivvi buli Lwakubiri ku ssaawa 6 mu ttumbi ng’abuulira. Atera okwogerera ku Ttivvi ensonga z’obufumbo. Makumbi yagambye nti eby’okukaka omwana omukwano bamuwaayira. “Omwana ayogerwako simumanyi”, bwe yagambye. Kyokka n’agattako nti omwana oyo yakakitegeddeko nti asumbibwa Omusumba Michael Kiganda atwala ekkanisa ya Makumbi e Namugongo. Nnyina w’omwana (amannya galekeddwa) abeera e Jjanda- Namugongo yagguddewo omusango ku poliisi e Kajjansi. Ku Lwokusatu, akulira bambega e Kajjansi, Richard Mwijukye n’atwala poliisi Phillemon Ameru baatutte maama w’omwana ewa Makumbi ne bayita mu nsonga zino. Makumbi bwe yabuuziddwa ku ky’okusisinkana maama w’omwana, yakkirizza bwe baasisinkanye, kyokka n’ategeeza Bukedde: Nze poliisi ye yandeetedde omukazi mu ofiisi yange, kyokka nga bye boogera sibimanyi. Mwijukye yagambye nti olw’okuba omwana akyalumizibwa, baalagidde Makumbi n’abawa ssente 170,000/- ne batwala omwana mu ddwaaliro lya Doctor’s Clinic e Seguku. Okumutwala e Seguku, baamusoosezza wa musawo wa poliisi Dr. Kalyesubula eyamukebedde. Omusango okugutwala e Kajjansi, nnyina w’omwana yasooka kumutwala mu ddwaaliro Mulago ng’ali bubi ne bamuwa amagezi awawaabire eyafunyisa muwalawe olubuto. Baggulawo omusango ku poliisi y’e Mulago nga June 18, 2016 ku fayiro SD13/18/06/2016. Oluvannyuma fayiro n’esindikibwa e Kajjansi, Makumbi gy’abeera. Okugenda e Mulago baasooka mu kalwaliro ka Zia Angellina e Namugongo gye baazuulira ng’omuwala yafuna obuzibu ng’aggyamu olubuto. Nnnyina w’omwana agamba nti yasooka butamubuulira bwe yafuna lubuto okutuusa nga bali e Mulago lwe yayogera nga Makumbi bwe yamusobyako. kkanisa ya paasita akumbi e weza kkanisa ya paasita Makumbi e Lweza. OMWANA ATTOTTOLA Omusumba Kiganda ye yali ampeerera e Namugongo. Kyokka mu December 2015 yantegeeza bwe yalina okuntwala ewa mukama we Makumbi ampe ebitabo. Yantwala n’omuwala omulala Agnes mu kkanisa ya International Gospel Healing Centre Lweza, we twava ne tusula ewa Makumbi ne muwala wa Makumbi. Enkeera, baaleeta abawala abalala basatu ne batwegattako ne tuwera mukaaga. Ekiro ku ssaawa nga 3 nali nneebase nga bannange bali bweru, Makumbi n’ansanga ku buliri n’ankaka omukwano, Yampa ssente omutwalo gumu n’andagira obutayogera. Kyokka natandikirawo okuvaamu omusaayi. Kino Makumbi yagambye nti kiraga ng’ebintu bipange kubanga omwana aweererwa Kiganda. Ye Makumbi talaba ngeri omwana gy’atwalibwa wuwe kukimayo bitabo bya 3,000/- zokka. Ne bwe yandibadde ayagala buyambi sirabawo ngeri gye yandisuze wange. Ndowooza nti omuwala ewange tamanyiyo kubanga nze sisula kumpi na kkanisa. Abantu batono abamanyi ewange. Omwana: Mu January w’omwaka guno, natandika okulwalalwala abantu ne batandika okuhhamba nga bwe nalina olubuto. Omusumba Richard yantwala mu ddwaaliro lya Angellina e Namugongo ne bankebera ne bakakasa nga bwe nali olubuto. Omuwala agamba baamuzzaayo e Namugongo. Mu January yatandika okulwala. Bwe yabuulira bayizi banne ne bamugamba nti alabika ali lubuto kwe kugenda n’ategeeza Kiganda ebyali bimutuseeko ewa Makumbi. Kiganda yantwala mu ddwaaliro lya Angellina ne bakakasa nga ndi lubuto. Yanzizaayo ewa Makumbi, ekiro ne bampa amakerenda ne ngamira ne nneeyongera okuvaamu omusaayi olubuto ne luvaamu. Kiganda teyafunyise kwogera ku nsonga eno, ali Nigeria. Kyokka Makumbi bwe twamutuukiridde yagambye nti kino kiraga nga waliwo abaatendese omwana okwogera ebigambo ebyo. “Ebigambo bijweteke. Nnina ettutumu, bangi lye baagala okulaba nga balikkakkanya. Bano be bawendudde omwana oyo”, bwe yagambye. Mwijukye bwe yabuuziddwa lwaki poliisi erudde ng’ekukuta n’etekozesa Makumbi sitatimenti, yagambye nti nnyina w’omwana yasooka kumukweka era okumufuna baakozesa bambega. Kyokka n’agamba bwe baabafunye batandikiddewo okukola ne bagenda baggya ku Makumbi sitatimenti. N’agattako nti bakyalinze Kiganda akomawo e Nigeria, naye bamuggyeko sitatimenti. - See more at: http://www.bukedde.co.ug/bukedde/ag%E2%80%99eggwanga/1431930/omuwala-aloopye-bisopu-makumbi-okumusobyako-yampa-omutwalo-nangamba-ssoogera#sthash.T8ZTXWGn.dpuf




MUST READ:

When Ugandan Pentecostal prosperity preachers dress like catholic clergy: the Case of Bishop Patrick Makumbi of Gospel Healing centre, Lweza



Catholic challenge to Pentecostalism and evangelical Christianity : Pope Francis urges global leaders to end 'tyranny' of money


http://watchmanafrica.blogspot.ug/2013/05/catholic-challenge-of-pentecostalism.html 


 Image result for Omuwala aloopye Bisopu Makumbi okumusobyako; Yampa omutwalo nangamba ssoogera