Tuesday 22 December 2009

Pastor Jackson Ssenyonga speaks about his child molestation case

FIRST READ: THE WRATH OF GOD IS UPON PASTOR SENYONGA

http://watchmanafrica.blogspot.com/2008/08/wrath-of-god-is-upon-pastor-senyonga.html


Pastor Jackson Ssenyonga speaks about his child molestation case

By GODFREY LUKANGA
Monday, 21 December 2009 15:24

http://www.bukedde.co.ug/index.php?option=com_content&view=article&id=16667:omusumba-ssenyonga-ayogedde-ku-musango-gwe&catid=29:amawulire&Itemid=572

Pastor Jackson Ssenyonga has told his followers that the child molestation charges against him are over because he repented and was forgiven. Pastor Ssenyonga the senior pastor of Christian Life Church , Bwaise was speaking to his congregation for the first time since he was arrested in Denver, Oakland in August 2008 over child molestation.

Pastor Ssenyonga told Bukedde that he was shortly detained at Santa Rita prison in Dublin and was restricted from moving out this county for two years.

While preaching on Sunday at Christian Life Church, Bwaise he told his congregation that the molestation incident was resolved within 24 hours and since then he has been free to move any where in America.

Bukedde has reliably learnt that Pastor Ssenyonga was released on parole and handed over his passport that enabled him to return to Uganda.

Pastor Ssenyonga told his congregation that people are yearning for him so much in America and promised to return to America after the National celebration of December, 31st, 2009.

Omusumba Ssenyonga ayogedde ku musango gwe

By GODFREY LUKANGA
Monday, 21 December 2009 15:24

http://www.bukedde.co.ug/index.php?option=com_content&view=article&id=16667:omusumba-ssenyonga-ayogedde-ku-musango-gwe&catid=29:amawulire&Itemid=572


Bya GODFREY LUKANGA
Monday, 21 December 2009 15

http://www.bukedde.co.ug/index.php?option=com_content&view=article&id=16667:omusumba-ssenyonga-ayogedde-ku-musango-gwe&catid=29:amawulire&Itemid=572

OMUSUMBA Jackson Ssenyonga ategeezezza abagoberezi be nti eby’okutigaatiga akawala ebyavaako okumukwatira mu Amerika, yabimalirizza oluvannyuma lw’okwetonda n’asonyiyibwa.

Ssenyonga akulira Ekkanisa ya Christian Life Church e Bwaise gwe gwabadde omulundi gwe ogusoose okwanirizibwa mu kkanisa ye okuva lwe baamukwatira mu Amerika mu August wa 2008 nga bamulumiriza nti yatigaatiga akawala ak’emyaka 13 bwe baali ku nnyonyi eyali emuggya e Denver okumutwala mu kibuga Oakland mu Ssaza ly’e California.
Ssenyonga yakwatirwa ku kisaawe ky’ennyonyi era ensonda mu California zaategeeza
Bukedde nti baamusibirako mu kkomera ly’e Santa Rita mu Dublin gye yamala essaawa entonotono n’aweebwa ekibonerezo kya myaka ebiri nga tafuluma ssaza eryo oluvannyuma lw’omukozi ku nnyonyi okumulumiriza nti yamulaba ng’atigaatiga akawala akatanneetuuka ke yali aliraanye era ne kaleekaana nnyo.

Mu kubuulira ku Ssande, Ssenyonga yagambye nti, ‘Ekintu ekyaliwo kyali kya ssaawa busaawa era nneetonda ne kiggwa mu ssaawa 24 zokka, naye bannamawulire baakizimbulukusa. Ebbanga lye mmazeeyo (mu Amerika) mbadde wa ddembe okutuuka buli we njagala’.

Wabula Bukedde yategeezeddwa nti Ssenyonga okukkirizibwa okudda mu Uganda, yamaze kuwaayo kusaba kwe ng’ayita mu nkola emanyiddwa nga “Parole” mwe bayimbulira abasibe ab’empisa ng’ekibonerezo tekinnaggwaako era nti bwe beetegerezza enneeyisa ya Ssenyonga ne bakkiriza okumuddiza paasipooti ye ekyamusobozesezza okudda.
Yategeezezza abagoberezi be nti mu Amerika yavuddeyo ng’abantu bamuyaayaanira era waakuddayo ng’amalirizza olukung’aana lw’okusaba okumalako omwaka omukadde n’okwaniriza omuggya lw’ategese e Kololo.